Ekyabalamuzi Chapter 4

For English

Read Ekyabalamuzi Chapter 4 Online

Read Ekyabalamuzi Chapter 4 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Ekyabalamuzi in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Ekyabalamuzi and the Holy Bible online.

Choose a Chapter

Ekyabalamuzi 4

Essuula 4

1. Abaana ba Isiraeri ne beeyongera nate okukola ekyali mu maaso ga Mukama ekibi, Ekudi bwe yamala okufa.

2. Mukama n'abatunda mu mukono gwa Yabini kabaka wa Kanani, eyafugira mu Kazoli; omugabe w'eggye lye Sisera, eyatuula mu Kalosesi eky'ab'amawanga.

3. Abaana ba Isiraeri ne bakaabira Mukama: kubanga yali alina amagaali ag'ekyuma lwenda; n'ajoogera nnyo abaana ba Isiraeri emyaka abiri.

4. Era Debola, nnabbi, omukazi wa Lappidosi, ye yalamulanga Isiraeri mu biro ebyo.

5. Era yatuulanga wansi w'olukindu lwa Debola wakati w'e Laama n'e Beseri mu nsi ya Efulayimu ey'ensozi: abaana ba Isiraeri ne bambukanga gy'ali okubasaliranga emisango.

6. N'atuma n'ayita Balaki, mutabani wa Abinoamu ave mu Kedesunafutaali, n'amugamba nti Mukama, Katonda wa Isiraeri, talagidde nti Genda mukuŋŋaanire eri olusozi Taboli, otwale naawe abasajja kakumi ku baana ba Nafutaali ne ku baana ba Zebbulooni?

7. Nange ndiwalulira gy'oli eri omugga Kisoni Sisera omugabe w'eggye lya Yabini, n'amagaali ge n'ekibiina kye; nange ndimugabula mu mukono gwo.

8. Balaki n'amugamba nti Ggwe bw'oligenda nange, kale ndigenda: naye bw'otoligenda nange ggwe, sirigenda.

9. N'agamba nti Mazima ndigenda naawe: naye olugendo lw'ogenda teruliba lwa kitiibwa kyo; kubanga Mukama alitunda Sisera mu mukono gw'omukazi: Debola n'agolokoka n'agenda ne Balaki e Kedesi.

10. Balaki n'ayita Zebbulooni ne Nafutaali bakuŋŋaanire e Kedesi; ne bayambukayo abasajja kakumi nga balinnya mu bigere bye: Debola n'ayambukira wamu naye.

11. Era Keberi Omukeeni yali ayawukanye n'Abakeeni, be baana ba Kobabu mukoddomi wa Musa, n'azimba eweema ye awali omwera mu Zaanannimu ekiri okumpi ne Kedesi.

12. Ne babuulira Sisera nga Balaki mutabani wa Abinoamu alinnye ku lusozi Taboli.

13. Sisera n'akuŋŋaanya amagaali ge gonna, amagaali ag'ekyuma lwenda, n'abantu bonna abaali naye, okuva ku Kalosesi eky'ab'amawanga okutuusa ku mugga Kisoni.

14. Debola n'agamba Balaki nti Golokoka; kubanga leero Mukama lw'agabudde Sisera mu mukono gwo: Mukama takukulembedde okutabaala? Awo Balaki n'ava ku lusozi Taboli, abasajja kakumi ne bamugoberera.

15. Mukama n'afufuggaza Sisera n'amagaali ge gonna n'eggye lye lyonna n'obwogi bw'ekitala mu maaso ga Balaki; Sisera n'ava mu ggaali lye, n'adduka n'ebigere.

16. Naye Balaki n'agoberera amagaali n'eggye okutuuka e Kalosesi eky'ab'amawanga: n'eggye lya Sisera lyonna obwogi bw'ekitala ne bulimalawo, tewaasigala muntu.

17. Naye Sisera n'adduka n'ebigere n'atuuka mu weema ya Yayeeri mukazi wa Keberi Omukeeni: kubanga Yabini kabaka we Kazoli n'ennyumba ya Keberi Omukeeni baali balina emirembe:

18. Yayeeri n'afuluma okusisinkana Sisera, n'amugamba nti Kyama, mukama wange, oyingire ewange, totya. N'akyama n'ayingira ewuwe mu weema n'amubikkako ekikunta.

19. N'amugamba nti Nkwegayiridde, mpa otuzzi nnywe, kubanga ennyonta ennuma. N'asumulula eddiba ery'amata, n'amunywesa, n’amubikkako.

20. N'amugamba nti yimirira mu mulyango gw'eweema, awo olunaatuuka, omuntu yenna bw'anajja n'akubuuza n'ayogera nti Omusajja yenna ali muno? naawe onooyogera nti Nedda.

21. Awo Yayeeri mukazi wa Keberi n'addira enkondo y'eweema, n'addira ennyondo mu mukono gwe, n'amusemberera ng'asooba, n'amukomerera enkondo mu kyenyi, n'eyitamu n’ekwata n'ettaka; kubanga yali yeebase otulo tungi; n'azirika n'afa.

22. Era, laba, Balaki ng'agoberera Sisera, Yayeeri n'afuluma okumusisinkana, n'amugamba nti jjangu, nange n'akulaga omusajja gw'onoonya. N'ajja gy'ali; era, laba, Sisera yali agalamidde afudde, n'enkondo ng'eri mu kyenyi kye.

23. Bw'atyo Katonda n'ajeemula ku lunaku olwo Yabini kabaka wa Kanani mu maaso g'abaana ba Isiraeri.

24. Omukono gw'abaana ba Isiraeri ne gweyongerayongera okuwangula Yabini kabaka wa Kanani, okutuusa lwe baamala okuzikiriza Yabini kabaka wa Kanani.

About Ekyabalamuzi Chapter 4

Read Ekyabalamuzi Chapter 4 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Ekyabalamuzi in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.

Book Information

Book: Ekyabalamuzi
Chapter: 4
Testament: Old Testament

How to Read this Chapter

Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Ekyabalamuzi. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.

https://www.youtube.com/watch?v=rzsT_Q3KLzE

More Resources

Continue Reading the Bible

Continue reading Ekyabalamuzi Chapter 4 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.

Frequently Asked Questions

What is Ekyabalamuzi Chapter 4?

Ekyabalamuzi Chapter 4 is part of the Book of Ekyabalamuzi in the Holy Bible.

Can I read this chapter online?

Yes. You can read the complete Ekyabalamuzi Chapter 4 online for free with easy chapter navigation.

More Chapters from ekyabalamuzi

  1. Ekyabalamuzi Chapter 5
  2. Ekyabalamuzi Chapter 2
  3. Ekyabalamuzi Chapter 9
  4. Ekyabalamuzi Chapter 8
  5. Ekyabalamuzi Chapter 6
  6. Ekyabalamuzi Chapter 3
  7. Ekyabalamuzi Chapter 1

Explore More from Endagaano Enkadde

  1. Isaaya Chapter 37
  2. Ebyabaleevi Chapter 27
  3. Yobu Chapter 16
  4. Ekyamateeka Chapter 21
  5. Engero Chapter 8
  6. Zabbuli Chapter 86
  7. Danyeri Chapter 12

Related Chapters & Readings

  1. Zekkaliya Chapter 3
  2. 2 Ebyomumirembe Chapter 15
  3. 2 Samwiri Chapter 16
  4. Olubereberye Chapter 40
  5. Olubereberye Chapter 19
  6. 1 Samwiri Chapter 1
  7. Ebikolwa Chapter 17
Share Your Love

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *