Read Abaebbulaniya Chapter 5 Online
Read Abaebbulaniya Chapter 5 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Abaebbulaniya in the New Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Abaebbulaniya and the Holy Bible online.
Choose a Chapter
Abaebbulaniya 5
Essuula 5
1. Kubanga buli kabona asinga obukulu, bw'aggibwa mu bantu, ateekebwawo ku bwa bantu mu bigambo ebiri eri Katonda alyoke awengayo ebirabo era ne ssaddaaka olw'ebibi:
2. ayinza okukwata empola abatamanyi n'abakyamye, kubanga era naye yennyini yeetooloddwa obunafu;
3. era olw'obwo kimugwanira nga ku lw'abantu, era bwe kityo ku lulwe yennyini, okuwangayo olw'ebibi.
4. So omuntu yenna teyeetwalira yekka kitiibwa ekyo, wabula ng'ayitiddwa Katonda, era nga Alooni.
5. Era bw'atyo Kristo teyeegulumiza yekka okufuuka kabona asinga obukulu, wabula oyo eyamugamba nti Ggwe oli Mwana wange, Leero nkuzadde ggwe:
6. era nga bw'ayogera awalala nti Ggwe oli kabona emirembe gyonna ng'engeri ya Merukizeddeeki bw'eri.
7. Oyo mu nnaku ze yabeereramu mu mubiri gwe, bwe yawaayo okwegayirira n'okusaba eri oyo eyayinza okumulokola mu kufa n'okukaaba ennyo n'amaziga, era bwe yawulirwa olw'okutya kwe Katonda,
8. newakubadde nga Mwana, naye yayiga okugonda olw'ebyo bye yabonaabona:
9. awo bwe yamala okutuukirizibwa, n'afuuka ensonga y'obulokozi obutaggwaawo eri abo bonna abamuwulira;
10. Katonda gwe yayita kabona asinga obukulu ng'engeri ya Merukizeddeeki bw'eri.
11. Gwe tulinako ebigambo ebingi okwogera era ebizibu okutegeeza, kubanga mufuuse baggavu b'amatu.
12. Kubanga bwe kibagwanira okubeeranga abayigiriza olw'ebiro ebyayita, mwetaaga nate omuntu okubayigiriza ebisookerwako eby'olubereberye eby'ebigambo bya Katonda; era mufuuse abeetaaga amata, so si mmere nkalubo.
13. Kubanga buli anywa amata nga tannamanya kigambo kya butuukirivu; kubanga mwana muto.
14. Naye emmere enkalubo ya bakulu, abalina amagezi agayigirizibwa olw'okugakoza okwa wulanga obulungi n'obubi.
About Abaebbulaniya Chapter 5
Read Abaebbulaniya Chapter 5 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Abaebbulaniya in the New Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.
Book Information
Book: Abaebbulaniya
Chapter: 5
Testament: New Testament
How to Read this Chapter
Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Abaebbulaniya. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.
More Resources
Continue Reading the Bible
Continue reading Abaebbulaniya Chapter 5 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.
Frequently Asked Questions
What is Abaebbulaniya Chapter 5?
Abaebbulaniya Chapter 5 is part of the Book of Abaebbulaniya in the Holy Bible.
Can I read this chapter online?
Yes. You can read the complete Abaebbulaniya Chapter 5 online for free with easy chapter navigation.
More Chapters from abaebbulaniya
- Abaebbulaniya Chapter 2
- Abaebbulaniya Chapter 4
- Abaebbulaniya Chapter 3
- Abaebbulaniya Chapter 1
- Abaebbulaniya Chapter 10
- Abaebbulaniya Chapter 6
- Abaebbulaniya Chapter 13
Explore More from Endagaano Empya
- Abaebbulaniya Chapter 1
- 2 Yokaana Chapter 1
- Yokaana Chapter 21
- Matayo Chapter 2
- 3 Yokaana Chapter 1
- Yokaana Chapter 8
- Yakobo Chapter 3