Okuva Chapter 21

For English

Read Okuva Chapter 21 Online

Read Okuva Chapter 21 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Okuva in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Okuva and the Holy Bible online.

Choose a Chapter

Okuva 21

Essuula 21

1. Egyo gye misango gy'oliteeka mu maaso gaabwe.

2. Bw'ogulanga omuddu Omwebbulaniya, aweererezanga emyaka mukaaga: awo ogw'omusanvu aligenda n'eddembe bwereere.

3. Oba nga yajja omu, agendanga omu: oba nga alina omukazi, mukazi we agendanga naye.

4. Mukama we bw'amuwanga omukazi n'amuzaalira abaana ab'obulenzi oba abaana ab'obuwala; omukazi n'abaana be balibeera ba mukama we, naye agendanga omu.

5. Naye omuddu bw'ayogereranga ddala nti Njagala mukama wange; mukazi wange; n'abaana bange; saagala kugenda n'eddembe:

6. Awo mukama we amuleetanga eri Katonda, amuleetanga ku luggi oba ku mufuubeeto; ne mukama we amuwummulanga okutu n'olukato; anaamuweerezanga ennaku zonna.

7. Omuntu bw'atundanga muwala we okubeera omuzaana, tagendanga ng'abaddu bwe bagenda.

8. Oba nga tasanyusa mukama we, eyamuwasa, amulekanga okununulibwa: okumuguza bannaggwanga taliragirwa, kubanga amulimbye.

9. Oba nga amugabira omwana we, amukolanga ng'abawala.

10. Oba ng'awasa omulala; emmere ye, n'engoye ze n'ebigambo bye eby'obugole tabikendeezangako.

11. Era bw'atamukoleranga ebyo byonsatule, aligenda bwereere, awatali bintu.

12. Akubanga omuntu okumutta, talemanga kuttibwa.

13. Era omuntu bw'atateeganga, naye Katonda n'amuteeka mu mukono gwe; oyo ndikulagirira ekifo ky'aliddukiramu.

14. Omuntu bw'ajjanga ng'agira ekyejo ku munne, okumutta n'olukwe; omuggyanga ku kyoto kyange, afe.

15. Akubanga kitaawe oba nnyina, talemanga kuttibwa.

16. Abbanga omuntu n'amutunda, oba bw'alabikanga mu mukono gwe, talemanga kuttibwa.

17. Akolimiranga kitaawe oba nnyina, talemanga kuttibwa.

18. Era abantu bwe balwananga, omuntu omu n'akuba munne ejjinja oba kikonde, n'atafa naye n'amala agalamizibwa ku kitanda:

19. bw'agolokokanga n'avaayo n'asenvulira ku muggo, eyamukuba nga tazzizza musango: naye amugattanga olw'ebiseera bye bye yamwonoonera, era alimuwonyeza ddala.

20. Era omuntu bw'akubanga omuddu we oba muzaana we n'omuggo bw'afanga ng'akyali wansi w'omukono gwe; talemanga kubonerezebwa.

21. Naye bw'alwangawo ng'ennaku ebbiri, tabonerezebwanga: kubanga oli bye bintu bye.

22. Era abantu bwe balwanalwananga, ne bakola obubi omukazi alina olubuto; olubuto ne luvaamu, naye akabi konna ne katabaawo: talemanga kuliwa, nga bba w'omukazi bw'alimusalira; aliriwa ng'abalamuzi bwe balagiranga.

23. Naye akabi bwe kabangawo, owangayo obulamu olw'obulamu,

24. eriiso olw'eriiso, erinnyo olw'erinnyo, omukono olw'omukono, ekigere olw'ekigere,

25. okwokebwa olw'okwokebwa, ekiwundu olw'ekiwundu, okukubibwa olw'okukubibwa.

26. Era omuntu bw'akubanga eriiso ly'omuddu we, oba eriiso ly'omuzaana we n'aliziba; amuwanga eddembe olw'eriiso lye.

27. Omuntu bw'akubanga erinnyo ly'omuddu we oba erinnyo ly'omuzaana we, amuwanga eddembe olw'erinnyo lye.

28. Era ente bw'etomeranga omusajja oba mukazi okubatta, ente teremanga kukubibwa mayinja, so n'ennyama yaayo teriibwanga; naye nannyini nte nga taliiko musango.

29. Naye ente nga yamanyiira okutomeza amayembe edda, nannyiniyo n'abuulirwa so n'atagisiba, naye bw'ettanga amusajja oba mukazi; ente ekubibwanga amayinja, era ne nannyiniyo attibwanga.

30. Bwe bamusaliranga olufuubanja, awangayo ebintu bye bamusalidde byonna okununula obulamu bwe.

31. Bw'etomeranga omwana ow'obulenzi oba omwana ow'obuwala, nnyiniyo ateekebwangako omusango gwe gumu.

32. Ente bw'etomeranga omuddu oba muzaana; awangayo eri mukama waabwe ebitundu eby'effeeza amakumi asatu, era n'ente ekubibwanga amayinja.

33. Era omuntu bw'abikkulanga obunnya oba omuntu bw'asimanga obunnya n'atabubikkako, ente oba endogoyi n'egwamu,

34. nannyini bunnya amuliyiranga omuwendo gw'ente; awangayo effeeza eri nannyinizo, n'ekisolo ekifudde kibeeranga kikye.

35. Era ente y'omuntu bw'etomeranga ente ey'omulala n'emala egitta; batundanga ente ekyali ennamu, ne bagabana omuwendo gwayo; era n'efudde bagigabananga.

36. Oba bwe kimanyibwanga nti ente yamanyiira okutomeza amayembe edda, nannyiniyo n'atagisiba; talemanga kuliwa ente olw'ente, n'ekisolo ekifudde kibeeranga kikye.

About Okuva Chapter 21

Read Okuva Chapter 21 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Okuva in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.

Book Information

Book: Okuva
Chapter: 21
Testament: Old Testament

How to Read this Chapter

Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Okuva. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.

https://www.youtube.com/watch?v=rzsT_Q3KLzE

More Resources

Continue Reading the Bible

Continue reading Okuva Chapter 21 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.

Frequently Asked Questions

What is Okuva Chapter 21?

Okuva Chapter 21 is part of the Book of Okuva in the Holy Bible.

Can I read this chapter online?

Yes. You can read the complete Okuva Chapter 21 online for free with easy chapter navigation.

More Chapters from Endagaano Enkadde

  1. Engero Chapter 17
  2. Engero Chapter 12
  3. Engero Chapter 25
  4. Engero Chapter 22
  5. Engero Chapter 19
  6. Engero Chapter 23
  7. Engero Chapter 28

Explore More from okuva

  1. Okuva Chapter 13
  2. Okuva Chapter 36
  3. Okuva Chapter 22
  4. Okuva Chapter 8
  5. Okuva Chapter 2
  6. Okuva Chapter 20
  7. Okuva Chapter 30

Related Chapters & Readings

  1. Ezekyeri Chapter 38
  2. Zekkaliya Chapter 8
  3. Zabbuli Chapter 13
  4. Ezekyeri Chapter 33
  5. Engero Chapter 6
  6. Yeremiya Chapter 4
  7. Oluyimba lwa Sulemaani Chapter 7
Share Your Love

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *