Abaggalatiya Chapter 4

For English

Read Abaggalatiya Chapter 4 Online

Read Abaggalatiya Chapter 4 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Abaggalatiya in the New Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Abaggalatiya and the Holy Bible online.

Choose a Chapter

Abaggalatiya 4

Essuula 4

1. Naye njogera nti omusika ng'akyali muto tayawulwa na muddu n'akatono, newakubadde nga ye mukama wa byonna;

2. naye afugibwa abasigire n'abawanika okutuusa entuuko kitaawe ze yalagira edda.

3. Bwe tutyo naffe, bwe twabanga abato, twabanga baddu nga tufugibwa eby'olubereberye eby'omu nsi:

4. naye okutuukirira kw'ebiro bwe kwatuuka, Katonda n'atuma Omwana we eyazaalibwa omukazi, eyazaalibwa ng'afugibwa amateeka,

5. alyoke abanunule abaafugibwa amateeka, tulyoke tuweebwe okufuuka abaana.

6. Era kubanga muli baana, Katonda yatuma Omwoyo gw'Omwana we mu mitima gyaffe; ng'akaaba nti Aba, Kitaffe.

7. Bwe kityo naawe tokyali muddu, naye mwana; oba ng'oli mwana, era oli musika ku bwa Katonda.

8. Naye mu nnaku ziri bwe mutaamanyanga Katonda, mwabanga baddu ba bali abatali bakatonda mu buwangwa:

9. naye kaakano bwe mutegedde Katonda, oba ekisinga bwe mutegeddwa Katonda, mukyuka mutya ennyuma mu bigambo eby'olubereberye ebitalina maanyi ebinafu, ate bye mwagala okufugibwa omulundi ogw'okubiri?

10. Mukwata ennaku n'emyezi n'ebiro n'emyaka.

11. Mbakeŋŋentererwa okutegana kwange gye muli okuba okw'obwereere.

12. Mubeere nga nze, kubanga nange ndi nga mmwe, ab'oluganda mbeegayiridde. Temunnyonoonanga:

13. naye mumanyi ng'olw'obunafu bw'omubiri nnababuulira enjiri omulundi ogw'olubereberye:

14. era okukemebwa kwammwe okw'omu mubiri gwange temwakunyooma so temwakulondoola, naye mwanzikiriza nga malayika owa Katonda, nga Kristo Yesu.

15. Kale okwetenda kwammwe kuli luuyi wa? kubanga ndi mujulirwa wammwe nti, singa kyali kiyinzika, mwandiggyeemu amaaso gammwe ne mugawa nze.

16. Kale nfuuse mulabe wammwe nga mbabuulira amazima?

17. Beegonza gye muli naye si bulungi; naye kye baagala kwe kubaggalira ebweru, mmwe mulyoke mwegonzenga gye bali:

18. Naye kirungi abantu okwegonzanga mu bulungi ennaku zonna, naye si nze lwe mbeera nammwe lwokka.

19. Abaana bange abato, abannuma nate okutuusa Kristo lw'alibumbibwa mu mmwe,

20. era nnandyagadde okubeera nammwe kaakano, n'okuwaanyisa eddoboozi lyange, kubanga mbuusabuusa olw'ebigambo byammwe.

21. Mumbuulire mmwe abaagala okufugibwa amateeka, temuwulira mateeka?

22. Kubanga kyawandiikibwa nti Ibulayimu yalina abaana babiri, omu wa muzaana, omu wa wa ddembe.

23. Naye ow'omuzaana yazaalibwa lwa mubiri; naye ow'ow'eddembe lwa kusuubiza.

24. Ebyo bya lugero: kubanga abakazi abo ze ndagaano bbiri; emu eva ku lusozi Sinaayi, ezaala olw'obuddu, eyo ye Agali.

25. Agali oyo lwe lusozi Sinaayi, oluli mu Buwalabu, era yenkanankana ne Yerusaalemi ekya kaakano: kubanga muddu wamu n'abaana be.

26. Naye Yerusaalemi eky'omu ggulu kye ky'eddembe, ye nnyaffe.

27. Kubanga kyawandiikibwa nti Sanyuka, omugumba atazaala; Baguka okwogerera waggulu, atalumwa: Kubanga abaana b'oyo eyalekebwayo bangi okusinga ab'oyo alina omusajja:

28. Naye ffe, ab'oluganda, tuli baana ba kusuubiza nga Isaaka bwe yali.

29. Naye nga mu biro biri eyazaalibwa olw'omubiri nga bwe yayigganya eyazaalibwa olw'Omwoyo, bwe kityo ne kaakano.

30. Naye ebyawandiikibwa byogera bitya? nti Goba omuzaana n'omwana we: kubanga omwana w’omuzaana talisikira wamu n'omwana w'ow'eddembe.

31. Kale, ab'oluganda, ffe tetuli ba muzaana, naye ba wa ddembe.

About Abaggalatiya Chapter 4

Read Abaggalatiya Chapter 4 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Abaggalatiya in the New Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.

Book Information

Book: Abaggalatiya
Chapter: 4
Testament: New Testament

How to Read this Chapter

Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Abaggalatiya. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.

https://www.youtube.com/watch?v=rzsT_Q3KLzE

More Resources

Continue Reading the Bible

Continue reading Abaggalatiya Chapter 4 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.

Frequently Asked Questions

What is Abaggalatiya Chapter 4?

Abaggalatiya Chapter 4 is part of the Book of Abaggalatiya in the Holy Bible.

Can I read this chapter online?

Yes. You can read the complete Abaggalatiya Chapter 4 online for free with easy chapter navigation.

More Chapters from abaggalatiya

  1. Abaggalatiya Chapter 3
  2. Abaggalatiya Chapter 2
  3. Abaggalatiya Chapter 6
  4. Abaggalatiya Chapter 1
  5. Abaggalatiya Chapter 5

Explore More from Endagaano Empya

  1. Yokaana Chapter 16
  2. Okubikkulirwa Chapter 7
  3. 1 Timoseewo Chapter 3
  4. 2 Timoseewo Chapter 1
  5. Makko Chapter 10
  6. 2 Abasessaloniika Chapter 3
  7. Lukka Chapter 6

Related Chapters & Readings

  1. Zabbuli Chapter 59
  2. 2 Ebyomumirembe Chapter 27
  3. 1 Samwiri Chapter 29
  4. Zabbuli Chapter 138
  5. 2 Samwiri Chapter 5
  6. 2 Ebyomumirembe Chapter 33
  7. 2 Ebyomumirembe Chapter 20
Share Your Love

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *