Read 1 Bassekabaka Chapter 21 Online
Read 1 Bassekabaka Chapter 21 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of 1 Bassekabaka in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of 1 Bassekabaka and the Holy Bible online.
Choose a Chapter
1 Bassekabaka 21
Essuula 21
1. Awo olwatuuka oluvannyuma lw'ebyo Nabosi Omuyezuleeri yalina olusuku olw'emizabbibu olwali mu Yezuleeri kumpi n'eriyumba lya Akabu kabaka w'e Samaliya.
2. Awo Akabu n'agamba Nabosi nti Mpa olusuku lwo olw'emizabbibu mbeere nalwo okuba olusuku lw'enva, kubanga luli kumpi n'ennyumba yange; nange ndikuwa mu kifo kyalwo olusuku olw'emizabbibu olusinga obulungi: oba bw'onoosiima, ndikuwa ebintu ng'omuwendo gwalwo bwe guli.
3. Awo Nabosi n'agamba Akabu nti Mukama akiddize eri gye ndi nkuwe obusika bwa bajjajjange.
4. Awo Akabu n'ayingira mu nnyumba ye, ng'anyiikadde era ng'anyiize olw'ekigambo Nabosi Omuyezuleeri ky'amugambye: kubanga ayogedde nti Sijja kukuwa busika bwa bajjajjange. N'agalamira ku kitanda kye n'akyusa amaaso ge n'atakkiriza kulya ku mmere.
5. Naye Yezeberi mukazi we n'ajja gy'ali, n'amugamba nti Kiki ekinakuwazizza omwoyo gwo obwenkanidde awo, n'okulya n'otolya ku mmere?
6. N'amugamba nti Kubanga njogedde ne Nabosi Omuyezuleeri ne mmugamba nti Mpa olusuku lwo olw'emizabbibu olw'ebintu; oba bw'onoosiima, ndikuwa olusuku olw'emizabbibu olulala mu kifo kyalwo: n'addamu nti Sijja kukuwa lusuku lwange olw'emizabbibu.
7. Yezeberi mukazi we n'amugamba nti Ggwe ofuga nno obwakabaka bwa Isiraeri? golokoka olye ku mmere, omutima gwo gusanyuke: nze ndikuwa olusuku olw'emizabbibu olwa Nabosi Omuyezuleeri.
8. Awo n'awandiika ebbaluwa mu linnya lya Akabu, n'azissaako akabonero ke, n'aweereza ebbaluwa abakadde n'abakungu abaali mu kibuga kye era abaatuula awali Nabosi.
9. N'awandiika mu bbaluwa ng'ayogera nti Mulangire okusiiba, mumuteeke Nabosi waggulu mu bantu
10. muteeke abasajja babiri aba Beriali mu maaso ge, bamulumirize nga boogera nti Wakolimira Katonda ne kabaka. Mulyoke mumuggyewo, mumukasuukirire amayinja afe.
11. Awo abasajja ab'omu kibuga kye abakadde n'abakungu abaabeera mu kibuga kye ne bakola nga Yezeberi bw'abatumidde, nga bwe kyawandiikibwa mu bbaluwa ze yabaweereza.
12. Awo ne balangira okusiiba, ne bamuteeka waggulu Nabosi mu bantu.
13. Abasajja babiri abaana ba Beriali ne bayingira ne batuula mu maaso ge: abasajja ba Beriali ne bamulumiriza, nga balumiriza Nabosi mu maaso g'abantu, nga boogera nti Nabosi yakolimira Katonda ne kabaka. Awo ne bamuggya mu kibuga, ne bamukasuukirira amayinja n'afa.
14. Awo ne batumira Yezeberi nga boogera nti Nabosi akasuukiriddwa amayinja afudde.
15. Awo olwatuuka Yezeberi bwe yawulira Nabosi ng'akasuukiriddwa amayinja era ng'afudde, Yezeberi n'agamba Akabu nti Golokoka olye olusuku olw'emizabbibu olwa Nabosi Omuyezuleeri lwe yagaana okukuwa olw'ebintu kubanga Nabosi takyali mulamu naye afudde.
16. Awo olwatuuka Akabu bwe yawulira Nabosi ng'afudde, awo Akabu n'agolokoka okuserengeta mu lusuku olw'emizabbibu olwa Nabosi Omuyezuleeri okululya.
17. Awo ekigambo kya Mukama ne kijjira Eriya Omutisubi nga kyogera nti
18. Golokoka oserengete okusisinkana ne Akabu kabaka wa Isiraeri atuula mu Samaliya laba, ali mu lusuku olw'emizabbibu olwa Nabosi gy'aserengese okululya.
19. Era onoomugamba nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Osse era olidde? era onoomugamba nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Mu kifo embwa mwe zaakombera omusaayi gwa Nabosi, embwa mwe zirikombera omusaayi gwo, weewaawo, ogugwo.
20. Awo Akabu n'agamba Eriya nti Ondabye, ggwe omulabe wange? N'addamu nti Nkulabye: kubanga weetunze okukola ebiri mu maaso ga Mukama ebibi.
21. Laba, adikuleetako akabi, era ndikwerera ddala, era ndimalawo eri Akabu buli mwana ow'obulenzi n'oyo asibiddwa n'atasibiddwa mu Isiraeri:
22. era ndifuula ennyumba yo okufaanana ennyumba ya Yerubowaamu mutabani wa Nebati n'okufaanana ennyumba ya Baasa mutabani wa Akiya olw'okusunguwaza kwe wansunguwaza n'oyonoonyesa Isiraeri.
23. Era Mukama n'ayogera ne ku Yezeberi nti Embwa ziririira Yezeberi awali ekigo eky'e Yezuleeri.
24. Owa Akabu anaafiiranga mu kibuga embwa zinaamulyanga; n’oyo anaafiiranga ku ttale ennyonyi ez'omu bbanga zinaamulyanga,
25. (Naye tewali eyafaanana Akabu eyeetunda okukola ebyali mu maaso ga Mukama ebibi Yezeberi mukazi we gwe yapikiriza.
26. N'akolanga eby'emizizo ennyo ng'agoberera ebifaananyi nga byonna bwe byali Abamoli bye baakolanga Mukama be yagoba mu maaso g'abaana ba Isiraeri.)
27. Awo olwatuuka Akabu bwe yawulira ebigambo ebyo, n'ayuza ebyambalo bye n'ayambala ebibukutu ku mubiri gwe n'asiiba n'agalamira ng'ayambadde ebibukutu n'atambula mpola.
28. Awo ekigambo kya Mukama ne kijjira Eriya Omutisubi nga kyogera nti
29. Olaba Akabu bwe yeetoowaza mu maaso gange? kubanga yeetoowaza mu maaso gange, sirireeta kabi ako ku mirembe gye: naye ku mirembe gya mutabani we bwe ndireeta akabi ako ku nnyumba ye.
About 1 Bassekabaka Chapter 21
Read 1 Bassekabaka Chapter 21 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of 1 Bassekabaka in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.
Book Information
Book: 1 Bassekabaka
Chapter: 21
Testament: Old Testament
How to Read this Chapter
Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading 1 Bassekabaka. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.
More Resources
Continue Reading the Bible
Continue reading 1 Bassekabaka Chapter 21 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.
Frequently Asked Questions
What is 1 Bassekabaka Chapter 21?
1 Bassekabaka Chapter 21 is part of the Book of 1 Bassekabaka in the Holy Bible.
Can I read this chapter online?
Yes. You can read the complete 1 Bassekabaka Chapter 21 online for free with easy chapter navigation.
More Chapters from 1 Bassekabaka
- 1 Bassekabaka Chapter 4
- 1 Bassekabaka Chapter 22
- 1 Bassekabaka Chapter 20
- 1 Bassekabaka Chapter 18
- 1 Bassekabaka Chapter 13
- 1 Bassekabaka Chapter 12
- 1 Bassekabaka Chapter 8
Explore More from Endagaano Enkadde
- Isaaya Chapter 26
- Ekyabalamuzi Chapter 7
- Okubala Chapter 18
- Yeremiya Chapter 14
- Okubala Chapter 8
- Yeremiya Chapter 34
- 1 Samwiri Chapter 16