Read Engero Chapter 3 Online
Read Engero Chapter 3 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Engero in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Engero and the Holy Bible online.
Choose a Chapter
Engero 3
Essuula 3
1. Mwana wange, teweerabiranga tteeka lyange; Naye omutima gwo gukwatenga ebiragiro byange;
2. Kubanga ennaku ennyingi n'emyaka egy'okuwangaala N'emirembe bye birikwongerwako.
3. Okusaasira n'amazima tebikulekanga: Bisibenga mu bulago bwo; Biwandiikenga ku bipande eby'omutima gwo:
4. Bw'onoolabanga bw'otyo okuganja n'okutegeera okulungi Mu maaso ga Katonda n'ag'abantu.
5. Weesigenga Mukama n'omutima gwo gwonna. So teweesigamanga ku kutegeera kwo ggwe:
6. Mwatulenga mu makubo go gonna, Kale anaaluŋŋamyanga olugendo lwo.
7. Tobanga na magezi mu maaso go ggwe; Tyanga Mukama ove mu bubi:
8. Ekyo kye kinaabanga obulamu eri ekkundi lyo, N'obusomyo eri amagumba go.
9. Ossangamu ekitiibwa Mukama n'ebintu byo, N'ebibereberye ku bibala byo byonna:
10. Amawanika go bwe ganajjulanga bwe gatyo ekyengera, N'amasogolero go ganaayiikanga omwenge omusu.
11. Mwana wange, tonyoomanga kubuulirira kwa Mukama; So n'okunenya kwe kulemenga okukukooya:
12. Kubanga Mukama gw'ayagala gw'anenya; Era nga kitaawe omwana we gw'asanyukira.
13. Aweereddwa omukisa omuntu alaba amagezi. N'oyo afuna okutegeera.
14. Kubanga obuguzi bwago businga obuguzi obwa ffeeza, N'amagoba gaago gakira zaabu ennungi.
15. Ga muwendo mungi okusinga amayinja amatwakaavu: So tewali kintu ky'oyinza okwegomba ebyenkanyankanyizibwa nago.
16. Okuwangaala kuli mu mukono gwago ogwa ddyo; Mu mukono gwago ogwa kkono mulimu obugagga n'ekitiibwa.
17. Amakubo gaago makubo ga kusanyukiramu, N'eŋŋendo zaago zonna mirembe.
18. Ago gwe muti ogw'obulamu eri abo abagakwata: Era alina omukisa buli muntu abeera nago.
19. Mukama yassaawo emisingi gy'ensi n'amagezi; Yanyweza eggulu n'okutegeera.
20. Ennyanja yayabika n'okumanya kwe, Eggulu ne litonnya omusulo.
21. Mwana wange, ebyo tebivanga ku maaso go; Kwatanga amagezi amatuufu n'okuteesa;
22. Bwe binaabanga bwe bityo obulamu eri emmeeme yo, N'obuyonjo eri obulago bwo.
23. Awo lw'olitambulira mu kkubo lyo mirembe, So n'ekigere kyo tekiryesittala.
24. Bw'onoogalamiranga tootyenga: Weewaawo, onoogalamiranga n'otulo two tunaakuwoomeranga.
25. Totyanga ntiisa gy'otomanyiridde, Newakubadde okuzikiriza okw'ababi bwe kujjanga:
26. Kubanga Mukama ye anaabanga obwesige bwo, Era ye anaakuumanga ekigere kyo olemenga okuwambibwa
27. Tommanga birungi abo abagwanira, Bwe kiri mu buyinza bw'omukono gwo okubikola.
28. Togambanga muliraanwa wo nti Genda okomewo, Enkya ndikuwa; Bwe kiri naawe.
29. Tosaliranga munno bubi, Kubanga abeera gy'oli mirembe
30. Toyombanga na muntu awatali nsonga, Oba nga taliiko bubi bw'akukoze.
31. Tokwatirwanga buggya omusajja ow'amawaggali, So teweerobozanga makubo ge gonna.
32. Kubanga omukyamu wa muzizo eri Mukama: Naye ekyama kye kiri n'abagolokofu.
33. Ekikolimo kya Mukama kiri mu nnyumba ey'omubi: Naye awa omukisa ekifo abatuukirivu mwe babeera.
34. Mazima anyooma abanyoomi, Naye awa abeetoowaza ekisa.
35. Ab'amagezi balisikira ekitiibwa: Naye ensonyi ze ziriba okukuzibwa okw'abasirusiru.
About Engero Chapter 3
Read Engero Chapter 3 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Engero in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.
Book Information
Book: Engero
Chapter: 3
Testament: Old Testament
How to Read this Chapter
Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Engero. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.
More Resources
Continue Reading the Bible
Continue reading Engero Chapter 3 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.
Frequently Asked Questions
What is Engero Chapter 3?
Engero Chapter 3 is part of the Book of Engero in the Holy Bible.
Can I read this chapter online?
Yes. You can read the complete Engero Chapter 3 online for free with easy chapter navigation.
More Chapters from Endagaano Enkadde
- Engero Chapter 25
- Engero Chapter 19
- Engero Chapter 17
- Engero Chapter 12
- Engero Chapter 22
- Engero Chapter 16
- Engero Chapter 14
Explore More from engero
- Engero Chapter 14
- Engero Chapter 2
- Engero Chapter 21
- Engero Chapter 31
- Engero Chapter 30
- Engero Chapter 10
- Engero Chapter 29