Read Okuva Chapter 1 Online
Read Okuva Chapter 1 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Okuva in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Okuva and the Holy Bible online.
Choose a Chapter
Okuva 1
Essuula 1
1. Gano ge mannya g'abaana ba Isiraeri abaatuuka mu Misiri; buli muntu n'ennyumba ye n'ajja awamu ne Yakobo.
2. Lewubeeni, Simyoni, Leevi, ne Yuda;
3. Isakaali, Zebbulooni, ne Benyamini;
4. Ddaani ne Nafutaali, Gaadi ne Aseri.
5. Abantu bonna abaava mu ntumbwe za Yakobo ne baba emyoyo nsanvu: naye Yusufu yali ng'amaze okubeera mu Misiri.
6. Yusufu n'afa, ne baganda be bonna, n'emirembe giri gyonna.
7. Abaana ba Isiraeri ne bazaala, ne beeyongera nnyo, ne baba bangi, ne baba ba maanyi nnyo; ensi n'ejjula abo.
8. Awo ne walya kabaka omuggya mu Misiri ataamanya Yusufu.
9. N'abagamba abantu be nti Laba, abantu b'abaana ba Isiraeri bangi ba maanyi okusinga ffe:
10. kale tubasalire amagezi; baleme okuba abangi, olutalo bwe lulijja baleme okwegatta n'abalabe baffe, okulwana naffe, okugolokoka okuva mu nsi.
11. Kyebaava babateekako abakoza okubabonyaabonya n'emigugu. Ne bamuzimbira Falaawo ebibuga eby'amaterekero, Pisomu ne Lamusesi.
12. Naye nga bwe beeyongera okubabonyaabonya, bwe batyo bo bwe beeyongera obungi n'okubuna. Ne banakuwala olw'abaana ba Isiraeri.
13. Abamisiri ne babakoza emirimu abaana ba Isiraeri n'amaanyi:
14. ne bakaayisa obulamu bwabwe mu buddu obuzibu, okutegana n'ebbumba n'amatoffaali, era n'obuddu bwonna obw'omu nsuku, obuddu bwonna bwe baabakoza n'amaanyi.
15. Kabaka w’e Misiri n'abagamba abazaalisa Abaebbulaniya, erinnya ly'omu Sifira, erinnya ly'ow'okubiri Puwa:
16. n'ayogera nti Bwe mubakolanga abakazi Abaebbulaniya emirimu egy'obuzaalisa, bwe mubalabanga nga bali ku ntebe; omwana bw'abanga ow'obulenzi, mumuttanga; naye bw'abanga ow'obuwala, abeeranga mulamu.
17. Naye abazaalisa ne bamutya Katonda, so tebaakola nga bwe baalagirwa kabaka w'e Misiri, naye baabakuuma abaana ab'obulenzi nga balamu.
18. Kabaka w'e Misiri n'abayita abazaalisa, n'abagamba nti Kiki ekibakoza ekigambo ekyo, ne mubakuuma abaana ab'obulenzi nga balamu?
19. Abazaalisa ne bamugamba Falaawo nti Kubanga abakazi Abaebbulaniya tebali ng'abakazi Abamisiri; kubanga balamu, abazaalisa we bagenda okubatuukirako nga bamaze okuzaala.
20. Katonda n'akola bulungi abazaalisa: abantu ne baba bangi, ne baba ba maanyi nnyo.
21. Awo kubanga abazaalisa baatya Katonda, n'abawa abaana.
22. Falaawo n'alagira abantu be bonna n'ayogera nti Buli mulenzi alizaalibwa mumusuulanga mu mugga, buli muwala mumulekanga.
About Okuva Chapter 1
Read Okuva Chapter 1 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Okuva in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.
Book Information
Book: Okuva
Chapter: 1
Testament: Old Testament
How to Read this Chapter
Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Okuva. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.
More Resources
Continue Reading the Bible
Continue reading Okuva Chapter 1 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.
Frequently Asked Questions
What is Okuva Chapter 1?
Okuva Chapter 1 is part of the Book of Okuva in the Holy Bible.
Can I read this chapter online?
Yes. You can read the complete Okuva Chapter 1 online for free with easy chapter navigation.
More Chapters from Endagaano Enkadde
- Engero Chapter 17
- Engero Chapter 12
- Engero Chapter 25
- Engero Chapter 22
- Engero Chapter 19
- Engero Chapter 23
- Engero Chapter 28
Explore More from okuva
- Okuva Chapter 7
- Okuva Chapter 18
- Okuva Chapter 24
- Okuva Chapter 22
- Okuva Chapter 13
- Okuva Chapter 10
- Okuva Chapter 32