Ekyamateeka Chapter 9

For English

Read Ekyamateeka Chapter 9 Online

Read Ekyamateeka Chapter 9 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Ekyamateeka in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Ekyamateeka and the Holy Bible online.

Choose a Chapter

Ekyamateeka 9

Essuula 9

1. Wulira, ggwe Isiraeri: ogenda okusomoka Yoludaani leero, okuyingira okulya amawanga agakusinga obunene n'amaanyi, ebibuga ebinene ebyazimbibwako ebigo okutuuka mu ggulu,

2. abantu abanene abawanvu, abaana b'Anaki, b'omanyi, era be wawulirako nga bagamba nti Ani ayinza okuyimirira mu maaso g'abaana ba Anaki?

3. Kale manya leero nga Mukama Katonda wo ye wuuyo asomoka okukukulembera ng'omuliro ogwokya; ye alibazikiriza, era alibamegga mu maaso go: bw'otyo bw'olibagobamu, n'obazikiriza mangu, nga Mukama bwe yakugamba.

4. Toyogeranga mu mutima gwo, Mukama Katonda wo bw'alimala okubasindika mu maaso go, ng'ogamba nti Olw'obutuukirivu bwange Mukama kyavudde annyingiza okulya ensi eno: kubanga olw'obubi bw'amawanga ago Mukama kyava agagoba mu maaso go.

5. Si lwa butuukirivu bwo so si lwa bugolokofu bwa mutima gwo, kyova oyingira okulya ensi yaabwe: naye olw'obubi bw'amawanga ago Mukama Katonda wo kyava agagoba mu maaso go, era alyoke anyweze ekigambo Mukama kye yalayirira bajjajja bo, Ibulayimu, Isaaka, ne Yakobo.

6. Kale manya nga Mukama Katonda wo takuwa nsi eno nnungi okugirya lwa butuukirivu bwo; kubanga oli ggwanga eririna ensingo enkakanyavu.

7. Jjukira teweerabiranga bwe wasunguwaza Mukama Katonda wo mu ddungu: okuva ku lunaku lwe waviiramu mu nsi y'e Misiri okutuusa lwe mwajja mu kifo kino; mujeemera Mukama.

8. Era ne ku Kolebu mwasunguwaza Mukama, Mukama n'abanyiigira okubazikiriza.

9. Bwe nnali nga mmaze okulinnya ku lusozi okuweebwa ebipande eby'amayinja, bye bipande eby'endagaano Mukama gye yalagaana nammwe, ne ndyoka mmala ku lusozi ennaku amakumi ana emisana n'ekiro; saalyanga mmere so saanywanga mazzi.

10. Mukama n’ampa ebipande bibiri eby'amayinja ebyawandiikibwako n'engalo ya Katonda; era ku byo kwawandiikibwa ng'ebigambo byonna bwe biri, Mukama bye yayogera nammwe ku lusozi ng'ayima wakati mu muliro ku lunaku olw'okukuŋŋaanirako.

11. Awo olwatuuka ennaku amakumi ana bwe zaayitawo emisana n'ekiro, Mukama n'ampa ebipande ebibiri eby'amayinja, bye bipande eby'endagaano.

12. Mukama n'aŋŋamba nti Golokoka ove wano oserengete mangu: kubanga abantu bo be waggya mu Misiri beeyoonoonye; bakyamye mangu okuva mu kkubo lye nnabalagira; beekoledde ekifaanaayi ekisaanuuse.

13. Era Mukama ne yeeyongera n'aŋŋamba nti Ndabye eggwanga lino, era, laba, lye ggwanga eririna ensingo enkakanyavu:

14. ndeka mbazikirize, nsangule erinnya lyabwe wansi w'eggulu: era ndifuula ggwe eggwanga eribasinga amaanyi n'obukulu.

15. Awo ne nkyuka ne nva ku lusozi, era olusozi nga lwaka omuliro: n’ebipande eby'endagaano byombi nga biri mu mikono gyange gyombi.

16. Ne ntunula, era, laba, mwali mumaze okusobya ku Mukama Katonda wammwe; mwali mumaze okwekolera ennyana ensaanuuse: mwali mumaze okukyama amangu okuva mu kkubo Mukama lye yabalagira.

17. Ne nkwata ebipande byombi, ne mbisuula mu mikono gyange gyombi, ne mbimenya mu maaso gammwe.

18. Ne nvuunamira mu maaso ga Mukama, ng'olubereberye, ennaku amakumi ana emisana n'ekiro; saalyanga mmere so saanywanga mazzi; olw'okwonoona kwammwe kwonna kwe mwayonoona, nga mukola ekyali mu maaso ga Mukama ekibi okumusunguwaza.

19. Kubanga natya obusungu n'ekiruyi, Mukama bwe yali abasunguwalidde okubazikiriza. Naye Mukama n’ampulira n'omulundi guli.

20. Mukama n’asunguwalira nnyo Alooni okumuzikiriza: era ne nsabira ne Alooni mu biro ebyo.

21. Ne nzirira ekibi kyammwe, ennyana gye mwali mukoze, ne ngyokya omuliro, ne ngisambirira, nga ngisekulasekula nnyo, okutuusa lwe yafaanana ng'enfuufu: ne nsuula enfuufu yaayo mu kagga akaserengeta okuva ku lusozi.

22. Era e Tabera, n’e Masa, n'e Kiberosukataava mwasunguwalizaayo Mukama.

23. Awo Mukama bwe yabatuma okuva e Kadesubanea, ng'ayogera nti Mwambuke mulye ensi gye mbawadde; ne mulyoka mujeemera ekiragiro kya Mukama Katonda wammwe, so temwamukkiriza, so temwawulira ddoboozi lye.

24. Mujeemera Mukama okuva ku lunaku lwe nnabamanya.

25. Awo ne nvuunamira mu maaso ga Mukama ennaku amakumi ana emisana n’ekiro ze nnavuunamirira; kubanga Mukama yali ayogedde ng'agenda okubazikiriza.

26. Ne nsaba Mukama ne njogera nti Ai Mukama Katonda, tozikiriza bantu bo na busika bwo, be wanunula olw'obukulu bwo, be waggya mu Misiri n'engalo ez'amaanyi.

27. Jjukira abaddu bo, Ibulayimu, Isaaka, ne Yakobo; totunuulira bukakanyavu bwa bantu bano newakubadde obubi bwabwe newakubadde okwonoona kwabwe:

28. ensi gye watuggyamu ereme okwogera nti Kubanga Mukama teyayinza kubaleeta: mu nsi gye yabasuubiza; era kubanga yabakyawa, kyeyava abafulumya mu ddungu okubatta.

29. Naye be bantu bo, era bwe busika bwo, be waggyamu n'obuyinza bwo obungi n’omukono gwo ogwagololwa.

About Ekyamateeka Chapter 9

Read Ekyamateeka Chapter 9 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Ekyamateeka in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.

Book Information

Book: Ekyamateeka
Chapter: 9
Testament: Old Testament

How to Read this Chapter

Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Ekyamateeka. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.

https://www.youtube.com/watch?v=rzsT_Q3KLzE

More Resources

Continue Reading the Bible

Continue reading Ekyamateeka Chapter 9 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.

Frequently Asked Questions

What is Ekyamateeka Chapter 9?

Ekyamateeka Chapter 9 is part of the Book of Ekyamateeka in the Holy Bible.

Can I read this chapter online?

Yes. You can read the complete Ekyamateeka Chapter 9 online for free with easy chapter navigation.

More Chapters from Ekyamateeka

  1. Ekyamateeka Chapter 27
  2. Ekyamateeka Chapter 20
  3. Ekyamateeka Chapter 15
  4. Ekyamateeka Chapter 4
  5. Ekyamateeka Chapter 3
  6. Ekyamateeka Chapter 5
  7. Ekyamateeka Chapter 2

Explore More from Endagaano Enkadde

  1. Koseya Chapter 6
  2. 2 Ebyomumirembe Chapter 25
  3. Ezekyeri Chapter 19
  4. Yoswa Chapter 7
  5. 2 Ebyomumirembe Chapter 33
  6. 2 Bassekabaka Chapter 23
  7. Nekkemiya Chapter 1

Related Chapters & Readings

  1. 1 Samwiri Chapter 29
  2. Ekyabalamuzi Chapter 18
  3. Okuva Chapter 33
  4. Isaaya Chapter 10
  5. 1 Bassekabaka Chapter 19
  6. Ekyamateeka Chapter 11
  7. Zabbuli Chapter 79
Share Your Love

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *