Read Ebikolwa Chapter 6 Online
Read Ebikolwa Chapter 6 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Ebikolwa in the New Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Ebikolwa and the Holy Bible online.
Choose a Chapter
Ebikolwa 6
Essuula 6
1. Awo mu nnaku ezo, abayigirizwa bwe beeyongera obungi, ne wabaawo okwemulugunya mu Bakerenisiti ku Baebbulaniya, kubanga bannamwandu baabwe baabafissanga mu kuweereza okwa bulijjo.
2. Ekkumi n'ababiri ne bayita ekibiina ky'abayigirizwa, ne bagamba nti Tekiwooma ffe okulekanga ekigambo kya Katonda okuweerezanga ku mmeeza.
3. Kale, ab'oluganda, mulonde abantu mu mmwe abasiimibwa musanvu, abajjudde Omwoyo Omutukuvu n'amagezi, be tunaateeka ku mulimu guno;
4. naye ffe tunaanyiikiranga mu kusaba n'okuweereza ekigambo.
5. Ekigambo ekyo ne kisiimibwa mu maaso g'ekibiina kyonna; ne balonda Suteefano, omuntu eyajjula okukkiriza n'Omwoyo Omutukuvu, ne Firipo, ne Pulokolo, ne Nikanoli, ne Timooni, ne Pammena, ne Nikolaawo, omukyufu ow'e Antiyokiya;
6. ne babateeka mu maaso g'abatume; ne basaba, ne babassaako emikono.
7. Ekigambo kya Katonda ne kibuna; omuwendo gw'abayigirizwa mu Yerusaalemi ne gweyongerako nnyo; ekibiina kinene ekya bakabona ne bagondera okukkiriza.
8. Suteefano bwe yajjula ekisa n'amaanyi n'akolanga amagero n'obubonero obunene mu bantu.
9. Naye ne bayimuka abantu abamu ab'ekkuŋŋaaniro eriyitibwa ery'Abalibettino, n'ery'Abakuleene n'ery'Abalegezanderiya n'ery'Abakirukiya n'ery'Abasiya, nga bawakana ne Suteefano:
10. so tebaayinza kusobola magezi n'Omwoyo bye yayogeza.
11. Awo ne baweerera abantu abaagamba nti Twawulira oyo ng'ayogera ebigambo eby'okuvuma Musa ne Katonda.
12. Ne bakubiriza abantu, n'abakadde n'abawandiisi, ne bajja gy'ali, ne bamukwata, ne bamutwala mu lukiiko,
13. ne bayimiriza abajulirwa ab'obulimba abaagamba nti Omuntu oyo taleka kwogera bigambo ku kifo kino ekitukuvu n'amateeka:
14. kubanga twamuwulira ng'agamba nti Yesu Omunazaaleesi oyo alizikiriza ekifo kino, aliwaanyisa n'empisa ze twaweebwa Musa.
15. Bwe baamwekaliriza amaaso, bonna abaali batudde mu lukiiko ne bamulaba amaaso ge nga gafaanana ng'aga malayika.
About Ebikolwa Chapter 6
Read Ebikolwa Chapter 6 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Ebikolwa in the New Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.
Book Information
Book: Ebikolwa
Chapter: 6
Testament: New Testament
How to Read this Chapter
Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Ebikolwa. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.
More Resources
Continue Reading the Bible
Continue reading Ebikolwa Chapter 6 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.
Frequently Asked Questions
What is Ebikolwa Chapter 6?
Ebikolwa Chapter 6 is part of the Book of Ebikolwa in the Holy Bible.
Can I read this chapter online?
Yes. You can read the complete Ebikolwa Chapter 6 online for free with easy chapter navigation.
More Chapters from ebikolwa
- Ebikolwa Chapter 3
- Ebikolwa Chapter 13
- Ebikolwa Chapter 4
- Ebikolwa Chapter 11
- Ebikolwa Chapter 8
- Ebikolwa Chapter 2
- Ebikolwa Chapter 27
Explore More from Endagaano Empya
- 2 Abakkolinso Chapter 6
- Makko Chapter 11
- Lukka Chapter 10
- Abakkolosaayi Chapter 2
- Lukka Chapter 20
- Okubikkulirwa Chapter 6
- Yokaana Chapter 3