Read Yobu Chapter 8 Online
Read Yobu Chapter 8 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Yobu in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Yobu and the Holy Bible online.
Choose a Chapter
Yobu 8
Essuula 8
1. Awo Birudaadi Omusuki n'addamu n'ayogera nti
2. Olituusa wa okwogera ebyo? Era ebigambo eby'omu kamwa ko birituusa wa okuba ng'empewo ey'amaanyi?
3. Katonda anyoola omusango? Oba Omuyinza w'ebintu byonna anyoola ensonga?
4. Abaana bo oba nga baamwanoona, Ye n'abagabula mu mukono gw'okusobya kwabwe:
5. Bw'onokkiriza okunoonyeza ddala Katonda, Ne weegayirira Omuyinza w'ebintu byonna;
6. Singa obadde mulongoofu era wa mazima; Teyandiremye nno okukuzuukukira, N'awa omukisa ekifo omubeera obutuukirivu bwo.
7. Okusooka kwo newakubadde nga kwali kutono, Naye enkomerero yo ey'oluvannyuma yandyeyongedde nnyo.
8. Kubanga buuza ab'emirembe egyasooka, nkwegayiridde, Okenneenye ebyo bajjajjaabwe bye baanoonyeza ddala:
9. (Kubanga tuli ba jjo, so tetuliiko kye tumanyi, Kubanga ennaku zaffe ze tumala ku nsi kisiikirize:)
10. Bo tebalikuyigiriza ne bakubuulira, Ne boogera ebigambo ebiva mu mutima gwabwe?
11. Ekitoogo kiyinza okukula awatali bitosi? Olulago luyinza okumera awatali mazzi?
12. Nga lukyali lubisi nga terunnatemebwa, Luwotoka okusooka omuddo omulala gwonna.
13. Bwe gatyo bwe gabeera amakubo ga bonna abeerabira Katonda; N'essuubi ly'oyo atatya Katonda binaabulanga:
14. Obwesige bwe bunaakutukanga, N'ekyo kye yeesiga ngoye za nnabbubi.
15. Aneesigamanga ku nnyumba ye, naye teeyimirirenga: Anaaginywererangako, naye teegumenga.
16. Ayerera mu maaso g'enjuba, N'amalagala ge galanda okubuna olusuku lwe.
17. Emmizi gye gikwata ku kifunvu, Alaba ekifo eky'amayinja.
18. Bw'anaazikirizibwanga okuva mu kifo kye, Awo kinaamwegaananga nga kyogera nti Sikulabangako.
19. Laba, eryo lye ssanyu ery'ekkubo lye, N'abalala baliroka okuva mu ttaka.
20. Laba, Katonda taasuulenga muntu eyatuukirira. So taawanirirenga abo abakola obubi.
21. Bw'alimala alijjuza akamwa ko enseko, N’emimwa gyo okwogerera waggulu.
22. Abakukyawa balyambala ensonyi; N’eweema ey’ababi teribaawo nate.
About Yobu Chapter 8
Read Yobu Chapter 8 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Yobu in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.
Book Information
Book: Yobu
Chapter: 8
Testament: Old Testament
How to Read this Chapter
Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Yobu. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.
More Resources
Continue Reading the Bible
Continue reading Yobu Chapter 8 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.
Frequently Asked Questions
What is Yobu Chapter 8?
Yobu Chapter 8 is part of the Book of Yobu in the Holy Bible.
Can I read this chapter online?
Yes. You can read the complete Yobu Chapter 8 online for free with easy chapter navigation.
More Chapters from Endagaano Enkadde
- Engero Chapter 17
- Engero Chapter 12
- Engero Chapter 25
- Engero Chapter 22
- Engero Chapter 19
- Engero Chapter 23
- Engero Chapter 16
Explore More from Yobu
- Yobu Chapter 14
- Yobu Chapter 26
- Yobu Chapter 41
- Yobu Chapter 23
- Yobu Chapter 3
- Yobu Chapter 36
- Yobu Chapter 19