2 Abakkolinso Chapter 12

For English

Read 2 Abakkolinso Chapter 12 Online

Read 2 Abakkolinso Chapter 12 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of 2 Abakkolinso in the New Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of 2 Abakkolinso and the Holy Bible online.

Choose a Chapter

2 Abakkolinso 12

Essuula 12

1. Kiŋŋwanidde okwenyumiriza, newakubadde nga tekusaana; naye ka ŋŋende mu kwolesebwa n'okubikkulirwa kwa Mukama waffe.

2. Mmanyi omuntu mu Kristo, eyaakamala emyaka ekkumi n'ena (oba mu mubiri, ssimanyi; oba awatali mubiri, ssimanyi; Katonda amanyi), okutwalibwa omuntu ali bw'atyo mu ggulu ery'okusatu.

3. Era, mmanyi omuntu ali bw'atyo (oba mu mubiri, oba awatali mubiri, ssimanyi; Katonda amanyi),

4. bwe yatwalibwa mu lusuku lwa Katonda, n'awulira ebigambo ebitayogerekeka, ebitasaanira muntu kubyatula.

5. Ku bw'omuntu ali bw'atyo nneenyumirizanga: naye ku bwange ssiryenyumiriza, wabula mu by'obunafu bwange.

6. Kuba singa nayagala okwenyumirizanga, ssandibadde musirusiru; kubanga nandyogedde amazima: naye ndeka, omuntu yenna alemenga okundowooza okusinga bw'andaba oba bw'ampulira.

7. N'olw'obukulu obusinga ennyo obw'ebyo ebyabikkulibwa, nnemenga okugulumizibwa ennyo, kyennava mpeebwa eriggwa mu mubiri, omubaka wa Setaani okunkubanga, nnemenga okugulumizibwa ennyo.

8. Olw'ekigambo ekyo nneegayirira Mukama waffe emirundi esatu, kinveeko.

9. N'aŋŋamba nti Ekisa kyange kikumala: kubanga amaanyi gange gatuukiririra mu bunafu. Kyennaavanga nneenyumiriza n'essanyu eringi olw'eby'obunafu bwange, amaanyi ga Kristo galyoke gasiisire ku nze.

10. Kyenva nsanyukira eby'obunafu, okugirirwanga eky'ejo, okwetaaganga, okuyigganyizibwanga, okutegananga, okulangibwanga Kristo: kubanga bwe mba omunafu, lwe mba ow'amaanyi.

11. Nfuuse musirusiru: mmwe mwampaliriza; kubanga nnagwanira okutenderezebwa mmwe; kubanga ssaasingibwa mu kigambo kyonna abatume abakulu ennyo, newakubadde nga nze siri kintu.

12. Mazima obubonero obw'omutume bwakolerwanga ewammwe mu kugumiikiriza kwonna, mu bubonero n'eby'amagero n'eby'amaanyi.

13. Kubanga kiki ekkanisa endala kye zaabasingiramu, wabula nze nzekka obutabazitoowereranga? munsonyiwe ekyonoono ekyo.

14. Laba, omulundi ogw'okusatu kaakano nneeteeseteese okujja gye muli; so siribazitoowerera: kubanga sinoonya byammwe, wabula mmwe: kubanga tekigwanira abaana okuterekeranga abakadde, wabula abakadde okuterekeranga abaana.

15. Era ndiwaayo era ndiweebwayo n'essanyu eringi olw'obulamu bwammwe. Bwe nsinga okubaagala ennyo, njagalibwa katono?

16. Naye si musango, nze ssaabazitoowerera, naye, bwe nnali omugerengetanya, nabateega mu lukwe.

17. Omuntu yenna gwe nnabatumira nnamufunya amagoba eri mmwe?

18. Nnabuulirira Tito, ne ntuma ow'oluganda awamu naye. Tito yafuna amagoba eri mmwe? tetwatambula n'Omwoyo omu? tetwatambulira mu kisinde kimu?

19. Obw'edda mulowoozezza nga ffe tubawoleza ensonga. Mu maaso ga Katonda twogerera mu Kristo. Naye byonna, abaagalwa, bya kubazimba mmwe.

20. Kubanga ntidde, bwe ndijja, mpozzi okubasanga nga mufaanana nga bwe ssaagala, nange mmwe muleme okunsanga nga nfaanana nga bwe mutayagala; mpozzi okubeera eyo okuyomba, obuggya, obusungu, empaka, okulyolyoma, okugeya, okwegulumiza, okujeema;

21. bwe ndijja nate, Katonda wange aleme okuntoowaza eri mmwe, nange okubanakuwalira abangi abaayonoona edda ne bateenenya obugwagwa n'obwenzi n'obukaba bwe baakola.

About 2 Abakkolinso Chapter 12

Read 2 Abakkolinso Chapter 12 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of 2 Abakkolinso in the New Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.

Book Information

Book: 2 Abakkolinso
Chapter: 12
Testament: New Testament

How to Read this Chapter

Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading 2 Abakkolinso. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.

https://www.youtube.com/watch?v=rzsT_Q3KLzE

More Resources

Continue Reading the Bible

Continue reading 2 Abakkolinso Chapter 12 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.

Frequently Asked Questions

What is 2 Abakkolinso Chapter 12?

2 Abakkolinso Chapter 12 is part of the Book of 2 Abakkolinso in the Holy Bible.

Can I read this chapter online?

Yes. You can read the complete 2 Abakkolinso Chapter 12 online for free with easy chapter navigation.

More Chapters from 2-abakkolinso

  1. 2 Abakkolinso Chapter 6
  2. 2 Abakkolinso Chapter 8
  3. 2 Abakkolinso Chapter 1
  4. 2 Abakkolinso Chapter 11
  5. 2 Abakkolinso Chapter 10
  6. 2 Abakkolinso Chapter 9
  7. 2 Abakkolinso Chapter 7

Explore More from Endagaano Empya

  1. 1 Yokaana Chapter 4
  2. Abaggalatiya Chapter 2
  3. Abaggalatiya Chapter 4
  4. Matayo Chapter 7
  5. Ebikolwa Chapter 12
  6. Abaruumi Chapter 2
  7. 1 Abakkolinso Chapter 13

Related Chapters & Readings

  1. Danyeri Chapter 7
  2. 1 Peetero Chapter 5
  3. 1 Yokaana Chapter 3
  4. Abaebbulaniya Chapter 3
  5. Yeremiya Chapter 41
  6. Yokaana Chapter 11
  7. Ekyamateeka Chapter 21
Share Your Love

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *