Yobu Chapter 9

For English

Read Yobu Chapter 9 Online

Read Yobu Chapter 9 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Yobu in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Yobu and the Holy Bible online.

Choose a Chapter

Yobu 9

Essuula 9

1. Awo Yobu n'addamu n'ayogera nti

2. Mazima mmanyi nga bwe kiri bwe kityo: Naye omuntu ayinza atya okuba n'obutuukirivu eri Katonda?

3. Bw'aba nga ayagadde okuwakana naye Tayinza kumuddamu kigambo na kimu mu lukumi.

4. Omutima gwe gwa magezi, era amaanyi ge mangi:. Ani eyali yeekakanyazizza eri ye n'alaba omukisa?

5. Ajjulula ensozi ne zitamanya, Bw'azivuunisa obusungu bwe.

6. Anyeenya ensi okuva mu kifo kyayo, Empagi zaayo ne zikankana.

7. Alagira enjuba n'etevaayo; Era ateekako akabonero ku mmunyeenye.

8. Abamba eggulu yekka, Era alinnyirira amayengo ag'ennyanja.

9. Akola Nabaliyo, Entungalugoye, ne Kakaaga, N'ebisenge eby'obukiika obwa ddyo.

10. Akola ebikulu ebitanoonyezeka; Weewaawo, eby'ekitalo ebitabalika.

11. Laba, ampitako, ne ssimulaba: Era yeeyongerayo mu maaso, naye ne ssimutegeera.

12. Laba, akwata omuyiggo, ani ayinza okumuziyiza? Ani anaamugamba nti Okola ki?

13. Katonda taggyengawo busungu bwe; Ababeezi ba Lakabu bakutama wansi we.

14. Nze sirisinga nnyo obutamuddamu, Ne nneerobaza ebigambo byange mpakane naye?

15. Gwe sandizeemu newakubadde nga ndi mutuukirivu; Nandyegayidde omulabe wange.

16. Singa nkoowodde naye ng'ajitabye; Era naye sandikkirizza ng'awulidde eddoboozi lyange.

17. Kubanga ammenya ne kibuyaga, Era ayongera ebiwundu byange okunnanga obwereere.

18. Taŋŋanyenga kussa mukka, Naye anjijuza obubalagaze.

19. Bwe twogera ku maanyi ag'omuyinza, laba, nga waali! Bwe twogera ku kusala omusango, ani ananteekerawo ekiseera?

20. Newakubadde nga ndi mutuukirivu, akamwa kange nze ke kanansalira omusango okunsinga: Newakubadde nga natuukirira, kanantegeeza okuba omukyamu.

21. Nze ndi muntu eyatuukirira; seerowooza nzekka; Nnyooma obulamu bwange.

22. Bwonna bwe bumu; kyenva njogera nti Azikiriza oyo eyatuukirira n'omubi.

23. Ekibonyoobonyo bwe kitta amangu ago, Alikudaalira okusalirwa omusango okw'abataliiko kabi.

24. Ensi eweereddwayo mu mukono gw'omubi : Abikka ku maaso g'abalamuzi baayo; Oba nga si ye, kale ye ani?

25. Ennaku zange nno ziwulukuka mangu okusinga omubaka: Zidduka, teziriiko bulungi bwe ziraba.

26. Ziyise ng'amaato agatambula embiro Ng'empungu ekka ku muyiggo.

27. Bwe njogera nti Nneerabira okwemulugunya kwange, Naasanyusa amaaso gange aganakuwadde ne ŋŋumya omwoyo:

28. Awo nga ntidde obuyinike bwange bwonna, Mmanyi nga tolimpita ataliiko musango.

29. Omusango gulinsinga; Kale kiki ekinteganyisa obwereere?

30. Bwe nnaaba amazzi ag'omuzira, Engalo zange newakubadde nga nzitukuza ntya;

31. Era naye olinsuula mu lusalosalo, N'engoye zange nze zirintamwa.

32. Kubanga ye si muntu nga nze bwe ndi, nze okumuddamu, Ffe okulabagana okuwoza omusango.

33. Tewali mulamuzi ali wakati waffe, Eyandiyinzizza okuteeka omukono gwe ku ffe fembi.

34. Anziyeeko omuggo gwe, So entiisa ye ereme okunkanga:

35. Kale bwe nnandyogedde ne simutya: Kubanga si bwe ntyo bwe ndi nze nzekka.

About Yobu Chapter 9

Read Yobu Chapter 9 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Yobu in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.

Book Information

Book: Yobu
Chapter: 9
Testament: Old Testament

How to Read this Chapter

Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Yobu. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.

https://www.youtube.com/watch?v=rzsT_Q3KLzE

More Resources

Continue Reading the Bible

Continue reading Yobu Chapter 9 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.

Frequently Asked Questions

What is Yobu Chapter 9?

Yobu Chapter 9 is part of the Book of Yobu in the Holy Bible.

Can I read this chapter online?

Yes. You can read the complete Yobu Chapter 9 online for free with easy chapter navigation.

More Chapters from Endagaano Enkadde

  1. Engero Chapter 25
  2. Engero Chapter 19
  3. Engero Chapter 17
  4. Engero Chapter 12
  5. Engero Chapter 22
  6. Engero Chapter 16
  7. Engero Chapter 23

Explore More from Yobu

  1. Yobu Chapter 38
  2. Yobu Chapter 30
  3. Yobu Chapter 14
  4. Yobu Chapter 11
  5. Yobu Chapter 35
  6. Yobu Chapter 26
  7. Yobu Chapter 19

Related Chapters & Readings

  1. Olubereberye Chapter 40
  2. 1 Samwiri Chapter 27
  3. Zekkaliya Chapter 6
  4. Ezekyeri Chapter 43
  5. Ekyamateeka Chapter 4
  6. Amosi Chapter 9
  7. 1 Timoseewo Chapter 4
Share Your Love

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *