Ekyamateeka Chapter 27

For English

Read Ekyamateeka Chapter 27 Online

Read Ekyamateeka Chapter 27 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Ekyamateeka in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Ekyamateeka and the Holy Bible online.

Choose a Chapter

Ekyamateeka 27

Essuula 27

1. Awo Musa n'abakadde ba Isiraeri, ne balagira abantu, nga boogera nti Mwekuumenga ekiragiro kyonna kye mbalagira leero.

2. Kale olulituuka ku lunaku olwo lwe mulisomoka Yoludaani okuyingira mu nsi Mukama Katonda wo gy'akuwa, olyesimbira amayinja amanene, n'ogasiigako ennoni:

3. era oliwandiika ku go ebigambo byonna eby'amateeka gano, bw'olimala okusomoka; olyoke oyingire mu nsi Mukama Katonda wo gy'akuwa, ensi ekulukuta amata n'omubisi gw'enjuki, nga Mukama, Katonda wa bajjajja bo, bwe yakusuubiza.

4. Awo olulituuka bwe muliba nga musomose Yoludaani; ne mulyoka musimba amayinja gano, ge mbalagira leero, ku lusozi Ebali, n'ogasiigako ennoni.

5. Era olizimbira eyo ekyoto kya Mukama Katonda wo, ekyoto eky'amayinja: togayimusangako kintu kya kyuma.

6. Ekyoto kya Mukama Katonda wo onookizimbyanga amayinja agatali mateme: era okwo kw'onooweeranga ebiweebwayo ebyokebwa eri Mukama Katonda wo:

7. era onoosalanga ebiweebwayo olw'emirembe, n'oliiranga eyo; era onoosanyukiranga mu maaso ga Mukama Katonda wo.

8. Era oliwandiikira ddala bulungi ku mayinja ago ebigambo byonna eby'amateeka gano.

9. Awo Musa ne bakabona Abaleevi ne bagamba Isiraeri yenna nti Musirike, muwulire, ggwe Isiraeri; leero ofuuse eggwanga lya Mukama Katonda wo.

10. Kyonoovanga ogondera eddoboozi lya Mukama Katonda wo, n'okolanga ebiragiro bye n'amateeka ge, bye nkulagira leero.

11. Awo Musa n'akuutiira abantu ku lunaku olwo, ng'ayogera nti

12. Bano be baliyimirira ku lusozi Gerizimu okusabira abantu omukisa nga mumaze okusomoka Yoludaani; Simyoni, ne Leevi, ne Yuda, ne Isakaali, ne Yusufu, ne Benyamini:

13. era bano be baliyimirira ku lusozi Ebali olw'okukolima; Lewubeeni; Gaadi, ne Aseri, ne Zebbulooni; Ddaani, ne Nafutaali.

14. Kale Abaleevi baliddamu ne bagamba abasajja bonna aba Isiraeri n'eddoboozi ddene nti

15. Akolimirwe omuntu akola ekifaananyi ekyole oba ekifumbe, eky'omuzizo eri Mukama; omulimu gw'engalo z'omukozi, n'akisimba mu kyama. Abantu bonna ne baddamu ne bagamba nti Amiina.

16. Akolimirwe oyo anyooma kitaawe oba nnyina. Abantu bonna ne bagamba nti Amiina.

17. Akolimirwe oyo ajjulula ensalo ya muliraanwa we. Abantu bonna ne bagamba nti Amiina.

18. Akolimirwe oyo akyamya omuzibe w'amaaso okuva mu kkubo. Abantu bonna ne bagamba nti Amiina.

19. Akolimirwe oyo akyamya ensonga eya munnaggwanga n'atalina kitaawe ne nnamwandu. Abantu bonna ne bagamba nti Amiina.

20. Akolimirwe oyo asula ne mukazi wa kitaawe; kubanga abikkudde olukugiro lwa kitaawe. Abantu bonna ne bagamba nti Amiina:

21. Akolimirwe oya asula n'ensolo yonna yonna. Abantu bonna ne bagamba nti Amiina.

22. Akolimirwe oyo asula ne mwannyina, muwala wa kitaawe oba muwala wa nnyina. Abantu bonna ne bagamba nti Amiina.

23. Akolimirwe oyo asula ne mukoddomi we. Abantu bonna ne bagamba nti Amiina.

24. Akolimirwe oyo akuba muliraanwa we mu kyama. Abantu bonna ne bagamba nti Amiina.

25. Akolimirwe oyo alya empeera olw'okuttisa omuntu ataliiko musango. Abantu bonna ne bagamba nti Amiina.

26. Akolimirwe oyo atanyweza bigambo by’amateeka gano okubikolanga. Abantu bonna ne bagamba nti Amiina.

About Ekyamateeka Chapter 27

Read Ekyamateeka Chapter 27 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Ekyamateeka in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.

Book Information

Book: Ekyamateeka
Chapter: 27
Testament: Old Testament

How to Read this Chapter

Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Ekyamateeka. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.

https://www.youtube.com/watch?v=rzsT_Q3KLzE

More Resources

Continue Reading the Bible

Continue reading Ekyamateeka Chapter 27 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.

Frequently Asked Questions

What is Ekyamateeka Chapter 27?

Ekyamateeka Chapter 27 is part of the Book of Ekyamateeka in the Holy Bible.

Can I read this chapter online?

Yes. You can read the complete Ekyamateeka Chapter 27 online for free with easy chapter navigation.

More Chapters from Ekyamateeka

  1. Ekyamateeka Chapter 20
  2. Ekyamateeka Chapter 15
  3. Ekyamateeka Chapter 4
  4. Ekyamateeka Chapter 9
  5. Ekyamateeka Chapter 3
  6. Ekyamateeka Chapter 5
  7. Ekyamateeka Chapter 16

Explore More from Endagaano Enkadde

  1. 2 Samwiri Chapter 17
  2. Zabbuli Chapter 48
  3. Okubala Chapter 23
  4. Isaaya Chapter 47
  5. Eseza Chapter 6
  6. Zabbuli Chapter 46
  7. Omubuulizi Chapter 7

Related Chapters & Readings

  1. Ebikolwa Chapter 17
  2. Olubereberye Chapter 14
  3. Olubereberye Chapter 7
  4. Zabbuli Chapter 25
  5. Yona Chapter 4
  6. Zabbuli Chapter 115
  7. Zabbuli Chapter 17
Share Your Love

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *