Omubuulizi Chapter 7

For English

Read Omubuulizi Chapter 7 Online

Read Omubuulizi Chapter 7 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Omubuulizi in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Omubuulizi and the Holy Bible online.

Choose a Chapter

Omubuulizi 7

Essuula 7

1. Erinnya eddungi lisinga amafuta ag'omugavu ag'omuwendo omungi; n'olunaku olw'okufiiramu lusinga olunaku olw'okuzaalirwamu.

2. Okugenda mu nnyumba ey'okuwuubaaliramu, kusinga okugenda mu nnyumba ey'okuliiramu embaga: kubanga eyo ye nkomerero y'abantu bonna; n'omulamu alikiteeka ku mutima gwe.

3. Ennaku zisinga enseko: kubanga obuyinike bw'amaaso bwe busannyusa omutima.

4. Omutima gw'abagezigezi guba mu nnyumba ey'okuwuubaaliramu; naye omutima gw'abasirusiru guba mu nnyumba ey'ebinyumu.

5. Okuwulira okunenya kw'omugezigezi kusinga okuwulira oluyimba olw'abasirusiru.

6. Kubanga amaggwa nga bwe gatulikira wansi w'entamu, enseko z'omusirusiru bwe ziba bwe zityo: era n'ezo butaliimu

7. Mazima obukamuzi bufuula omugezigezi okuba omusirusiru; era enguzi emalamu okutegeera.

8. Enkomerero y'ekigambo esinga obulungi okusooka kwakyo: alina omwoyo ogugumiikiriza asinga alina omwoyo ogw'amalala.

9. Toyangayirizanga mu mwoyo gwo okusunguwala: kubanga obusungu bubeera mu kifuba ky'abasirusiru.

10. Toyogeranga nti Nsonga ki ennaku ez'edda kyezaavanga zisinga zinno? kubanga tobuuza kino lwa magezi.

11. Amagezi genkana obulungi obusika: weewaawo, gasinga okuwooma eri abo abalaba enjuba.

12. Kubanga amagezi kigo, nga ffeeza bw'eri ekigo: naye okumanya kyekuva kusinga obulungi, kubanga amagezi gakuuma obulamu bwa nnyini go.

13. Lowooza omulimu gwa Katonda: kubanga ani ayinza okuluŋŋamya ekyo ye kye yanyoola?

14. Osanyukiranga ku lunaku olw'okulabiramu omukisa, era olowoolezanga ku lunaku olw'okulabiramu ennaku: Katonda yaliraanya olwo ku mabbali g'olwo, omuntu alemenga okulaba ekintu kyonna ekiriba oluvannyuma lwe.

15. Ebyo byonna nabirabira mu nnaku ez'obutaliimu bwange: waliwo omuntu omutuukirivu azikirira mu butuukirivu bwe, era waliwo omuntu omubi awangaalira mu kukola obubi bwe.

16. Tosukkiriranga kuba mutuukirivu; so teweefuulanga asukkiriza amagezi: lwaki ggwe okwezikiriza?

17. Tosukkiriranga kuba mubi, so tobanga musirusiru: lwaki ggwe okufa ekiseera kyo nga tekinnatuuka?

18. Kirungi okwatenga ekyo; weewaawo, na kiri tokiggyaako mukono gwo: kubanga atya Katonda anaavanga mu byonna.

19. Amagezi maanyi eri omugezigezi okusinga abafuga kkumi abali mu kibuga.

20. Mazima tewali muntu mutuukirivu ku nsi akola ebirungi n'atayonoona.

21. Era tossaayo mwoyo eri ebigambo byonna ebyogerwa; olemenga okuwulira omuddu wo ng'akukolimira:

22. kubanga emirundi mingi omutima gwo ggwe nagwo gumanyi nga naawe bw'otyo wakolimira abalala.

23. Ebyo byonna nabikema lwa magezi: nayogera nti Ndiba mugezigezi; naye ne gambeera wala.

24. Ekiriwo kiri wala era kigenda wansi nnyo; ani ayinza okukikebeera?

25. Nakyuka, omutima gwange ne ngukakasa okumanyanga n'okukenneenyanga, n'okunoonyanga amagezi n'ensonga z'ebigambo n'okumanyanga ng'obubi busirusiru, era ng'obusirusiru ddalu:

26. era ndaba ekigambo ekisinga okufa okubalagala, ye mukazi, omutima gwe byambika n'ebitimba; n'emikono gye giri ng'enjegere: buli asanyusa Katonda alimuwona; naye alina ebibi alikwatibwa ye.

27. Laba, kino kye nnalaba, bw'ayogera Omubuulizi, nga nteeka ekigambo ekirala ku kirala okunoonya ensonga:

28. emmeeme yange ky'ekyanoonya, naye sinnakiraba: omusajja omu mu lukumi gwe nnalaba; naye omukazi mu abo bonna gwe ssirabanga.

29. Laba, kino kyokka kye nnalaba nga Katonda yakola abantu nga bagolokofu; naye bo ne banoonya bingi bye baagunja.

About Omubuulizi Chapter 7

Read Omubuulizi Chapter 7 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Omubuulizi in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.

Book Information

Book: Omubuulizi
Chapter: 7
Testament: Old Testament

How to Read this Chapter

Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Omubuulizi. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.

https://www.youtube.com/watch?v=rzsT_Q3KLzE

More Resources

Continue Reading the Bible

Continue reading Omubuulizi Chapter 7 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.

Frequently Asked Questions

What is Omubuulizi Chapter 7?

Omubuulizi Chapter 7 is part of the Book of Omubuulizi in the Holy Bible.

Can I read this chapter online?

Yes. You can read the complete Omubuulizi Chapter 7 online for free with easy chapter navigation.

More Chapters from Endagaano Enkadde

  1. Engero Chapter 12
  2. Engero Chapter 23
  3. Engero Chapter 19
  4. Engero Chapter 10
  5. Engero Chapter 7
  6. Engero Chapter 26
  7. Engero Chapter 25

Explore More from omubuulizi

  1. Omubuulizi Chapter 11
  2. Omubuulizi Chapter 4
  3. Omubuulizi Chapter 1
  4. Omubuulizi Chapter 9
  5. Omubuulizi Chapter 3
  6. Omubuulizi Chapter 12
  7. Omubuulizi Chapter 2

Related Chapters & Readings

  1. Nekkemiya Chapter 1
  2. Engero Chapter 23
  3. 1 Abakkolinso Chapter 14
  4. Isaaya Chapter 66
  5. Olubereberye Chapter 7
  6. Okuva Chapter 6
  7. Olubereberye Chapter 1
Share Your Love

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *