Olubereberye Chapter 12

For English

Read Olubereberye Chapter 12 Online

Read Olubereberye Chapter 12 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Olubereberye in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Olubereberye and the Holy Bible online.

Choose a Chapter

Olubereberye 12

Essuula 12

1. Awo Mukama n'agamba Ibulaamu nti Va mu nsi ya nnyo, era awali ekika kyo, n'ennyumba ya kitaawo, oyingire mu nsi gye ndikulaga:

2. nange ndikufuula eggwanga eddene, era naakuwanga omukisa, era naakuzanga erinnya lyo; era beeranga mukisa ggwe:

3. nange naabawanga omukisa abanaakusabiranga ggwe omukisa, n'oyo anaakukolimiranga naamukolimiranga nze; ne mu ggwe ebika byonna eby'omu nsi mwe biriweerwa omukisa.

4. Bw'atyo Ibulaamu n'agenda, nga Mukama bwe yamugamba; ne Lutti n'agenda naye: Ibulaamu yali yaakamaze emyaka nsanvu mu etaano bwe yava mu Kalani.

5. Ibulaamu n'atwala Salaayi mukazi we, ne Lutti omwana wa muganda we, n'ebintu byabwe byonna bye baali bakuŋŋaanyizza; n'abantu be baafunira mu Kalaani; ne bavaayo okuyingira mu nsi ya Kanani; ne bayingira mu nsi ya Kanani.

6. Ibulaamu n'ayita mu nsi n'atuuka mu kifo kya Sekemu, awali omuvule gwa Mmoole. Era Omukanaani yali mu nsi mu biro ebyo.

7. Mukama n'alabikira Ibulaamu, n'ayogera nti Ezzadde lyo ndiriwa ensi eno: n'azimbira eyo ekyoto eri Mukama eyamulabikira.

8. N'avaayo n'agenda awali olusozi ku luuyi olw'ebuvanjuba olw'e Beseri, n'asimba eweema ye, e Beseri nga kiri ku luuyi olw'ebugwanjuba, ne Ayi ku luuyi olw'ebuvanjuba: n'azimbira eyo ekyoto eri Mukama, n'akaabira erinnya lya Mukama.

9. Ibulaamu n'atambula, ng'akyakwata ekkubo ery'obukiika obwa ddyo.

10. Ne wagwa enjala mu nsi: Ibulaamu n'aserengeta mu Misiri, okutuula omwo; kubanga enjala yali nnyingi mu nsi.

11. Awo, bwe yali ng'anaatera okuyingira mu Misiri, n'alyoka agamba Salaayi mukazi we nti Laba, mmanyi nga gw'oli mukazi mulungi okutunuulira:

12. kale, Abamisiri bwe balikulaba, kyebaliva boogera nti Oyo ye mukazi we: era balinzita, nze, naye ggwe balikuwonya mulamu.

13. Oyogeranga, nkwegayiridde, nga gw'oli mwannyinaze: ndyoke ndabe ebirungi ku bubwo, n'obulamu bwange buwone ku lulwo.

14. Awo Ibulaamu bwe yamala okuyingira mu Misiri, Abamisiri ne balaba omukazi nga mulungi nnyo.

15. N'abakungu ba Falaawo ne bamulaba, ne bamutendereza eri Falaawo; ne batwala omukazi mu nnyumba ya Falaawo.

16. N'akola bulungi Ibulaamu ku bubwe: n'aba n'endiga, n'ente, n'endogoyi ensajja, n'abaddu, n'abazaana, n'endogoyi enkazi, n'eŋŋamira.

17. Mukama n'abonyaabonya Falaawo n'ennyumba ye n'ebibonoobono ebikulu olwa Salaayi mukazi wa Ibulaamu.

18. Falaawo n'ayita Ibulaamu, n'ayogera nti Kino kiki ky'onkoze? kiki ekyakulobera okumbuulira nga ye mukazi wo?

19. Kiki ekyakwogeza nti Ye mwannyinaze, nange n'okutwala ne mmutwala okuba mukazi wange: kale kaakano laba mukazi wo, omutwale, weegendere.

20. Falaawo n'amulagiririza abasajja: ne bamuwerekerako ye ne mukazi we ne byonna bye yalina.

About Olubereberye Chapter 12

Read Olubereberye Chapter 12 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Olubereberye in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.

Book Information

Book: Olubereberye
Chapter: 12
Testament: Old Testament

How to Read this Chapter

Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Olubereberye. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.

https://www.youtube.com/watch?v=rzsT_Q3KLzE

More Resources

Continue Reading the Bible

Continue reading Olubereberye Chapter 12 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.

Frequently Asked Questions

What is Olubereberye Chapter 12?

Olubereberye Chapter 12 is part of the Book of Olubereberye in the Holy Bible.

Can I read this chapter online?

Yes. You can read the complete Olubereberye Chapter 12 online for free with easy chapter navigation.

More Chapters from Endagaano Enkadde

  1. Engero Chapter 23
  2. Engero Chapter 17
  3. Engero Chapter 16
  4. Engero Chapter 12
  5. Engero Chapter 28
  6. Engero Chapter 25
  7. Engero Chapter 19

Explore More from Olubereberye

  1. Olubereberye Chapter 36
  2. Olubereberye Chapter 35
  3. Olubereberye Chapter 34
  4. Olubereberye Chapter 7
  5. Olubereberye Chapter 21
  6. Olubereberye Chapter 47
  7. Olubereberye Chapter 3

Related Chapters & Readings

  1. Eseza Chapter 1
  2. 2 Samwiri Chapter 24
  3. Zabbuli Chapter 50
  4. Engero Chapter 15
  5. Matayo Chapter 24
  6. Okubala Chapter 25
  7. Abaggalatiya Chapter 3
Share Your Love

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *