Read Yobu Chapter 7 Online
Read Yobu Chapter 7 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Yobu in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Yobu and the Holy Bible online.
Choose a Chapter
Yobu 7
Essuula 7
1. Abantu tebalina lutalo ku nsi? N'ennaku zaabwe tezifaanana nnaku z'oyo akolera empeera?
2. Ng'omuddu ayaayaanira ennyo ekisiikirize, Era ng'oyo akolera empeera bw'asuubira empeera ye:
3. Bwe ntyo nange bwe mmazibwa emyezi egitaliiko kye gigasa, N'ebiseera eby'ekiro ebinkooya byanteekerwawo.
4. Bwe ngalamira ne njogera nti Naayimuka ddi? naye ekiro kirwawo; Era nsula nneekubiira okukeesa obudde.
5. Omubiri gwange gwambadde envunyu n'amafunfugu; Eddiba lyange liziba ne litulika nate.
6. Ennaku zange ziwulukuka mangu okusinga obutanta bw'omulusi w'engoye, Era ziggwaawo awatali ssuubi.
7. Woowe, jjukira ng'obulamu bwange mpewo: Amaaso gange tegakyalaba nate birungi.
8. Eriiso ly'oyo andaba terikyandaba nate: Amaaso go galiba ku nze, naye nga siriiwo.
9. Ekire nga bwe kiggwaawo ne kibula, Bw'atyo n'oyo akka mu magombe taalinnyenga kuvaayo.
10. Taddenga nate mu nnyumba ye, So n'ekifo kye tekiimumanyenga nate.
11. Kyennaava nnema okuziyiza akamwa kange; Naayogeza obubalagaze bw'omwoyo gwange; Neemulugunyisa obuyinike bw'emmeeme yange.
12. Nze nnyanja, oba lukwata, N'okussaako n'onzisaako abankuuma?
13. Bwe njogera nti Ekitanda kyange kinansanyusa, Ekiriri kyange kinaawummuza okwemulugunya kwange;
14. Kale n'olyoka ontiisa n'ebirooto, N'onkanga n'okwolesebwa:
15. Emmeeme yange n'okweroboza ne yeeroboza okutugibwa, N'okufa okusinga amagumba gange gano.
16. Ntamiddwa obulamu bwange; saagala kuba mulamu ennaku zonna: Ndeka; kubanga ennaku zange teziriimu.
17. Omuntu kye kiki, ggwe okumukuza, Era ggwe okumussaako omwoyo gwo.
18. N'okumujjira buli nkya, N'okumukema buli kaseera?
19. Olituusa wa obutanziyangako maaso, N'obutandekanga okumala okumira amalusu gange?
20. Oba nga nnyonoonye, nkukola ki ggwe, ggwe alabirira abantu? Kiki ekyakunteesaawo okuba sabbaawa gy'oli, N'okuzitowa ne nneezitoowerera nze nzekka?
21. Era kiki ekikulobera okusonyiwa okusobya kwange n'okuggyawo obutali butuukirivu bwange? Kubanga kaakano naagalamira mu nfuufu; Naawe olinnoonyeza ddala, naye nze nga siriiwo.
About Yobu Chapter 7
Read Yobu Chapter 7 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Yobu in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.
Book Information
Book: Yobu
Chapter: 7
Testament: Old Testament
How to Read this Chapter
Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Yobu. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.
More Resources
Continue Reading the Bible
Continue reading Yobu Chapter 7 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.
Frequently Asked Questions
What is Yobu Chapter 7?
Yobu Chapter 7 is part of the Book of Yobu in the Holy Bible.
Can I read this chapter online?
Yes. You can read the complete Yobu Chapter 7 online for free with easy chapter navigation.
More Chapters from Endagaano Enkadde
- Engero Chapter 23
- Engero Chapter 17
- Engero Chapter 16
- Engero Chapter 12
- Engero Chapter 28
- Engero Chapter 14
- Engero Chapter 13
Explore More from Yobu
- Yobu Chapter 37
- Yobu Chapter 32
- Yobu Chapter 33
- Yobu Chapter 19
- Yobu Chapter 17
- Yobu Chapter 12
- Yobu Chapter 34