Read Ekyamateeka Chapter 3 Online
Read Ekyamateeka Chapter 3 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Ekyamateeka in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Ekyamateeka and the Holy Bible online.
Choose a Chapter
Ekyamateeka 3
Essuula 3
1. Ne tulyoka tukyuka ne twambukira mu kkubo erigenda e Basani: Ogi kabaka We Basani n'asitula okutulumba, ye n'abantu be bonna, okulwanira Ederei.
2. Mukama n'aŋŋamba nti Tomutya: kubanga mmugabudde ye n'abantu be bonna n'ensi ye mu mukono gwo; era olimukola nga bwe wakola Sikoni kabaka w'Abamoli abaatuulanga mu Kesuboni.
3. Awo Mukama Katonda waffe n'agabula mu mukono gwaffe ne Ogi kabaka We Basani n'abantu be bonna: ne tumutta okutuusa lwe watamusigalirawo n'omu:
4. Ne tunyaga ebibuga bye byonna mu biro ebyo; tewali kibuga kye tutaabanyagaako; ebibuga nkaaga, ensi yonna eya Alugobu, obwakabaka bwa Ogi mu Basani.
5. Ebyo byonna byali bibuga ebyazimbibwako bbugwe omuwanvu n'enzigi n'ebisiba; obutassaako bibuga ebitaalina bbugwe bingi nnyo:
6. Ne tubizikiririza ddala nga bwe twakola Sikoni kabaka w'e Kesuboni, nga tuzikiririza ddala buli kibuga omuli abantu, wamu n'abakazi n'abaana abato.
7. Naye ente zonna n'ebyo bye twanyaga mu bibuga, ne twetwalira okuba omunyago.
8. Era mu biro ebyo ne tuggya ensi mu mukono gwa bakabaka bombi ab'Abamoli abaali emitala wa Yoludaani, okuva mu kiwonvu kya Alunoni okutuusa ku lusozi Kerumooni;
9. (Kerumooni Abasidoni bamuyita Siriyooni, n'Abamoli bamuyita Seniri;)
10. ebibuga byonna eby'omu lusenyi, ne Gireyaadi yonna, ne Basani yonna, okutuusa ku Saleka ne Ederei, ebibuga by'obwakabaka bwa Ogi mu Basani:
11. (Kubanga Ogi kabaka w'e Basani ye yasigalawo yekka ku abo abaasigalawo ku Balefa; laba, ekitanda kye kyali kya kyuma; tekiri mu Labba eky'abaana ba Amoni? obuwanvu bwakyo emikono mwenda, n'obugazi bwakyo emikono ena, ng'omukono gw'omuntu bwe guli.)
12. N'ensi eyo ne tugirya mu biro ebyo: okuva ku Aloweri, ekiri ku mabbali g'ekiwonvu kya Alunoni, n'ekitundu ky'ensi ey'ensozi eya Gireyaadi, n'ebibuga byayo n'abiwa Abalewubeeni n'Abagaadi:
13. n'ekitundu kya Gireyaadi ekyasigalawo, ne Basani yonna, obwakabaka bwa Ogi, nabiwa ekitundu ky'ekika kya Manase; ensi yonna eya Alugobu, ye Basani yonna, (Eyo eyitibwa nsi ya Balefa.
14. Yayiri mutabani wa Manase n'atwala oluuyi lwonna olwa Alugobu okutuuka ku nsalo y'Abagesuli n'Abamaakasi; n'agituuma ye Basani, ng'erinnya lye bwe lyali, Kavosuyayiri, okutuusa leero.)
15. Gireyaadi n'empaayo Makiri,
16. N'Abalewubeeni n'Abagaadi ne mbawa okuva ku Gireyaadi okutuusa ku kiwonvu kya Alunoni, ekiwonvu ekya wakati, n'ensalo yaakyo; okutuusa ku mugga Yaboki, ye nsalo y'abaana ba Amoni;
17. era ne Alaba ne Yoludaani n'ensalo yaagwo; okuva ku Kinneresi okutuusa ku nnyanja ya Alaba, Ennyanja Eyomunnyo, awali entunnumba za Pisuga ku luuyi olw'ebuvanjuba.
18. Ne mbalagira mu biro ebyo nga njogera nti Mukama Katonda wammwe abawadde ensi eno okugirya: munaasomoka nga mukutte eby'okulwanyisa mu maaso ga baganda bammwe abaana ba Isiraeri, abasajja bonna abazira.
19. Naye bakazi bammwe n'abaana bammwe abato n'ebisibo byammwe (mmanyi nga mulina ebisibo bingi) binaabeeranga mu bibuga byammwe bye nnabawa;
20. okutuusa Mukama lw'aliwa baganda bammwe okuwummula, nga nammwe, era nabo nga balidde ensi Mukama Katonda wammwe gy'abawa emitala wa Yoludaani: ne mulyoka mudda buli muntu mu butaka bwe bwe nnabawa.
21. Ne ndagira Yoswa mu biro ebyo nga njogera nti Amaaso go galabye byonna Mukama Katonda wammwe by'akoze bakabaka bano bombi: bw'atyo Mukama bw'alikola obwakabaka bwonna gye musomoka okugenda.
22. Temubatyanga: kubanga Mukama Katonda wammwe, oyo y'abalwanirira.
23. Ne nneegayirira Mukama mu biro ebyo nga njogera nti
24. Ai Mukama Katonda, otanudde okulaga omuddu wo obukulu bwo n'omukono gwo ogw'amaanyi; kubanga katonda ki ali mu ggulu oba mu nsi ayinza okukola ng'emirimu gyo bwe giri era ng'ebikolwa byo eby'amaanyi bwe biri?
25. Nsomoke, nkwegayirira, ndabe ensi ennungi eri emitala wa Yoludaani, olusozi luli olulungi, ne Lebanooni.
26. Naye Mukama n'ansunguwalira nze ku bwammwe n'atampulira: Mukama n'aŋŋamba nti Kikumale: toyogera nate nange ku kigambo ekyo.
27. Linnya ku ntikko ya Pisuga, oyimuse amaaso go otunule ebugwanjuba n'obukiika obwa kkono n'obwa ddyo n'ebuvanjuba, olabe n'amaaso go: kubanga tolisomoka Yoludaani guno.
28. Naye kuutira Yoswa omugumye omuwe amaanyi: kubanga ye alisomoka ng'akulembera abantu bano, era ye alibasisa ensi gy'oliraba.
29. Awo ne tutuula mu kiwonvu ekyolekera Besupyoli.
About Ekyamateeka Chapter 3
Read Ekyamateeka Chapter 3 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Ekyamateeka in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.
Book Information
Book: Ekyamateeka
Chapter: 3
Testament: Old Testament
How to Read this Chapter
Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Ekyamateeka. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.
More Resources
Continue Reading the Bible
Continue reading Ekyamateeka Chapter 3 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.
Frequently Asked Questions
What is Ekyamateeka Chapter 3?
Ekyamateeka Chapter 3 is part of the Book of Ekyamateeka in the Holy Bible.
Can I read this chapter online?
Yes. You can read the complete Ekyamateeka Chapter 3 online for free with easy chapter navigation.
More Chapters from Ekyamateeka
- Ekyamateeka Chapter 27
- Ekyamateeka Chapter 20
- Ekyamateeka Chapter 15
- Ekyamateeka Chapter 4
- Ekyamateeka Chapter 9
- Ekyamateeka Chapter 5
- Ekyamateeka Chapter 2
Explore More from Endagaano Enkadde
- Omubuulizi Chapter 5
- Yeremiya Chapter 43
- Engero Chapter 23
- Ezekyeri Chapter 47
- 1 Ebyomumirembe Chapter 27
- 1 Ebyomumirembe Chapter 5
- Yobu Chapter 29