Yeremiya Chapter 19

For English

Read Yeremiya Chapter 19 Online

Read Yeremiya Chapter 19 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Yeremiya in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Yeremiya and the Holy Bible online.

Choose a Chapter

Yeremiya 19

Essuula 19

1. Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Genda ogule ensumbi ey'ebbumba ey'omubumbi, otwale ku bakadde b'abantu ne ku bakadde ba bakabona;

2. ofulume okugenda mu kiwonvu kya mutabani wa Kinomu ekiri awayingirirwa mu mulyango Kalusiisi, olangirire eyo ebigambo bye nnaakugamba:

3. oyogere nti Muwulire ekigambo kya Mukama, mmwe bassekabaka ba Yuda nammwe abali mu Yerusaalemi; bw'atyo bw'ayogera Mukama w'eggye, Katonda wa Isiraeri nti Laba, ndireeta obubi ku kifo kino, obulyamiriza amatu ga buli muntu alibuwulira.

4. Kubanga bandekawo ne bakaafuwaza ekifo kino, ne bootereza omwo bakatonda abalala obubaane, be batamanyanga bo ne bajjajjaabwe ne bassekabaka ba Yuda; era bajjuza ekifo kino omusaayi ogutaliiko musango;

5. era baazimba ebifo ebigulumivu ebya Baali okwokya batabani baabwe mu muliro okuba ebiweebwayo ebyokebwa eri Baali; kye ssiragiranga so saakyogera so tekyayingira mu mwoyo gwange:

6. kale, laba ennaku zijja, bw'ayogera Mukama ekifo kino lwe kitakyayitibwa nti Tofesi newakubadde nti Kiwonvu kya mutabani wa Kinomu, naye nti Kiwonvu eky'okuttirwamu.

7. Era nditta okuteesa kwa Yuda ne Yerusaalemi mu kifo kino; era ndibagwisa n'ekitala mu maaso g'abalabe baabwe, era n'omukono gw'abo abanoonya obulamu bwabwe: n'emirambo gyabwe ndigigabula okuba eby'okulya eri ennyonyi ez'omu bbanga n'eri ensolo ez'omu nsi.

8. Era ndifuula ekibuga kino ekyewuunyo era okusoozebwanga; buli aliyitawo alyewuunya n'asooza olw'ebibonoobono byakyo byonna

9. Era ndibaliisa omubiri gwa batabani baabwe, n'omubiri gw'abawala baabwe, era balirya buli muntu omubiri gwa mukwano gwe mu kuzingizibwa ne mu kunyigirizibwa abalabe baabwe, n'abo abanoonya obulamu bwabwe kwe balibanyigiriza.

10. Awo n'olyoka omenya ensumbi eyo, abasajja abagenda naawe nga balaba,

11. n'obagamba nti Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti Era bwe ntyo bwe ndimenya abantu bano n'ekibuga kino ng'omuntu bw'amenya ekintu ky'omubumbi ekitayinzika kuyungibwa nate: era baliziikira mu Tofesi okutuusa lwe watalibaawo bbanga lya kuziikamu.

12. Bwe ntyo bwe ndikola ekifo kino, bw'ayogera Mukama, n'abakituulamu, nga nfuula ekibuga kino okuba nga Tofesi:

13. n'ennyumba ez'e Yerusaalemi n'ennyumba za bassekabaka ba Yuda ezoonoonese ziriba ng'ekifo Tofesi, ennyumba zonna ze baayotererezangako waggulu obubaane eggye lyonna ery'eggulu, ne bafukira bakatonda abalala ebiweebwayo ebyokunywa.

14. Awo Yeremiya n'ajja ng'ava e Tofesi Mukama gye yali amutumye okulagula; n'ayimirira mu luggya olw'ennyumba ya Mukama, n'agamba abantu bonna nti

15. Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye, Katonda wa Isiraeri nti Laba, ndireeta ku kibuga kino ne ku mbuga zaakyo zonna obubi bwonna bwe nnakyogerako; kubanga bakakanyazizza ensingo yaabwe baleme okuwulira ebigambo byange.

About Yeremiya Chapter 19

Read Yeremiya Chapter 19 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Yeremiya in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.

Book Information

Book: Yeremiya
Chapter: 19
Testament: Old Testament

How to Read this Chapter

Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Yeremiya. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.

https://www.youtube.com/watch?v=rzsT_Q3KLzE

More Resources

Continue Reading the Bible

Continue reading Yeremiya Chapter 19 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.

Frequently Asked Questions

What is Yeremiya Chapter 19?

Yeremiya Chapter 19 is part of the Book of Yeremiya in the Holy Bible.

Can I read this chapter online?

Yes. You can read the complete Yeremiya Chapter 19 online for free with easy chapter navigation.

More Chapters from Endagaano Enkadde

  1. Engero Chapter 25
  2. Engero Chapter 19
  3. Engero Chapter 23
  4. Engero Chapter 17
  5. Engero Chapter 12
  6. Engero Chapter 22
  7. Engero Chapter 16

Explore More from Yeremiya

  1. Yeremiya Chapter 46
  2. Yeremiya Chapter 37
  3. Yeremiya Chapter 41
  4. Yeremiya Chapter 7
  5. Yeremiya Chapter 11
  6. Yeremiya Chapter 24
  7. Yeremiya Chapter 4

Related Chapters & Readings

  1. Yobu Chapter 41
  2. Zabbuli Chapter 77
  3. Makko Chapter 2
  4. Yeremiya Chapter 30
  5. Okuva Chapter 18
  6. Okubala Chapter 33
  7. Isaaya Chapter 42
Share Your Love

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *