Read 1 Peetero Chapter 4 Online
Read 1 Peetero Chapter 4 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of 1 Peetero in the New Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of 1 Peetero and the Holy Bible online.
Choose a Chapter
1 Peetero 4
Essuula 4
1. Kale kubanga Kristo yabonyaabonyezebwa mubiri, nammwe mwambalenga ebyokulwanyisa gwe mwoyo ogwo; kubanga abonyaabonyezebwa omubiri ng'amaze okuleka ebibi;
2. mulyoke mumale ebiro byammwe ebisigaddeyo nga mukyali mu mubiri, si lwa kwegomba kwa bantu, naye olw'ebyo Katonda by'ayagala.
3. Kubanga ebiro ebyayita byayinza okutumala okukolanga ab'amawanga bye baagala, n'okutambuliranga mu bwenzi, okwegomba, okwekamirira omwenge, ebinyumu, obutamiivu, n'okusinza ebifaananyi okw'omuzizo:
4. ebyo bye bibeewuunyisa kubanga temuddukira wamu nabo mu bukaba obutalabwanga bwe butyo, nga babavuma:
5. abaliwoza ensonga eri oyo eyeeteeseteese okusala omusango gw'abalamu n'abafu.
6. Kubanga enjiri kyeyava ebuulirwa era n'abafu, balyoke basalirwe omusango ng'abantu bwe bali mu mubiri, naye babeere abalamu nga Katonda bw'ali mu mwoyo.
7. Naye enkomerero ya byonna eri kumpi: kale mwegenderezenga mutamiirukukenga olw'okusaba:
8. okusinga byonna nga mulina okwagalananga okungi ennyo mwekka na mwekka: kubanga okwagala kubikka ku bibi bingi:
9. nga musembezaganyanga awatali kwemulugunya:
10. nga buli muntu bwe yaweebwa ekirabo, nga mukiweereza mwekka na mwekka bwe mutyo, ng'abawanika abalungi ab'ekisa kya Katonda ekitali kimu;
11. omuntu yenna bw'ayogeranga, ayogerenga ng'ebiragiro bya Katonda bwe biri; omuntu yenna bw'aweerezanga, aweerezenga ng'amaanyi Katonda g'amuwa bwe gali: mu byonna Katonda agulumizibwenga ku bwa Yesu Kristo, alina ekitiibwa n'obuyinza emirembe n'emirembe. Amiina.
12. Abaagalwa, temwewuunyanga olw'okwokebwa okuli mu mmwe, okujja gye muli olw'okubakema, ng'abalabye eky'ekitalo:
13. naye, kubanga mussa kimu mu bibonoobono bya Kristo, musanyukenga; era ne mu kubikkulibwa kw'ekitiibwa kye mulyoke musanyuke n'okujaguza.
14. Bwe muvumibwanga olw'erinnya lya Kristo, mulina omukisa; kubanga Omwoyo ogw'ekitiibwa era ogwa Katonda atuula ku mmwe.
15. Kubanga omuntu yenna ku mmwe tabonyaabonyezebwanga nga mussi, oba mubbi, oba mukozi wa bubi, oba aketta ebya banne:
16. naye omuntu yenna bw'abonyaabonyezebwanga nga Omukristaayo, takwatibwanga nsonyi; naye atenderezanga Katonda mu linnya eryo.
17. Kubanga obudde butuuse omusango gutandikirwe mu nnyumba ya Katonda: kale, oba nga gusoose gye tuli, enkomerero guliba gutya eri abo abatagondera njiri ya Katonda?
18. Era oba nga kizibu omutuukirivu okulokoka, atatya Katonda omwonoonyi alirabika wa?
19. Kale n'abo ababonyaabonyezebwa nga Katonda bw'ayagala bamuteresenga Omutonzi omwesigwa, obulamu bwabwe olw'okukola obulungi.
About 1 Peetero Chapter 4
Read 1 Peetero Chapter 4 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of 1 Peetero in the New Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.
Book Information
Book: 1 Peetero
Chapter: 4
Testament: New Testament
How to Read this Chapter
Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading 1 Peetero. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.
More Resources
Continue Reading the Bible
Continue reading 1 Peetero Chapter 4 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.
Frequently Asked Questions
What is 1 Peetero Chapter 4?
1 Peetero Chapter 4 is part of the Book of 1 Peetero in the Holy Bible.
Can I read this chapter online?
Yes. You can read the complete 1 Peetero Chapter 4 online for free with easy chapter navigation.
More Chapters from 1-peetero
Explore More from Endagaano Empya
- Ebikolwa Chapter 12
- Matayo Chapter 14
- Matayo Chapter 5
- Okubikkulirwa Chapter 7
- 2 Abakkolinso Chapter 6
- 1 Abakkolinso Chapter 4
- 1 Yokaana Chapter 4