Read 2 Ebyomumirembe Chapter 8 Online
Read 2 Ebyomumirembe Chapter 8 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of 2 Ebyomumirembe in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of 2 Ebyomumirembe and the Holy Bible online.
Choose a Chapter
2 Ebyomumirembe 8
Essuula 8
1. Awo olwatuuka emyaka amakumi abiri bwe gyayitawo Sulemaani mwe yazimbira ennyumba ya Mukama n'ennyumba ye ye,
2. ebibuga Kulamu bye yawa Sulemaani, Sulemaani n'abizimba n’atuuza omwo abaana ba Isiraeri.
3. Awo Sulemaani n'agenda e Kamasuzoba n'akimenya.
4. n'azimba Tadumoli mu ddungu n’ebibuga byonna eby'okuterekeramu yazimba mu Kamasi.
5. Era, n’azimba ne Besukolooni ekya waggulu, ne Besukolooni ekya wansi, ebibuga ebiriko enkomera ne bbugwe n’enzigi n'ebisiba;
6. ne Baalasi n’ebibuga byonna eby'okuterekeramu Sulemaani bye yalina, n'ebibuga byonna eby'amagaali ge n'ebibuga eby'abasajja be abeebagala embalaasi, ne byonna Sulemaani bye yayagala okuzimba olw'okwesanyusa kwe mu Yerusaalemi ne mu, Lebanooni ne mu nsi yonna ey'amatwale ge.
7. Abantu bonna abaasigalawo ku Bakiiti n'Abamoli n'Abaperini n'Abakiivi n'Abayebusi abatali ba ku Baisiraeri;
8. ku baana baabwe abaasigalawo oluvannyuma lwabwe mu nsi, abaana ba Isiraeri be bataazikiriza, ku abo Sulemaani kwe yasoloozanga (abaddu) ne leero.
9. Naye ku baana ba Isiraeri Sulemaani teyafuulangako baddu olw'omulimu gwe; naye ne baba basajja balwanyi era abakulu b'abaami be era abafuga amagaali ge n'abasajja be abeebagala embalaasi.
10. Era bano be baali abaami abakulu aba kabaka Sulemaani, ebikumi bibiri mu ataano abaafuganga abantu.
11. Sulemaani n'ayambusa muwala wa Falaawo ng'amuggya mu kibuga kya Dawudi n'amuleeta mu nnyumba gye yamuzimbira: kubanga yayogera nti Mukazi wange tajja kubeera mu nnyumha ya Dawudi kabaka wa Isiraeri, kubanga ebifo bitukuvu essanduuko ya Mukama gye yatuuka.
12. Awo Sulemaani n'awangayo ebiweebwayo ebyokebwa eri Mukama ku kyoto kya Mukama kye yazimba mu maaso g'ekisasi,
13. ng'ebyagwanira buli lunaku bwe byali, ng'awaayo ng'ekiragiro kya Musa bwe kyali ku ssabbiiti n'emyezi nga kye gijje giboneke ne ku mbaga ezaalagirwa, emirundi esatu buli mwaka, ku mbaga ey'emigaati egitazimbulukuswa ne ku mbaga eya ssabbiiti ne ku mbaga ey'ensiisira.
14. N'agaba empalo za bakabona olw'okuweereza kwabwe ng'ekiragiro kya Dawudi kitaawe bwe kyali, n'awa Abaleevi ebyo bye baalagirwa, okutenderezanga n'okuweereza mu maaso ga bakabona, ng'ebyagwanira buli lunaku bwe byali: era n'abaggazi ng'empalo zaabwe bwe zaali ku buli mulyango: kubanga bw'atyo Dawudi omusajja wa Katonda bwe yalagira.
15. Ne batava mu kiragiro kya kabaka kye yalagira bakabona n'Abaleevi olw'ekigambo kyonna oba olw'ebintu ebyaterekebwa.
16. Awo omulimu gwonna ogwa Sulemaani ne gutegekerwa olunaku olw'okussaawo emisingi gy'ennyumba ya Mukama n'okutuusa lwe yaggwa. Bw'etyo ennyumba ya Mukama n'etuusibwa ddala.
17. Awo Sulemaani n'agenda Eziyonigeba ne Erosi ekiri ku ttale y'ennyanja mu nsi ya Edomu.
18. Kulamu n'amuweereza mu mikono gy'abaddu be ebyombo n'abaddu abaamanya ennyanja; ne bajja wamu n'abaddu ba Sulemaani e Ofiri, ne bakimayo zaabu talanta ebikumi bina mu ataano, ne bazireeta eri kabaka Sulemaani.
About 2 Ebyomumirembe Chapter 8
Read 2 Ebyomumirembe Chapter 8 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of 2 Ebyomumirembe in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.
Book Information
Book: 2 Ebyomumirembe
Chapter: 8
Testament: Old Testament
How to Read this Chapter
Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading 2 Ebyomumirembe. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.
More Resources
Continue Reading the Bible
Continue reading 2 Ebyomumirembe Chapter 8 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.
Frequently Asked Questions
What is 2 Ebyomumirembe Chapter 8?
2 Ebyomumirembe Chapter 8 is part of the Book of 2 Ebyomumirembe in the Holy Bible.
Can I read this chapter online?
Yes. You can read the complete 2 Ebyomumirembe Chapter 8 online for free with easy chapter navigation.
More Chapters from 2 Ebyomumirembe
- 2 Ebyomumirembe Chapter 34
- 2 Ebyomumirembe Chapter 19
- 2 Ebyomumirembe Chapter 9
- 2 Ebyomumirembe Chapter 15
- 2 Ebyomumirembe Chapter 10
- 2 Ebyomumirembe Chapter 6
- 2 Ebyomumirembe Chapter 22
Explore More from Endagaano Enkadde
- Yobu Chapter 27
- Amosi Chapter 3
- Eseza Chapter 4
- Danyeri Chapter 8
- Ezekyeri Chapter 37
- Olubereberye Chapter 18
- 2 Samwiri Chapter 19