Isaaya Chapter 3

For English

Read Isaaya Chapter 3 Online

Read Isaaya Chapter 3 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Isaaya in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Isaaya and the Holy Bible online.

Choose a Chapter

Isaaya 3

Essuula 3

1. Kubanga; laba, Mukama, Mukama ow’eggye, aggya ku Yerusaalemi ne ku Yuda ekibeesiguza n'ekyo kwe banyweredde, ekibeesiguza kyonna eky'emmere, n'ekibeesiguza kyonna eky'amazzi;

2. omusajja ow'amaanyi, n'omusajja omuzira; omulamuzi, ne nnabbi, n'omulaguzi, n'omukadde;

3. omukulu ow'amakumi ataano n'ow'ekitiibwa n'ateesa ebigambo ne ffundi ow'amagezi n'omufumu ow'obukabakaba.

4. Era ndireeta abaana okuba abalangira baabwe, era abaana abawere balibafuga.

5. Era abantu balijoogebwa, buli muntu munne, na buli muntu muliraanwa we: omuto aligirira ekyejo omukadde, n'omukopi aligirira ekyejo ow'ekitiibwa.

6. Omuntu bw'alikwata muganda we mu nnyumba ya kitaawe, ng'ayogera nti Ggwe olina eby'okwambala, beera mufuzi waffe ggwe, n'okubula kuno kubeere wansi w'omukono gwo:

7. ku lunaku olwo aliyimusa eddoboozi lye, ng'ayogera nti Sijja kuba muwonya; kubanga mu nnyumba yange temuli mmere newakubadde eby'okwambala: temujja kunfuula mufuzi wa bantu.

8. Kubanga Yerusaalemi kizikiridde, ne Yuda agudde: kubanga olulimi lwabwe n'ebikolwa byabwe biwakanya Mukama, okusunguwaza amaaso ag'ekitiibwa kye.

9. Ekifaananyi ky'obwenyi bwabwe kitegeeza nga gubasinze; era babuulira ekibi kyabwe nga Sodomu, tebakikisa. Zisanze obulamu bwabwe! kubanga beesasulidde bokka obubi.

10. Mwogere ku mutuukirivu nti anaabanga bulungi: kubanga banaalyanga ebibala by'ebikolwa byabwe.

11. Zisanze omubi anaabanga bubi: kubanga anaaweebwanga empeera y'engalo ze.

12. Abantu bange abaana abato be babajooga, era abakazi be babafuga. Woowe abantu bange, ababakulembera babakyamya, era bazikiriza ekkubo lyammwe eritambulirwamu.

13. Mukama ayimirira okuwoza, era ayimirira okusala omusango gw'amawanga.

14. Mukama alisala omusango gw'abakadde b'abantu be n'abalangira baabwe: Mmwe mwaliira ddala olusuku lw'emizabbibu; omunyago gw'omwavu guli mu nnyumba zammwe:

15. mubadde ki okubetentanga abantu bange, n'okusanga amaaso g'abaavu? bw'ayogera Mukama, Mukama ow'eggye.

16. Era nate Mukama yayogera nti Kubanga abawala ba Sayuuni balina amalala, era batambula nga balalambaza ensingo era nga balina amaaso ag'obukaba, nga batambula era nga bakumba bwe bagenda, era nga bavuza ebigere byabwe:

17. Mukama kyaliva alwaza ebikakampa obwezinge bw'omutwe gw'abawala ba Sayuuni, Mukama n'abikkula ku nsonyi zaabwe.

18. Ku lunaku olwo Mukama aliggyako obuyonjo bw'amasamba gaabwe, n'enkundulu zaabwe, n'ebifaanana ng'emyezi;

19. n'emijugo, n'emisagga, n'engoye ez'oku maaso;

20. ebiremba, n'obudangadi, n'enneebagyo, n'obucupa obw'akaloosa, n'ensiriba;

21. empeta n'empeta ez'omu nnyindo;

22. engoye ez'amabala, n'eminagiro, n'essuuka, n'ensawo;

23. endabirwamu, ne bafuta, n'ebiremba, n'ezibikka ku mitwe.

24. Awo olulituuka awaali eby'akaloosa walibaawo ekivundu; n'awaali olwebagyo mugwa; n'awaali enviiri ensunsule obulungi kiwalata; n’awaali ekizibawo kwesiba kibukutu: awaali obuyonjo kwokebwa.

25. Abasajja bo ekitala kiribatta, n'abazira bo balifiira mu ntalo.

26. N'enzigi ze zirikaaba ziriwuubaala; era ye aliba munaku, alituula ku ttaka.

About Isaaya Chapter 3

Read Isaaya Chapter 3 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Isaaya in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.

Book Information

Book: Isaaya
Chapter: 3
Testament: Old Testament

How to Read this Chapter

Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Isaaya. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.

https://www.youtube.com/watch?v=rzsT_Q3KLzE

More Resources

Continue Reading the Bible

Continue reading Isaaya Chapter 3 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.

Frequently Asked Questions

What is Isaaya Chapter 3?

Isaaya Chapter 3 is part of the Book of Isaaya in the Holy Bible.

Can I read this chapter online?

Yes. You can read the complete Isaaya Chapter 3 online for free with easy chapter navigation.

More Chapters from Endagaano Enkadde

  1. Engero Chapter 25
  2. Engero Chapter 19
  3. Engero Chapter 23
  4. Engero Chapter 17
  5. Engero Chapter 12
  6. Engero Chapter 22
  7. Engero Chapter 16

Explore More from Isaaya

  1. Isaaya Chapter 63
  2. Isaaya Chapter 35
  3. Isaaya Chapter 43
  4. Isaaya Chapter 12
  5. Isaaya Chapter 14
  6. Isaaya Chapter 38
  7. Isaaya Chapter 22

Related Chapters & Readings

  1. Okubala Chapter 27
  2. Zekkaliya Chapter 3
  3. Zabbuli Chapter 96
  4. Zabbuli Chapter 139
  5. Zabbuli Chapter 148
  6. Engero Chapter 29
  7. Zabbuli Chapter 43
Share Your Love

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *