Read Isaaya Chapter 24 Online
Read Isaaya Chapter 24 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Isaaya in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Isaaya and the Holy Bible online.
Choose a Chapter
Isaaya 24
Essuula 24
1. Laba, Mukama ensi agimalamu byonna, era agizisa, era agivuunika, era asaasaanyiza ddala abagituulamu.
2. Era olulituuka ng'abantu bwe baliba, bw'atyo kabona bw'aliba; ng'omuddu bw'aliba, bw'atyo mukama we bw'aliba; ng'omuzaana bw'aliba, bw'atyo mugole we bw'aliba; ng'omuguzi bw'aliba, bw'atyo omutunzi bw'aliba; ng'awola bw'aliba, bw'atyo eyeewola bw'aliba; ng'aweebwa amagoba bw'aliba, bw'atyo amuwa amagoba bw'aliba.
3. Ensi erimalirwamu ddala byonna, era erinyagirwa ddala; kubanga Mukama ayogedde ekigambo ekyo.
4. Ensi ewuubaala era esaanuuka, ettaka liggwaamu amaanyi era lisaanuuka, abantu abagulumivu ab'ensi baggwaamu amaanyi.
5. Era ensi esiigiddwako empitambi wansi w'abagituulamu; kubanga basobezza amateeka, ne bawaanyisa ekiragiro, ne bamenya endagaano eteriggwaawo.
6. Ekikolimo kyekyava kirya ensi, n'abo abagituulamu balabise nga gubasinze: abatuula mu nsi kyebava bookebwa, abantu ne basigala batono.
7. Omwenge omusu guwuubaala, omuzabbibu guyongobera, bonna abalina emitima egisanyuka bassa ebikkowe.
8. Ekinyumu eky'ebitaasa kikoma, oluyoogaano lw'abo abasanyuka luggwaawo, essanyu ery'ennanga likoma.
9. Tebalinywa mwenge nga bayimba; ekitamiiza kirikaayirira abo abakinywa.
10. Ekibuga eky'okwetabula kimenyesemenyese: buli nnyumba eggaddwawo, omuntu yenna aleme okuyingiramu.
11. Waliwo okukaaba mu nguudo olw'omwenge; essanyu lyonna lizikizibwa, ekinyumu eky'ensi kigenze.
12. Mu kibuga musigadde okuzika, ne wankaaki akubiddwa n'okuzikirira.
13. Kubanga bwe kiti bwe kiribeera wakati mu nsi mu mawanga, nga bwe bakuba omuzeyituuni, nga bwe balonda ezabbibu okunoga nga kuwedde.
14. Bano baliyimusa eddoboozi lyabwe, balyogerera waggulu, olw'obukulu bwa Mukama baleekaana nga bayima ku nnyanja.
15. Kale mugulumize Mukama ebuvanjuba, erinnya lya Mukama, Katonda wa Isiraeri, mu bizinga eby'omu nnyanja.
16. Tuwulidde ennyimba nga ziva ku nkomerero y'ensi, ekitiibwa eri abatuukirivu. Naye ne njogera nti Nkoozimba, nkoozimba, zinsanze! abalyazaamaanyi balyazaamaanyizza; weewaawo, abalyazaamaanyi balyazaamaanyizza nnyo.
17. Entiisa n'obunnya n'omutego biri ku ggwe, ggwe atuula mu nsi.
18. Awo olulituuka oyo adduka eddoboozi ery'entiisa aligwa mu bunnya; n'oyo alinnya okuva mu bunnya wakati omutego gulimukwata: kubanga ebituli ebya waggulu bigguddwawo, n'emisingi gy'ensi ginyeenya.
19. Ensi emenyekedde ddala, ensi esaanuukidde ddala, ensi ejjulukuse nnyo.
20. Ensi eritagatta ng'omutamiivu, era eriyuuguumizibwa ng'ensiisira; n'okusobya kwayo kuligizitoowerera, era erigwa n'etegolokoka nate.
21. Awo olulituuka ku lunaku luli Mukama alibonereza eggye ery'abagulumivu waggulu, ne bakabaka ab'ensi ku nsi.
22. Era balikuŋŋaanyizibwa wamu ng'abasibe bwe bakuŋŋaanyizibwa mu bunnya, era balisibirwa mu kkomera, era ennaku nnyingi nga ziyiseewo balijjirwa.
23. Kale omwezi gulikwatibwa ensonyi, n'enjuba eriswala; kubanga Mukama ow'eggye alifugira ku lusozi Sayuuni ne mu Yerusaalemi, ne mu maaso g'abakadde be n'ekitiibwa.
About Isaaya Chapter 24
Read Isaaya Chapter 24 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Isaaya in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.
Book Information
Book: Isaaya
Chapter: 24
Testament: Old Testament
How to Read this Chapter
Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Isaaya. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.
More Resources
Continue Reading the Bible
Continue reading Isaaya Chapter 24 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.
Frequently Asked Questions
What is Isaaya Chapter 24?
Isaaya Chapter 24 is part of the Book of Isaaya in the Holy Bible.
Can I read this chapter online?
Yes. You can read the complete Isaaya Chapter 24 online for free with easy chapter navigation.
More Chapters from Endagaano Enkadde
- Engero Chapter 25
- Engero Chapter 19
- Engero Chapter 23
- Engero Chapter 17
- Engero Chapter 12
- Engero Chapter 22
- Engero Chapter 16
Explore More from Isaaya
- Isaaya Chapter 56
- Isaaya Chapter 6
- Isaaya Chapter 27
- Isaaya Chapter 22
- Isaaya Chapter 44
- Isaaya Chapter 60
- Isaaya Chapter 4