Mikka Chapter 6

For English

Read Mikka Chapter 6 Online

Read Mikka Chapter 6 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Mikka in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Mikka and the Holy Bible online.

Choose a Chapter

Mikka 6

Essuula 6

1. Kale muwulire ebyo Mukama by'ayogera; nti Yimuka, yomba mu maaso g'ensozi; obusozi buwulire eddoboozi lyo.

2. Muwulire, mmwe ensozi, ennyombo za Mukama, era mmwe emisingi egy'ensi egy'oluberera: kubanga Mukama alina ennyombo n'abantu be, aliwoza ne Isiraeri.

3. Mmwe abantu bange, mbakoze ki? nali mbakooyezza naki? munnumirize.

4. Kubanga nakuggya mu nsi y'e Misiri ne nkununula mu nnyumba ey'obuddu; ne nkukulembeza Musa ne Alooni ne Miryamu.

5. Mmwe abantu bange, mujjukire nno Balaki kabaka wa Mowaabu bye yateesa, era Balamu omwana wa Byoli bye yamuddamu; mujjukire ebyabaawo okuva e Sittimu okutuuka e Girugaali, mulyoke mumanye ebikolwa eby'obutuukirivu ebya Mukama.

6. Najja naki eri Mukama ne nvuunama mu maaso ga Katonda asinga byonna? mmusemberere n'ebiweebwayo ebyokebwa, n'ennyana ezaakamaze omwaka gumu?

7. Mukama alisiima endiga eza seddume enkumi oba emigga egy'amafuta obukumi? mpeeyo omwana wange omubereberye olw'okwonoona kwange, mpeeyo ekibala ky'omubiri gwange olw'ekibi eky'omu mmeeme yange?

8. Akubuulidde, ggwe omuntu, ekirungi bwe kiri; era Mukama akusalira kiki, wabula okukola eby'ensonga, era okwagala ekisa, era okutambula n'obuwombeefu ne Katonda wo?

9. Eddoboozi lya Mukama lyogerera waggulu eri ekibuga, n'ow'amagezi aliraba erinnya lyo; muwulire omuggo, n'oyo bw'ali agulagidde.

10. Ebintu eby'omuwendo eby'obubi bikyali mu nnyumba y'omubi, n'ekigera ekitatuuka eky'omuzizo?

11. Ndiba mulongoofu bwe mba ne minzaani ey'obubi n'ensawo erimu ebipima eby'obulimba?

12. Kubanga abagagga baakyo bajjudde ekyejo, n'abo ababeera mu kyo boogedde eby'obulimba, n'olulimi lwabwe lwa bulimba mu kamwa kaabwe:

13. Nange kyenvudde nkufumita ekiwundu ekinene; nkuzisizza olw'ebibi byo.

14. Olirya, so tolikkuta; era okutoowazibwa kwo kuliba wakati wo; era olijjulula, naye tolitwala mirembe; era ky'otwala ndikiwaayo eri ekitala.

15. Olisiga, naye tolikungula; olirinnyirira zeyituuni, naye tolisaaba mafuta; era olisogola, naye tolinywa ku mwenge.

16. Kubanga ebyalagirwa Omuli bikuumibwa, era ebikolwa byonna eby'omu nnyumba ya Akabu; nammwe mutambulira mu kuteesa kwabwe; ndyoke nkufuule ekifulukwa, n'abo ababeera mu kyo eky'okuduulirwa; nammwe mulitwala ebivume by'abantu bange.

About Mikka Chapter 6

Read Mikka Chapter 6 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Mikka in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.

Book Information

Book: Mikka
Chapter: 6
Testament: Old Testament

How to Read this Chapter

Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Mikka. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.

https://www.youtube.com/watch?v=rzsT_Q3KLzE

More Resources

Continue Reading the Bible

Continue reading Mikka Chapter 6 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.

Frequently Asked Questions

What is Mikka Chapter 6?

Mikka Chapter 6 is part of the Book of Mikka in the Holy Bible.

Can I read this chapter online?

Yes. You can read the complete Mikka Chapter 6 online for free with easy chapter navigation.

More Chapters from Endagaano Enkadde

  1. Engero Chapter 12
  2. Engero Chapter 23
  3. Engero Chapter 19
  4. Engero Chapter 7
  5. Engero Chapter 25
  6. Engero Chapter 17
  7. Engero Chapter 14

Explore More from mikka

  1. Mikka Chapter 2
  2. Mikka Chapter 5
  3. Mikka Chapter 4
  4. Mikka Chapter 1
  5. Mikka Chapter 3
  6. Mikka Chapter 7

Related Chapters & Readings

  1. Ekyamateeka Chapter 8
  2. Okubala Chapter 36
  3. Zabbuli Chapter 96
  4. Abaebbulaniya Chapter 12
  5. 2 Abasessaloniika Chapter 1
  6. Olubereberye Chapter 24
  7. Kaabakuuku Chapter 2
Share Your Love

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *