Abakkolosaayi Chapter 3

For English

Read Abakkolosaayi Chapter 3 Online

Read Abakkolosaayi Chapter 3 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Abakkolosaayi in the New Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Abakkolosaayi and the Holy Bible online.

Choose a Chapter

Abakkolosaayi 3

Essuula 3

1. Kale oba nga mwazuukirira wamu ne Kristo, munoonyenga ebiri waggulu, Kristo gy'ali ng'atudde ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda.

2. Mulowoozenga ebiri waggulu, so si ebiri ku nsi.

3. Kubanga mwafa, n'obulamu bwammwe bukwekeddwa wamu ne Kristo mu Katonda.

4. Kristo, obulamu bwaffe, bw'alirabisibwa, era nammwe ne mulyoka mulabisibwa wamu naye mu kitiibwa.

5. Kale mufiise ebitundu byammwe ebiri ku nsi; obwenzi, obugwagwa, okwegomba okw'ensonyi, omululu omubi, n'okuyaayaana, kwe kusinza ebifaananyi;

6. olw'ebyo obusungu bwa Katonda bujja ku baana abatawulira;

7. era nammwe mu ebyo mwe mwatambuliranga edda, bwe mwali abalamu mu byo.

8. Naye kaakano era nammwe muggyeewo byonna, obusungu, ekiruyi, ettima, okuvuma, okunyumya eby'ensonyi mu kamwa kammwe:

9. temulimbagananga mwekka na mwekka; kubanga mwamweyambulako omuntu ow'edda wamu n'ebikolwa bye,

10. ne mwambala omuntu omuggya, afuulibwa omuggya olw'okutegeera mu kifaananyi ky'oyo eyamutonda:

11. awo tewayinza kubeerawo Muyonaani n'Omuyudaaya, okukomolwa n'obutakomolwa, munnaggwanga, Omusukusi, omuddu, ow'eddembe: naye Kristo bye bintu byonna ne mu byonna.

12. Kale mwambalenga ng'abalonde ba Katonda, abatukuvu era abaagalwa, omwoyo ogw'ekisa, obulungi, okwewombeeka, obuteefu, okugumiikiriza;

13. nga muzibiikirizagananga, era nga musonyiwagananga mwekka na mwekka, omuntu yenna bw'abeeranga n'ensonga ku muntu munne; era nga Mukama waffe bwe yabasonyiwa mmwe, era nammwe bwe mutyo:

14. ku ebyo byonna era mwambale okwagalana, kye kintu ekinyweza okutuukirira.

15. Era emirembe gya Katonda giramulenga mu mitima gyammwe, era gye mwayitirwa mu mubiri ogumu; era mubeerenga n'okwebaza.

16. Ekigambo kya Kristo kibeerenga mu mmwe n'obugagga mu magezi gonna; nga muyigirizagananga era nga mulabulagananga mwekka na mwekka mu zabbuli n'ennyimba n'ebiyiiye eby'Omwoyo, nga muyimbira Katonda mu kisa mu mitima gyammwe.

17. Era buli kye munaakolanga, mu kigambo oba mu kikolwa, mukolerenga byonna mu linnya lya Mukama waffe Yesu, nga mwebaza Katonda Kitaffe ku bubwe.

18. Abakazi, muwulirenga babbammwe, nga bwe kiri ekirungi mu Mukama waffe.

19. Abasajja, mwagalenga bakazi bammwe, so temubakwatirwanga bukambwe.

20. Abaana abato, muwulirenga bakadde bammwe mu byonna, kubanga ekyo kye kisiimibwa mu Mukama waffe.

21. Bakitaabwe, temunyiizanga baana bammwe, balemenga okuddirira omwoyo.

22. Abaddu, muwulirenga bakama bammwe ab'omu mubiri mu byonna, si mu kuweereza okw'okungulu ng'abasiimibwa abantu, wabula mu mutima ogutalina bukuusa, nga mutya Mukama waffe:

23. buli kye munaakolanga mukolenga n'omwoyo, nga ku bwa Mukama waffe so si ku bwa bantu;

24. nga mumanyi nga mulisasulibwa Mukama waffe empeera ey'obusika: muli baddu ba Mukama waffe Kristo.

25. Kubanga ayonoona aliweebwa nate nga bwe yayonoona: so siwali kusosola mu bantu.

About Abakkolosaayi Chapter 3

Read Abakkolosaayi Chapter 3 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Abakkolosaayi in the New Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.

Book Information

Book: Abakkolosaayi
Chapter: 3
Testament: New Testament

How to Read this Chapter

Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Abakkolosaayi. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.

https://www.youtube.com/watch?v=rzsT_Q3KLzE

More Resources

Continue Reading the Bible

Continue reading Abakkolosaayi Chapter 3 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.

Frequently Asked Questions

What is Abakkolosaayi Chapter 3?

Abakkolosaayi Chapter 3 is part of the Book of Abakkolosaayi in the Holy Bible.

Can I read this chapter online?

Yes. You can read the complete Abakkolosaayi Chapter 3 online for free with easy chapter navigation.

More Chapters from Abakkolosaayi

  1. Abakkolosaayi Chapter 1
  2. Abakkolosaayi Chapter 4
  3. Abakkolosaayi Chapter 2

Explore More from Endagaano Empya

  1. Matayo Chapter 15
  2. Lukka Chapter 2
  3. Ebikolwa Chapter 9
  4. Yakobo Chapter 5
  5. Okubikkulirwa Chapter 20
  6. 2 Peetero Chapter 3
  7. Ebikolwa Chapter 2

Related Chapters & Readings

  1. Isaaya Chapter 38
  2. Olubereberye Chapter 40
  3. Zabbuli Chapter 31
  4. Engero Chapter 9
  5. Yoweeri Chapter 2
  6. Isaaya Chapter 32
  7. Matayo Chapter 18
Share Your Love

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *