Yobu Chapter 16

For English

Read Yobu Chapter 16 Online

Read Yobu Chapter 16 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Yobu in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Yobu and the Holy Bible online.

Choose a Chapter

Yobu 16

Essuula 16

1. Awo Yobu n'addamu n'ayogera nti Mpulirizza bingi ebiri bwe bityo:

2. Mwenna muli basanyusa abatagasa.

3. Ebigambo ebitaliimu binaakoma? Oba kiki ekikusosonkereza n'okwanukula n'oyanukula?

4. Era nange nandiyinzizza okwogera nga mmwe bwe mwogera; Emmeeme yammwe singa ebadde mu kifo ky'emmeeme yange, Nandiyinzizza okutunga ebigambo okubanenya, N'okubanyeenyereza omutwe gwange.

5. Naye nandibawadde amaanyi n'akamwa kange, N'okusanyusa kw'emimwa gyange kwandikkakkanyizza obuyinike bwammwe.

6. Newakubadde nga njogera, obuyinike bwange tebunnakkakkana: Era newakubadde nga nzibiikiriza, mpummuzibwa ntya?

7. Naye kaakano ankooyezza: N'ekibiina kyange kyonna okizisizza.

8. Era onkwatidde ddala, ye mujulirwa gye ndi: N'obukovvu bwange bungolokokerako, bunnumiriza mu maaso gange.

9. Antaagudde n'ekiruyi kye, anjigganyizza; Era annumidde obujugu: Omulabe wange ankanulira amaaso.

10. Banjasamidde akamwa kaabwe; Bankubye empi nga banswaza: Bankuŋŋaanirako.

11. Katonda angabula eri atatya Katonda, Era ansuula mu mikono gy'ababi.

12. Nali mpeeraweera n'anjasaamu wakati; Weewaawo, yankwata mu nsingo n'antandaggira okummenyamenya: Era ansimbye okuba sabbaawa ye.

13. Abalasi be banzingizza enjuyi zonna, Ayasaamu ensigo zange so tasonyiwa; Afuka omususa gwange ku ttaka.

14. Agenda yeeyongera okummenyamenya; Anfubutukirako ng'omuzira.

15. Ntunze ebibukutu ku ddiba lyange, Era ntadde ejjembe lyange mu nfuufu.

16. Amaaso gange goonoonese olw'okukaaba amaziga, Ne ku bikowe byange kuliko ekisiikirize ky'okufa;

17. Newakubadde nga temuli kyejo mu ngalo zange, N'okusaba kwange kulongoofu.

18. Ai ensi, tobikka ku musaayi gwange, N'okukaaba kwange kuleme okubaako we kuliwummulira.

19. Ne kaakano, laba, omujulirwa wange ali mu ggulu, N'omuyima wange ali waggulu.

20. Mikwano gyange bannyooma: Naye eriiso lyange lifuuka amaziga eri Katonda;

21. Azibire ensonga y'omuntu eri Katonda, N'ey'omwana w'omuntu eri munne.

22. Kubanga emyaka si mingi bwe giriggwaako, Nditambula olugendo gye ssiriva okukomawo.

About Yobu Chapter 16

Read Yobu Chapter 16 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Yobu in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.

Book Information

Book: Yobu
Chapter: 16
Testament: Old Testament

How to Read this Chapter

Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Yobu. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.

https://www.youtube.com/watch?v=rzsT_Q3KLzE

More Resources

Continue Reading the Bible

Continue reading Yobu Chapter 16 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.

Frequently Asked Questions

What is Yobu Chapter 16?

Yobu Chapter 16 is part of the Book of Yobu in the Holy Bible.

Can I read this chapter online?

Yes. You can read the complete Yobu Chapter 16 online for free with easy chapter navigation.

More Chapters from Endagaano Enkadde

  1. Engero Chapter 25
  2. Engero Chapter 19
  3. Engero Chapter 23
  4. Engero Chapter 17
  5. Engero Chapter 12
  6. Engero Chapter 22
  7. Engero Chapter 16

Explore More from Yobu

  1. Yobu Chapter 21
  2. Yobu Chapter 25
  3. Yobu Chapter 1
  4. Yobu Chapter 10
  5. Yobu Chapter 26
  6. Yobu Chapter 20
  7. Yobu Chapter 37

Related Chapters & Readings

  1. 1 Ebyomumirembe Chapter 14
  2. Zabbuli Chapter 79
  3. 2 Ebyomumirembe Chapter 30
  4. Okuva Chapter 17
  5. Ezekyeri Chapter 35
  6. Yoswa Chapter 7
  7. Ebikolwa Chapter 25
Share Your Love

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *