Lukka Chapter 13

For English

Read Lukka Chapter 13 Online

Read Lukka Chapter 13 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Lukka in the New Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Lukka and the Holy Bible online.

Choose a Chapter

Lukka 13

Essuula 13

1. Awo mu biro ebyo waaliwo abantu abaali bali awo abaamubuulira eby'Abagaliraaya bali, Piraato be yatabulira omusaayi gwabwe ne ssaddaaka zaabwe.

2. N'addamu n'abagamba nti Mulowooza nga Abagaliraaya abo baali boonoonyi okusinga Abagaliraaya bonna, kubanga baabonyaabonyezebwa batyo?

3. Mbagamba nti Si bwe kityo: naye bwe muteenenya, mulizikirira mwenna bwe mutyo.

4. Oba bali ekkumi n'omunaana, ekigo eky'omu Sirowamu be kyagwako ne kibatta, mulowooza baali bakozi ba bubi okusinga abantu bonna abaali mu Yerusaalemi?

5. Mbagamba nti Si bwe kityo: naye bwe muteenenya, mulizikirira mwenna bwe nnyo.

6. N'ayogera olugero luno, nti Waaliwo omuntu eyalina omutiini ogwali gusimbiddwa mu lusuku lwe olw'emizabbibu; n'ajja ng'agunoonyaako ebibala n'atabiraba.

7. N'agamba omulimi nti Laba, leero emyaka esatu nga njija okunoonya ebibala ku mutiini guno, ne ssibiraba; guteme; n'okwemala gwemalira ki ekifo obwereere?

8. Ye n'addamu n'amugamba nti Mukama wange, guleke mu mwaka guno era, ngutemeretemere, nguteekeko obusa;

9. bwe gulibala ebibala oluvannyuma, kirungi; naye oba nga si bwe kityo, oligutema.

10. Awo ku lunaku lwa ssabbiiti yali ng'ayigiriza mu limu ku makuŋŋaaniro.

11. Era, laba, omukazi eyali yaakalwalira dayimooni ow'obunafu emyaka ekkumi n'omunaana; ng'agongobadde nga tayinza kwegolola n'akatono.

12. Awo Yesu bwe yamulaba, n'amuyita n'amugamba nti Omukazi, osumuluddwa obulwadde bwo.

13. N'amussaako emikono, amangu ago n'aba mugolokofu, n'atendereza Katonda.

14. Naye omukulu w'ekkuŋŋaaniro bwe yanyiiga kubanga Yesu awonyezza omuntu ku ssabbiiti, n'addamu n'agamba ekibiina nti Waliwo ennaku omukaaga ezigwana okukolerangako emirimu: kale mujjirenga ku ezo okuwonyezebwa, naye si ku lunaku lwa ssabbiiti.

15. Naye Mukama waffe n'amuddamu n'agamba nti Bannanfuusi, buli omu ku mmwe ku lunaku lwa ssabbiiti tayimbula nte ye oba ndogoyi ye mu kisibo, n'agitwala okuginywesa?

16. Era oyo omwana wa Ibulayimu eyasibirwa Setaani, laba, emyaka kkumi na munaana, tagwanidde kusumululwa mu busibe obwo ku lunaku lwa ssabbiiti?

17. Awo bwe yali ng'ayogera ebyo, abalabe be bonna ne baswala: n'ekibiina kyonna ne basanyukira byonna eby'ekitiibwa ebikoleddwa ye.

18. Kyeyava agamba nti Obwakabaka bwa Katonda bufaanana na ki? era nnaabufaananya na ki?

19. Bufaanana akaweke ka kalidaali, omuntu ke yaddira n'akasuula mu nnimiro ye; ne kakula, ne kaba muti; ennyonyi ez'omu bbanga ne zituula ku matabi gaagwo.

20. Ate n'agamba nti Obwakabaka bwa Katonda nnaabufaananya na ki?

21. Bufaanana ekizimbulukusa, omukazi kye yaddira n'akikisa mu bibbo bisatu eby'obutta, bwonna ne buzimbulukuka.

22. N'atambula mu bibuga ne mu mbuga ng'ayigiriza ng'agenda e Yerusaalemi.

23. Omuntu n'amugamba nti Mukama wange, be batono abalokolebwa? Ye n'abagamba nti

24. Mufubenga okuyingira mu mulyango omufunda: kubanga mbagamba nti bangi abalinoonya okuyingira, so tebaliyinza.

25. Nannyini nnyumba bw'alimala okugolokoka, n'aggalawo oluggi, ne musooka okuyimirira ebweru, n'okukonkona ku luggi, nga mugamba nti Mukama waffe, tuggulirewo; kale alibaddamu n'abagamba nti Sibamanyi gye muva;

26. ne mulyoka mutanula okugamba nti Twaliiranga era twanyweranga mu maaso go, era wayigiririzanga mu nguudo zaffe;

27. kale aligamba nti Mbagamba nti simanyi gye muva: muve we ndi; mwenna abakola ebitali bya butuukirivu.

28. Eyo eribaayo okukaaba n'okuluma obujiji bwe muliraba Ibulayimu ne Isaaka ne Yakobo ne bannabbi bonna mu bwakabaka bwa Katonda, nammwe nga musuuliddwa ebweru.

29. Balijja nga bava ebuvanjuba n'ebugwanjuba, n'obukiika obwa kkono n'obwa ddyo, balituula mu bwakabaka bwa Katonda.

30. Era, laba, waliwo ab'oluvannyuma abaliba ab'olubereberye, era waliwo ab'olubereberye abaliba ab'oluvannyuma.

31. Mu kiseera ekyo Abafalisaayo ne bajja, ne bamugamba nti Va wano, weegendere: kubanga Kerode ayagala kukutta.

32. N'abagamba nti Mugende mugambe enkerettanyi eyo nti Laba, ngoba dayimooni mponya abantu leero n'enkya, ne ku lunaku olw'okusatu ndituukirizibwa.

33. Naye kiŋŋwanidde okutambulako leero n'enkya n'olw'ebbiri; kubanga tekiyinzika nnabbi kuzikiririra bweru wa Yerusaalemi.

34. Ggwe Yerusaalemi, Yerusaalemi, atta bannabbi, akuba amayinja abatumibwa gy'ali! emirundi emeka nga njagala okukuŋŋaanya abaana bo, ng'enkoko bw'ekuŋŋaanyiza obwana bw'ayo mu biwaawaatiro byayo, so temwakkiriza!

35. Laba, ennyumba yammwe ebalekeddwa kifulukwa; era mbagamba nti Temulindaba, okutuusa lwe muligamba nti Aweereddwa omukisa ajja mu linnya lya Mukama.

About Lukka Chapter 13

Read Lukka Chapter 13 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Lukka in the New Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.

Book Information

Book: Lukka
Chapter: 13
Testament: New Testament

How to Read this Chapter

Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Lukka. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.

https://www.youtube.com/watch?v=rzsT_Q3KLzE

More Resources

Continue Reading the Bible

Continue reading Lukka Chapter 13 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.

Frequently Asked Questions

What is Lukka Chapter 13?

Lukka Chapter 13 is part of the Book of Lukka in the Holy Bible.

Can I read this chapter online?

Yes. You can read the complete Lukka Chapter 13 online for free with easy chapter navigation.

More Chapters from Endagaano Empya

  1. Ebikolwa Chapter 4
  2. Ebikolwa Chapter 3
  3. Ebikolwa Chapter 13
  4. Ebikolwa Chapter 11
  5. Ebikolwa Chapter 27
  6. Ebikolwa Chapter 8
  7. Ebikolwa Chapter 2

Explore More from lukka

  1. Lukka Chapter 19
  2. Lukka Chapter 21
  3. Lukka Chapter 16
  4. Lukka Chapter 7
  5. Lukka Chapter 6
  6. Lukka Chapter 14
  7. Lukka Chapter 10

Related Chapters & Readings

  1. Yeremiya Chapter 48
  2. Koseya Chapter 7
  3. Olubereberye Chapter 33
  4. Isaaya Chapter 34
  5. Olubereberye Chapter 20
  6. 2 Samwiri Chapter 16
  7. Isaaya Chapter 18
Share Your Love

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *