Read 1 Samwiri Chapter 29 Online
Read 1 Samwiri Chapter 29 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of 1 Samwiri in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of 1 Samwiri and the Holy Bible online.
Choose a Chapter
1 Samwiri 29
Essuula 29
1. Awo Abafirisuuti ne bakuŋŋaanyiza eggye lyabwe lyonna ku Afeki: Abaisiraeri ne basiisira ku luzzi oluli mu Yezuleeri.
2. Awo abaami b'Abafirisuuti ne bayitawo ebikumi n'ebikumi n'enkumi n'enkumi: Dawudi n'abasajja be ne bayitira wamu ne Akisi nga basemba.
3. Awo abakulu b'Abafirisuuti ne boogera nti Abaebbulaniya bakola ki wano Akisi n'agamba abakulu b'Abafirisuuti nti Ono si Dawudi, omuddu wa Sawulo kabaka wa Isiraeri, eyaakamala nange ennaku zino oba emyaka gino, so sirabanga kabi ku ye kasookedde asenga okutuusa leero?
4. Naye abakulu b'Abafirisuuti ne bamusunguwalira; abakulu b'Abafirisuuti ne bamugamba nti Muzzeeyo omusajja oyo addeyo mu kifo kye kye wamulagira, aleme okuserengetera awamu naffe mu lutalo, aleme okufuuka omulabe waffe mu lutalo kubanga olusajja luno lwandyetabaganyizza naki ne mukama we? si na mitwe gya basajja bano?
5. Ono si ye Dawudi gwe baayimbiraganako nga bazina, nga boogera nti Sawulo asse enkumi ze, Ne Dawudi obukumi bwe?
6. Awo Akisi n'ayita Dawudi n'amugamba nti Mukama nga bw'ali omulamu, wabanga mugolokofu, n'okufuluma kwo n'okuyingira awamu nange mu ggye kulungi mu maaso gange: kubanga sirabanga kabi ku ggwe okuva ku lunaku lwe wajja gye ndi ne leero: naye abaami tebakwagala.
7. Kale nno ddayo ogende mirembe oleme okunyiiza abaami b'Abafirisuuti.
8. Dawudi n'agamba Akisi nti Naye nkoze ki oba kiki ky'olabye ku muddu wo ebiro byonna bye nnaakamala nga ndi mu maaso go okutuusa leero, ekindobera okugenda ne nnwana n'abalabe ba mukama wange kabaka?
9. Akisi n'addamu n'agamba Dawudi nti Mmanyi ng'oli mulungi mu maaso gange nga malayika wa Katonda: naye abaami b'Abafirisuuti boogedde nti Tajja kwambuka naffe mu lutalo:
10. Kale nno golokoka enkya mu makya wamu n'abaddu ba mukama wo abajja naawe: awo amangu ago nga mugolokose enkya mu makya, obudde nga bukedde, mugende.
11. Awo Dawudi n'agolokoka mu makya, ye n'abasajja be, okugenda enkya, okuddayo mu nsi ey'Abafirisuuti. Abafirisuuti ne bambuka e Yezuleeri.
About 1 Samwiri Chapter 29
Read 1 Samwiri Chapter 29 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of 1 Samwiri in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.
Book Information
Book: 1 Samwiri
Chapter: 29
Testament: Old Testament
How to Read this Chapter
Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading 1 Samwiri. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.
More Resources
Continue Reading the Bible
Continue reading 1 Samwiri Chapter 29 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.
Frequently Asked Questions
What is 1 Samwiri Chapter 29?
1 Samwiri Chapter 29 is part of the Book of 1 Samwiri in the Holy Bible.
Can I read this chapter online?
Yes. You can read the complete 1 Samwiri Chapter 29 online for free with easy chapter navigation.
More Chapters from 1-samwiri
- 1 Samwiri Chapter 24
- 1 Samwiri Chapter 31
- 1 Samwiri Chapter 30
- 1 Samwiri Chapter 28
- 1 Samwiri Chapter 26
- 1 Samwiri Chapter 25
- 1 Samwiri Chapter 22
Explore More from Endagaano Enkadde
- Yeremiya Chapter 16
- Yona Chapter 1
- Okukungubaga Chapter 1
- Yoswa Chapter 23
- 1 Ebyomumirembe Chapter 26
- Zabbuli Chapter 40
- Yobu Chapter 11