Amosi Chapter 9

For English

Read Amosi Chapter 9 Online

Read Amosi Chapter 9 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Amosi in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Amosi and the Holy Bible online.

Choose a Chapter

Amosi 9

Essuula 9

1. Nalaba Mukama ng'ayimiridde ku mabbali g'ekyoto: n'ayogera nti Kuba emitwe, emiryango gikankane: era bamenyeemenye ku mitwe gy'abo bonna; era nditta n'ekitala ow'enkomerero ku bo: tewaliba ku bo alidduka, so tewaliba ku bo aliwona n'omu.

2. Newakubadde nga basima okutuuka mu magombe, omukono gwange gulibaggyayo; era newakubadde nga balinnya okutuuka mu ggulu, ndibassa okubaggyayo.

3. Era newakubadde nga beekwekera ku ntikko ya Kalumeeri, ndikenneenya ne mbaggyayo; era newakubadde nga bakwekeddwa amaaso gange mu buziba bw'ennyanja wansi, ndiragirira eyo omusota ne gubaluma.

4. Era newakubadde nga bagenda mu busibe mu maaso g'abalabe baabwe, ndiragirira eyo ekitala ne kibatta: era nditeeka amaaso gange ku bo olw'okuleeta obubi so si bulungi.

5. Kubanga Mukama, Katonda ow'eggye, ye wuuyo akoma ku nsi n'esaanuuka, na bonna abagibeeramu baliwuubaala; era eritumbiirira ddala wamu nga Omugga; era erikka nate nga Omugga ogw'e Misiri;

6. ye wuuyo azimba amayu ge mu ggulu, era eyateekawo ebbanga lye ku ttaka; ayita amazzi ag'omu nnyanja n'agafuka ku maaso g'olukalu; Mukama lye linnya lye.

7. Mmwe temuli ng'abaana b'Abaesiyopya gye ndi, ai abaana ba Isiraeri? bw'ayogera Mukama. Saggya Isiraeri mu nsi y'e Misiri ne mbalinnyisa, ne nziya Abafirisuuti e Kafutoli, n'Abasuuli e Kiri?

8. Laba, amaaso ga Mukama Katonda gali ku bwakabaka obulina ebibi, era ndibuzikiriza okuva ku maaso g'ettaka; kyokka sirizikiririza ddala nnyumba ya Yakobo, bw'ayogera Mukama.

9. Kubanga, laba, ndiragira era ndiwewera ennyumba ya Isiraeri mu mawanga gonna, ng'eŋŋaano bw'ewewerwa mu lugali, naye tewaliba na kaweke na kamu akaligwa ku ttaka.

10. Abalina ebibi bonna ab'omu bantu bange balifa n'ekitala aboogera nti Obubi tebulitutuukako so tebulitukulembera.

11. Ku lunaku olwo ndisimba eweema ya Dawudi eyagwa, ne nziba ebituli byayo; era ndisimba ebibye ebyagwa, era ndigizimba nga mu nnaku ez'edda;

12. balyoke balye ekitundu kya Edomu ekifisseewo, n'amawanga gonna agatuumibwa erinnya lyange, bw'ayogera Mukama akola kino.

13. Laba, ennaku zijja, bw'ayogera Mukama, akabala lw'alituuka ku oyo akungula, n'oyo asamba ezabbibu lw'alituuka ku oyo asiga ensigo; n'ensozi ziritonnya omwenge omuwoomerevu, n'obusozi bwonna bulisaanuuka.

14. Era ndikomyawo obusibe bw'abantu bange Isiraeri, kale balizimba ebibuga ebyalekebwawo, ne babituulamu; era balisimba ensuku ez'emizabbibu, ne banywa omwenge gwamu; era balirima ennimiro, ne balya ebibala byamu.

15. Era ndibasimba ku nsi yaabwe, so tebalisimbulwa nate mu nsi gye mbawadde, bw'ayogera Mukama Katonda wo.

About Amosi Chapter 9

Read Amosi Chapter 9 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Amosi in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.

Book Information

Book: Amosi
Chapter: 9
Testament: Old Testament

How to Read this Chapter

Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Amosi. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.

https://www.youtube.com/watch?v=rzsT_Q3KLzE

More Resources

Continue Reading the Bible

Continue reading Amosi Chapter 9 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.

Frequently Asked Questions

What is Amosi Chapter 9?

Amosi Chapter 9 is part of the Book of Amosi in the Holy Bible.

Can I read this chapter online?

Yes. You can read the complete Amosi Chapter 9 online for free with easy chapter navigation.

More Chapters from amosi

  1. Amosi Chapter 1
  2. Amosi Chapter 3
  3. Amosi Chapter 8
  4. Amosi Chapter 5
  5. Amosi Chapter 2
  6. Amosi Chapter 4
  7. Amosi Chapter 9

Explore More from Endagaano Enkadde

  1. Malaki Chapter 1
  2. Olubereberye Chapter 24
  3. Ezekyeri Chapter 1
  4. Zabbuli Chapter 137
  5. Zekkaliya Chapter 5
  6. Yobu Chapter 10
  7. 1 Samwiri Chapter 21

Related Chapters & Readings

  1. Yeremiya Chapter 49
  2. Zabbuli Chapter 132
  3. Oluyimba lwa Sulemaani Chapter 5
  4. Ekyamateeka Chapter 29
  5. Makko Chapter 10
  6. Okubala Chapter 9
  7. Zabbuli Chapter 65
Share Your Love

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *