Matayo Chapter 22

For English

Read Matayo Chapter 22 Online

Read Matayo Chapter 22 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Matayo in the New Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Matayo and the Holy Bible online.

Choose a Chapter

Matayo 22

Essuula 22

1. Yesu n'addamu n'ayogera nabo nate mu ngero, ng'agamba nti

2. Obwakabaka obw'omu ggulu bufaananyizibwa omuntu eyali kabaka, eyamufumbira omwana we embaga ey'obugole,

3. n'atuma abaddu be okuyita abaayitirwa embaga ey'obugole: ne batayagala kujja.

4. N'atuma nate abaddu abalala, ng'agamba nti Mubuulire abantu abaayitibwa nti Laba, nfumbye embaga yange; ente zange n'eza ssava zittiddwa, ne byonna byeteeseteese: mujje ku mbaga ey'obugole.

5. Naye bo ne batassaayo mwoyo ne bagenda, omulala mu kyalo kye, omulala mu buguzi bwe:

6. abaasigalawo ne bakwata abaddu be, ne babagirira ekyejo, ne babatta.

7. Kabaka n'akwatibwa obusungu; n'agaba eggye lye, n'azikiriza abassi abo, n'ayokya ekibuga kyabwe.

8. Awo n'agamba abaddu be nti Obugole bweteeseteese, naye abo abaayitibwa tebasaanira.

9. Kale mugende mu masaŋŋanzira g'enguudo, bonna be munaalabayo mubayite ku mbaga ey'obugole:

10. Abaddu bali ne bagenda mu nguudo, ne bakuŋŋaanya bonna be baalaba, ababi n'abalungi: obugole ne bujjula abagenyi.

11. Naye kabaka bwe yayingira okulaba abagenyi, n'alabamu omuntu atayambadde kyambalo kya bugole:

12. n'amugamba nti Munnange, oyingidde otya wano nga tolina kyambalo kya bugole? n'abunira.

13. Awo kabaka n'agamba abaweereza be nti Mumusibe emikono n'amagulu, mumusuule mu kizikiza eky'ebweru; mwe muliba okukaaba n'okuluma obujiji.

14. Kubanga bangi abayitibwa, naye abalondemu batono.

15. Awo Abafalisaayo ne bagenda, ne bateesa wamu bwe banaamutega mu bigambo.

16. Ne bamutumira abayigirizwa baabwe, wamu n'Abakerodiyaani, ne bagamba nti Omuyigiriza, tumanyi ng'oli wa mazima, era ng'oyigiriza mu mazima ekkubo lya Katonda, so ebigambo by'omuntu yenna tobissaako mwoyo: kubanga tososola mu bantu.

17. Kale tubuulire, olowooza otya? Kirungi okuwa Kayisaali omusolo, oba si weewaawo?

18. Naye Yesu n'ategeera obubi bwabwe, n'agamba nti Munkemera ki, mmwe bannanfuusi?

19. Munjoleke effeeza ey'omusolo. Ne bamuleetera eddinaali.

20. N'abagamba nti Ekifaananyi kino n'obuwandiikeko by'ani?

21. Ne bamugamba nti Bya Kayisaali. Awo n'abagamba nti Kale musasule Kayisaali ebya Kayisaali; ne Katonda ebya Katonda.

22. Bwe baawulira, ne beewuunya, ne bamuleka, ne bagenda.

23. Ku lunaku olwo ne bajja gy'ali Abasaddukaayo, abagamba nti tewali kuzuukira: ne bamubuuza,

24. nga bagamba nti Omuyigiriza, Musa yagamba nti Omuntu bw'afanga, nga talina baana, muganda we addengawo awase mukazi we, azaalire muganda we ezzadde.

25. Awo ewaffe yaliyo ab'oluganda musanvu: ow'olubereberye n'awasa n'afa, naye nga bw'ataalina zzadde n'alekera muganda we mukazi we;

26. bw'atyo n'ow'okubiri, n'ow'okusatu, okutuusa bonna omusanvu.

27. Oluvannyuma, bonna nga baweddewo, omukazi n'afa.

28. Kale mu kuzuukira aliba muka ani ku abo omusanvu? kubanga bonna baabuna okumufumbirwa.

29. Naye Yesu n'addamu n'abagamba nti Mukyama olw'obutamanya ebyawandiikibwa, newakubadde amaanyi ga Katonda.

30. Kubanga mu kuzuukira tebawasa, so tebafumbirwa, naye bali nga bamalayika mu ggulu.

31. Naye eby'okuzuukira kw'abafu, temwasoma Katonda kye yabagamba nti

32. Nze ndi Katonda wa Ibulaimu, era Katonda wa Isaaka, era Katonda wa Yakobo? Si Katonda wa bafu, naye wa balamu.

33. Ebibiina bwe byawulira ne byewuunya okuyigiriza kwe.

34. Naye Abafalisaayo bwe baawulira nti abunizza Abasaddukaayo, ne bakuŋŋaanira wamu.

35. Omu ku bo, ow'amateeka, n'amubuuza ng'amukema nti

36. Omuyigiriza ekiragiro ekikulu mu mateeka kiruwa?

37. Naye n'amugamba nti Yagalanga Mukama Katonda wo n'omutima gwo gwonna, n'obulamu bwo bwonna, n'amagezi go gonna.

38. Kino kye kiragiro ekikulu eky'olubereberye.

39. N'eky'okubiri ekikifaanana kye kino nti Yagalanga muliraanwa wo nga bwe weeyagala wekka.

40. Mu biragiro bino byombi amateeka gonna mwe gasinziira, era ne bannabbi.

41. Abafalisaayo bwe baakuŋŋaana, Yesu n'ababuuza,

42. ng'agamba nti Kristo mumulowooza mutya? ye mwana w'ani? Ne bamugamba nti Wa Dawudi.

43. N'abagamba nti Kale, Dawudi mu Mwoyo kiki ekimuyisa Mukama we, ng'agamba nti

44. Mukama yagamba Mukama wange nti Tuula ku mukono gwange ogwa ddyo, Okutuusa lwe ndissa abalabe bo wansi w'ebigere byo?

45. Kale oba nga Dawudi amuyita Mukama we, ali atya omwana we?

46. Ne wataba muntu eyayinza okumuddamu ekigambo, era okuva ku lunaku olwo tewali muntu eyayaŋŋanga okumubuuza ekigambo nate.

About Matayo Chapter 22

Read Matayo Chapter 22 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Matayo in the New Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.

Book Information

Book: Matayo
Chapter: 22
Testament: New Testament

How to Read this Chapter

Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Matayo. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.

https://www.youtube.com/watch?v=rzsT_Q3KLzE

More Resources

Continue Reading the Bible

Continue reading Matayo Chapter 22 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.

Frequently Asked Questions

What is Matayo Chapter 22?

Matayo Chapter 22 is part of the Book of Matayo in the Holy Bible.

Can I read this chapter online?

Yes. You can read the complete Matayo Chapter 22 online for free with easy chapter navigation.

More Chapters from Endagaano Empya

  1. Ebikolwa Chapter 3
  2. Ebikolwa Chapter 4
  3. Ebikolwa Chapter 13
  4. Ebikolwa Chapter 2
  5. Ebikolwa Chapter 1
  6. Ebikolwa Chapter 27
  7. Ebikolwa Chapter 28

Explore More from matayo

  1. Matayo Chapter 9
  2. Matayo Chapter 24
  3. Matayo Chapter 2
  4. Matayo Chapter 20
  5. Matayo Chapter 4
  6. Matayo Chapter 15
  7. Matayo Chapter 13

Related Chapters & Readings

  1. Abaebbulaniya Chapter 2
  2. Zabbuli Chapter 65
  3. Zeffaniya Chapter 2
  4. Yokaana Chapter 3
  5. 1 Timoseewo Chapter 4
  6. Zabbuli Chapter 118
  7. Luusi Chapter 3
Share Your Love

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *