Read Isaaya Chapter 51 Online
Read Isaaya Chapter 51 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Isaaya in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Isaaya and the Holy Bible online.
Choose a Chapter
Isaaya 51
Essuula 51
1. Mumpulirize, mmwe abagoberera obutuukirivu, mmwe abanoonya Mukama: mutunuulire olwazi lwe mwatemebwako, n'obunnya bw'obuya bwe mwasimibwamu.
2. Tunuulira Ibulayimu jjajjammwe ne Saala eyabazaala: kubanga bwe yali ali omu yekka ne mmuyita ne mmuwa omukisa ne mmwaza.
3. Kubanga Mukama asanyusizza Sayuuni: asanyusizza ebifo bye byonna ebyazika n'afuula olukoola lwe okuba nga Adeni n'eddungu lye okuba ng'olusuku lwa Mukama; essanyu n'okujaguza birirabika omwo, okwebaza, n'eddoboozi ery'okuyimba.
4. Mumpulirize, mmwe abantu bange; era muntegere okutu, mmwe eggwanga lyange: kubanga etteeka lirifuluma gye ndi, era ndibeesaawo omusango gwange okuba omusana eri amawanga.
5. Obutuukirivu bwange buli kumpi, obulokozi bwange bufulumye, n'emikono gyange girisalira amawanga emisango; ebizinga birinnindirira, n'omukono gwange gwe biryesiga.
6. Muyimuse amaaso gammwe eri eggulu, era mutunuulire ensi wansi: kubanga eggulu lirivaawo ng'omukka, n'ensi erikaddiwa ng'ekyambalo, n'abo abagituulamu balifa bwe batyo: naye obulokozi bwange bunaabeereranga ennaku zonna, so n'obutuukirivu bwange tebujjulukukenga.
7. Mumpulirize, mmwe abamanyi obutuukirivu, eggwanga eririna amateeka gange mu mutima gwammwe, temutyanga kuvuma kwa bantu, so temukeŋŋentererwanga lwa kuyomba kwabwe.
8. Kubanga ennyenje eribaliira ddala ng'ekyambalo, n'enkuyege eribalya ng'ebyoya by'endiga: naye obutuukirivu bwange bunaabeereranga ennaku zonna, n'obulokozi bwange okutuusa emirembe gyonna.
9. Zuukuka, zuukuka, yambala amaanyi, ggwe omukono gwa Mukama; zuukuka nga mu nnaku ez'edda, mu mirembe egy'ebiro eby'edda. Si ggwe wuuyo eyatemaatema Lakabu, eyafumita ogusota?
10. Si ggwe wuuyo eyakaliza ennyanja, amazzi ag'obuziba obuwanvu; eyafuula obuziba bw'ennyanja okuba ekkubo abaanunulibwa okusomokeramu?
11. N'abo Mukama be yagula balikomawo ne bajja e Sayuuni n'okuyimba; n'essanyu eritaliggwaawo liriba ku mitwe gyabwe; balifuna essanyu n'okujaguza, ennaku n'okusinda biriddukira ddala.
12. Nze, nze mwene, nze nzuuyo abasanyusa: ggwe ani n'okutya n'otya omuntu alifa, n'omwana w'omuntu alifuuka ng'omuddo;
13. ne weerabira Mukama Omukozi wo, eyabamba eggulu, n'ateekawo emisingi gy'ensi; n'ozibyanga obudde bulijjo ng'otya olw'obukaali bw'omujoozi, bwe yeeteekateeka okuzikiriza? era buli ludda wa obukaali bw'omujoozi?
14. Eyawambibwa eyagobebwa aliteebwa mangu; so talifa n'akka mu bunnya, so n'emmere ye teribula.
15. Kubanga nze ndi Mukama Katonda wo asiikuusa ennyanja amayengo gaayo ne gawuluguma: Mukama ow'eggye lye linnya lye.
16. Era ntadde ebigambo byange mu kamwa ko, era nkubisseeko mu kisiikirize ky'omukono gwange, ndyoke nsimbe eggulu ne nteekawo emisingi gy'ensi ne ŋŋamba Sayuuni nti Ggwe bantu bange.
17. Zuukuka, zuukuka, yimirira, ggwe Yerusaalemi, eyanywera mu mukono gwa Mukama ku kikompe eky'obukaali bwe wanywa ku kibya eky'ekikompe eky'okutagatta n'okikutankira.
18. Ku baana bonna be yazaala tekuli wa kumukulembera; so tekuli amukwata ku mukono ku baana bonna be yalera.
19. Bino byombi bikuguddeko; ani alikukaabirako? okuzika n'okuzikirira, n'enjala n'ekitala; n'akusanyusa ntya?
20. Batabani bo bazirise, bagalamira mu nguudo zonna we zisibuka, ng'engabi mu kitimba; bajjudde obukaali bwa Mukama, okunenya kwa Katonda wo.
21. Kale nno kaakano wulira kino, ggwe abonyaabonyezebwa, era atamidde naye si na mwenge:
22. bw'atyo bw'ayogera Mukama wo Mukama era Katonda wo awoza ensonga ey'abantu be, nti Laba, nziye mu mukono gwo ekikompe eky'okutagatta, kye kibya eky'ekikompe eky'obukaali bwange; tokyakinywangako lwa kubiri:
23. era ndikiteeka mu mukono gw'abo abaakubonyaabonya; abaagamba obulamu bwo nti Kutama tuyiteko: naawe n'oteekawo amabega go ng'ettaka era ng'oluguudo eri abo abayitako.
About Isaaya Chapter 51
Read Isaaya Chapter 51 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Isaaya in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.
Book Information
Book: Isaaya
Chapter: 51
Testament: Old Testament
How to Read this Chapter
Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Isaaya. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.
More Resources
Continue Reading the Bible
Continue reading Isaaya Chapter 51 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.
Frequently Asked Questions
What is Isaaya Chapter 51?
Isaaya Chapter 51 is part of the Book of Isaaya in the Holy Bible.
Can I read this chapter online?
Yes. You can read the complete Isaaya Chapter 51 online for free with easy chapter navigation.
More Chapters from Endagaano Enkadde
- Engero Chapter 25
- Engero Chapter 19
- Engero Chapter 23
- Engero Chapter 17
- Engero Chapter 12
- Engero Chapter 22
- Engero Chapter 16
Explore More from Isaaya
- Isaaya Chapter 20
- Isaaya Chapter 13
- Isaaya Chapter 49
- Isaaya Chapter 42
- Isaaya Chapter 47
- Isaaya Chapter 12
- Isaaya Chapter 29