Engero Chapter 30

For English

Read Engero Chapter 30 Online

Read Engero Chapter 30 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Engero in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Engero and the Holy Bible online.

Choose a Chapter

Engero 30

Essuula 30

1. Ebigambo bya Aguli mutabani wa Yake; ebyalagulwa. Omusajja agamba Isyeri, Isyeri ne Ukali;

2. Nti Mazima nninga ensolo okusinga omuntu yenna, So sirina kutegeera kwa muntu:

3. So siyiganga magezi, So sirina kumanya kw'oyo Omutukuvu.

4. Ani eyali alinnye mu ggulu n'akka? Ani eyali akuŋŋaanyizza empewo mu bikonde bye? Ani eyali asibye amazzi mu kyambalo kye? Ani eyali anywezezza enkomerero zonna ez'ensi. Erinnya lye ye ani, n'omwana we erinnya lye ye ani, oba ng'omanyi?

5. Buli kigambo kya Katonda kikemebwa: Aba ngabo eri abo abamwesiga.

6. Toyongeranga ku bigambo bye, Aleme okukunenyanga naawe n'olabika ng'omulimba.

7. Nkusabye ebigambo bibiri; Tonnyima nga sinnafa:

8. Ggyangawo ebigambo ebitaliimu n'eby'obulimba bibe wala nange: Tompanga bwavu newakubadde obugagga; Ndisanga emmere gye nneetaaga:

9. Nneme okukkutanga ne nkwegaana ne njogera nti Mukama ye ani? Era nnemenga okuba omwavu ne nziba, Ne njogera bubi erinnya lya Katonda wange.

10. Towaayirizanga muddu eri mukama we, Alemenga okukukolimira naawe n'olowoozebwa ng'ozizza omusango.

11. Waliwo abantu abakolimira kitaabwe; So tebasabira nnyaabwe omukisa.

12. Waliwo abantu ababa abalongoofu mu maaso gaabwe bo, Era naye tebanaazibwako empitambi yaabwe.

13. Waliwo abantu, amaaso gaabwe nga malalambavu! N'ebikowe byabwe bigulumizibwa.

14. Waliwo abantu amannyo gaabwe bitala, n'amasongezo gaabwe bwambe, Okulya abaavu okubamalawo ku nsi, n'abeetaaga mu bantu.

15. Ekinoso kirina abawala baakyo babiri aboogerera waggulu nti Mpa, mpa. Waliwo ebintu bisatu ebitakkuta ennaku zonna, Weewaawo, ebina ebitayogera nti Lekera awo:

16. Amagombe; n'olubuto olugumba; N'ensi etekkuta mazzi; N'omuliro ogutayogera nti Lekera awo.

17. Eriiso erikudaalira kitaawe, Ne linyooma okugondera nnyina, Bannamuŋŋoona ab'omu kiwonvu baliriggyamu, N'empungu ziririrya.

18. Waliwo ebigambo bisatu eby'ekitalo ebinnema, Weewaawo, ebina bye ssimanyi:

19. Ekkubo ery'empungu mu bbanga; Ekkubo ery'omusota ku lwazi; Ekkubo ery'eryato wakati mu nnyanja; N'ekkubo ery'omusajja n'omuwala.

20. Bwe lityo bwe libeera ekkubo ery'omukazi omwenzi; Alya n'asangula ku mimwa gye, N'ayogera nti Siriiko bubi bwe nkoze.

21. Ensi ekankanira ebigambo bisatu, Era ebina by'eteyinza kugumiikiriza:

22. Omuddu bw'aba kabaka; N'omusirusiru bw'akkuta emmere;

23. Omukazi omugwagwa bw'afumbirwa; N'omuzaana asikira mugole we.

24. Waliwo ebintu bina ebitono ku nsi, Naye birina amagezi mangi nnyo nnyini:

25. Enkolooto lye ggwanga eritalina maanyi, Naye zeeterekera emmere yaazo mu kyeya;

26. Obumyu buntu bunafu, Naye bwezimbira ennyumba zaabwo mu mayinja;

27. Enzige tezirina kabaka, Naye zitabaala zonna bibiina bibiina;

28. Omunya gukwata n'engalo zaagwo, Naye gubeera mu mayumba ga bakabaka.

29. Waliwo ebintu bisatu ebyesimba obulungi mu kutambula kwabyo, Weewaawo, ebina ebyesimba obulungi mu kugenda:

30. Empologoma esinga ensolo zonna amaanyi, So tewali gy'esegulira yonna;

31. Embwa enjizzi; era n'embuzi ennume; Ne kabaka atagolokokerwako.

32. Oba ng'okoze eby'obusirusiru nga weegulumiza, Oba ng'olowoozezza obubi, Teekanga omukono gwo ku kamwa ko.

33. Kubanga okusunda amata kuleeta omuzigo, N'okunyigiriza ennyindo kuleeta omusaayi: N'okunyigiriza kw'obusungu bwe kutyo kuleeta oluyombo.

About Engero Chapter 30

Read Engero Chapter 30 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Engero in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.

Book Information

Book: Engero
Chapter: 30
Testament: Old Testament

How to Read this Chapter

Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Engero. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.

https://www.youtube.com/watch?v=rzsT_Q3KLzE

More Resources

Continue Reading the Bible

Continue reading Engero Chapter 30 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.

Frequently Asked Questions

What is Engero Chapter 30?

Engero Chapter 30 is part of the Book of Engero in the Holy Bible.

Can I read this chapter online?

Yes. You can read the complete Engero Chapter 30 online for free with easy chapter navigation.

More Chapters from Endagaano Enkadde

  1. Engero Chapter 25
  2. Engero Chapter 19
  3. Engero Chapter 23
  4. Engero Chapter 22
  5. Engero Chapter 17
  6. Engero Chapter 12
  7. Engero Chapter 16

Explore More from engero

  1. Engero Chapter 5
  2. Engero Chapter 28
  3. Engero Chapter 14
  4. Engero Chapter 8
  5. Engero Chapter 29
  6. Engero Chapter 3
  7. Engero Chapter 24

Related Chapters & Readings

  1. Zabbuli Chapter 31
  2. Yoswa Chapter 22
  3. Okubikkulirwa Chapter 19
  4. Isaaya Chapter 3
  5. Ezekyeri Chapter 40
  6. Yeremiya Chapter 15
  7. Zabbuli Chapter 69
Share Your Love

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *