Read Ebyabaleevi Chapter 1 Online
Read Ebyabaleevi Chapter 1 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Ebyabaleevi in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Ebyabaleevi and the Holy Bible online.
Choose a Chapter
Ebyabaleevi 1
Essuula 1
1. Awo Mukama n'akoowoola Musa n'ayogera naye mu weema ey'okusisinkanirangamu ng'agamba nti
2. Yogera n'abaana ba Isiraeri obagambe nti Omuntu yenna ku mmwe bw'awangayo ekitone eri Mukama, munaakiwangayo okukiggya ku nsolo, ku nte ne ku mbuzi.
3. Oba ng'awaayo ekiweebwayo ekyokebwa ku nte, anaawangayo nnume eteriiko bulema: anaagiweerangayo ku mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu, alyoke akkirizibwenga mu maaso ga Mukama.
4. Era anaateekanga engalo ze ku mutwe gw'ekiweebwayo ekyokebwa; awo eneemukkiririzibwanga okumutangirira.
5. Awo anattiranga ente mu maaso ga Mukama: n'abaana ba Alooni, bakabona, banaaleetanga omusaayi, era banaamansiranga omusaayi ku kyoto enjuyi zonna ekiri ku mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu.
6. Awo anaabaaganga ekiweebwayo ekyokebwa era anaakisalangamu ebitundu byakyo.
7. Awo abaana ba Alooni kabona banaateekanga omuliro ku kyoto, ne batindikira enku ku muliro:
8. awo abaana ba Alooni, bakabona, banaateekateekanga ebifi, omutwe n'amasavu, ku nku eziri ku muliro oguli ku kyoto:
9. naye ebyenda byayo n'amagulu gaayo anaabinaazanga n'amazzi: awo kabona anaayokeranga byonna ku kyoto, okuba ekiweebwayo ekyokebwa ekiweebwayo ekikolebwa n'omuliro, eky'evvumbe eddungi eri Mukama.
10. Era oba ng'awaayo ku kisibo, kwe kugamba nti ku ndiga oba ku mbuzi, okuba ekiweebwayo ekyokebwa; anaawangayo nnume eteriiko bulema.
11. Era anaagittiranga ku luuyi lw'ekyoto olw'obukiika obwa kkono mu maaso ga Mukama: n'abaana ba Alooni, bakabona, banaamansiranga omusaayi gwayo ku kyoto enjuyi zonna.
12. Awo anaagisalangamu ebifi byayo, awamu n'omutwe gwayo n'amasavu gaayo: awo kabona anaabiteekateekanga ku nku eziri ku muliro oguli ku kyoto:
13. naye ebyenda n'amagulu anaabinaazanga n'amazzi: awo kabona anaawangayo yonna, anaagyokeranga ku kyoto: kye kiweebwayo ekyokebwa ekiweebwayo ekikolebwa n'omuliro, eky'evvumbe eddungi eri Mukama.
14. Era oba ng'awaayo eri Mukama ekiweebwayo ekyokebwa eky'ennyonyi, anaawangayo bukaamukuukulu oba amayiba amato.
15. Awo kabona anaakaleetanga eri ekyoto, n'akanyoola omutwe n'agumenyako, n'akookera ku kyoto; n'omusaayi gwako gunaatonnyeranga ku mabbali g'ekyoto:
16. awo anaggyangamu ekisakiro kyako awamu n'empitambi yaakyo, n'akisuula ku mabbali g'ekyoto ku luuyi olw'ebuvanjuba, mu kifo eky'evvu:
17. era anaakayuzanga n'ebiwaawaatiro byako, takasalangamu: awo kabona anaakookeranga ku kyoto, ku nku eziri ku muliro: kye kiweebwayo ekyokebwa, ekiweebwayo ekikolebwa n'omuliro, eky'evvumbe eddungi eri Mukama.
About Ebyabaleevi Chapter 1
Read Ebyabaleevi Chapter 1 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Ebyabaleevi in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.
Book Information
Book: Ebyabaleevi
Chapter: 1
Testament: Old Testament
How to Read this Chapter
Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Ebyabaleevi. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.
More Resources
Continue Reading the Bible
Continue reading Ebyabaleevi Chapter 1 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.
Frequently Asked Questions
What is Ebyabaleevi Chapter 1?
Ebyabaleevi Chapter 1 is part of the Book of Ebyabaleevi in the Holy Bible.
Can I read this chapter online?
Yes. You can read the complete Ebyabaleevi Chapter 1 online for free with easy chapter navigation.
More Chapters from ebyabaleevi
- Ebyabaleevi Chapter 18
- Ebyabaleevi Chapter 12
- Ebyabaleevi Chapter 16
- Ebyabaleevi Chapter 2
- Ebyabaleevi Chapter 20
- Ebyabaleevi Chapter 8
- Ebyabaleevi Chapter 14
Explore More from Endagaano Enkadde
- 2 Ebyomumirembe Chapter 3
- Yeremiya Chapter 32
- Isaaya Chapter 51
- Zabbuli Chapter 127
- 1 Samwiri Chapter 22
- 2 Bassekabaka Chapter 19
- 2 Bassekabaka Chapter 25