Isaaya Chapter 16

For English

Read Isaaya Chapter 16 Online

Read Isaaya Chapter 16 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Isaaya in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Isaaya and the Holy Bible online.

Choose a Chapter

Isaaya 16

Essuula 16

1. Muweereze abaana b'endiga b'oyo afuga ensi okuva e Seera ekyolekera eddungu okutuuka ku lusozi lwa muwala wa Sayuuni.

2. Kubanga olulituuka ng'ennyonyi ezaabula ng'ekisu ekyasaasaana bwe batyo bwe baliba bawala ba Mowaabu ku misomoko gya Alunoni.

3. Teesa ebigambo, mala omusango; fuula ekisiikirize kyo okuba ng'ekiro wakati mu ttuntu: kweka abagobeddwa; tolyamu lukwe adaagana.

4. Abange abagobeddwa batuule naawe; Mowaabu, beera kiddukiro gy'ali mu maaso g'omunyazi: kubanga omukanga azikiridde, okunyaga kuwedde, abajoozi bakomye mu nsi.

5. N'entebe ey'obwakabaka eneenywezebwanga mu kusaasira, era walibaawo aligituulako mu mazima, mu weema ya Dawudi; ng'asala emisango, era ng'agoberera eby'ensonga, era omwangu okukolanga eby'obutuukirivu.

6. Tuwulidde amalala ga Mowaabu, nga wa malala mangi nnyo; ekyejo kye n'amalala ge n'obusungu bwe; okwenyumiriza kwe tekuliimu.

7. Mowaabu kyaliva awowogganira Mowaabu, buli muntu aliwowoggana: mulinakuwalira emigaati egya zabbibu egy'e Kirukaleseesi, nga mukubiddwa ddala.

8. Kubanga ennimiro ez'e Kesubooni ziwotoka, n'omuzabbibu ogw'e Sibuma; abakungu ab'amawanga bamenyedde ddala emiti gyagwo egyasinga obulungi; gyabuna okutuuka e Yazeri, gyatuuka mu ddungu; amatabi gaagwo gaalanda, gaasomoka ennyanja.

9. Kyennaava nkaabira amaziga awamu n'okukaaba kwa Yazeri olw'omuzabbibu ogw'e Sibuma: naakufukirira amazzi n'amaziga gange, ggwe Kesubooni ne Ereyale: kubanga ku bibala byo eby'ekyengera ne ku bikungulwa byo kukubiddwako olube.

10. N'essanyu liggiddwawo, n'emizira giwedde mu nnimiro eŋŋimu; ne mu nsuku z'emizabbibu temuliba kuyimba, newakubadde eddoboozi ery'okusanyuka: tewaliba musogozi alisogolera omwenge mu masogolero; nkomezza emizira gy'abasogozi.

11. Ebyenda byange kyebiva bikaabira Mowaabu ng'ennanga, ne munda wange mmukaabira Kirukeresi.

12. Awo olulituuka, Mowaabu bw'alyeyanjula, bw'alyekooya ku kifo ekigulumivu, n'ajja mu watukuvu we okusaba, talisobola.

13. Ekyo kye kigambo Mukama kye yayogera ku Mowaabu mu biro eby'edda.

14. Naye kaakano Mukama ayogedde nti Emyaka esatu nga teginnaggwaako, ng'emyaka egy'omusenze akolera empeera bwe gibeera, ekitiibwa kya Mowaabu kirinyoomebwa awamu n'ekibiina kye kyonna ekinene; n'abo abalifikkawo baliba batono nnyo so tebaliba kintu.

About Isaaya Chapter 16

Read Isaaya Chapter 16 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Isaaya in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.

Book Information

Book: Isaaya
Chapter: 16
Testament: Old Testament

How to Read this Chapter

Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Isaaya. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.

https://www.youtube.com/watch?v=rzsT_Q3KLzE

More Resources

Continue Reading the Bible

Continue reading Isaaya Chapter 16 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.

Frequently Asked Questions

What is Isaaya Chapter 16?

Isaaya Chapter 16 is part of the Book of Isaaya in the Holy Bible.

Can I read this chapter online?

Yes. You can read the complete Isaaya Chapter 16 online for free with easy chapter navigation.

More Chapters from Endagaano Enkadde

  1. Engero Chapter 25
  2. Engero Chapter 19
  3. Engero Chapter 23
  4. Engero Chapter 17
  5. Engero Chapter 12
  6. Engero Chapter 22
  7. Engero Chapter 16

Explore More from Isaaya

  1. Isaaya Chapter 61
  2. Isaaya Chapter 31
  3. Isaaya Chapter 2
  4. Isaaya Chapter 60
  5. Isaaya Chapter 37
  6. Isaaya Chapter 19
  7. Isaaya Chapter 56

Related Chapters & Readings

  1. Oluyimba lwa Sulemaani Chapter 4
  2. Yobu Chapter 24
  3. 2 Bassekabaka Chapter 2
  4. Zabbuli Chapter 35
  5. Zabbuli Chapter 104
  6. Yeremiya Chapter 13
  7. Okubala Chapter 14
Share Your Love

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *