Read Okubala Chapter 12 Online
Read Okubala Chapter 12 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Okubala in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Okubala and the Holy Bible online.
Choose a Chapter
Okubala 12
Essuula 12
1. Awo Miryamu ne Alooni ne boogera obubi ku Musa olw'omukazi Omukuusi gwe yali awasizza: kubanga yali awasizza omukazi Omukuusi.
2. Ne boogera nti Mazima Mukama yayogera ne Musa yekka? era teyayogera naffe? Mukama n'abiwulira.
3. Era omusajja Musa yali muwombeefu nnyo, okusinga abantu bonna abaali ku nsi yonna.
4. Mukama n'ayogera mangu ago ne Musa ne Alooni ne Miryamu nti Mufulume mwensatule mujje ku weema ey'okusisinkanirangamu. Abo bonsatule ne bafuluma.
5. Mukama n'akkira mu mpagi ey'ekire, n'ayimirira ku mulyango gw'Eweema, n'ayita Alooni ne Miryamu: bombi ne bafuluma.
6. N'ayogera nti Muwulire nno ebigambo byange: oba nga munaabanga mu mmwe nabbi, nze Mukama neetegeezanga gy'ali mu kwolesebwa, naayogerereranga naye mu kirooto.
7. Omuddu wange Musa si bw'ali bw'atyo; oyo mwesigwa mu nnyumba yange yonna:
8. oyo naayogeranga naye akamwa n'akamwa, mu lwatu, so si mu bigambo bya ngero; n'okufaanana kwa Mukama anaakulabanga: kale ekyabalobera ki okutya okwogera obubi ku muddu wange, ku Musa?
9. Obusungu bwa Mukama ne bubuubuuka ku bo; ne yeeviirawo.
10. Ekire ne kiva waggulu ku Weema; era laba, Miryamu n'abaako ebigenge, ng'omuzira: Alooni n'atunuulira Miryamu, era, laba, ng'aliko ebigenge.
11. Alooni n'agamba Musa nti Ai mukama wange, nkwegayiridde, totuteekako kibi, kubanga tukoze eby'obusirusiru era nga tukoze ekibi.
12. Nkwegayiridde aleme okuba ng'omufu, omubiri gwe nga gwonooneseeko ekitundu ng'ava mu lubuto lwa nnyina.
13. Musa n'akaabira Mukama ng'ayogera nti Muwonye, ai Katonda, nkwegayiridde.
14. Mukama n'agamba Musa nti Kitaawe singa amuwandidde amalusu obulusu mu maaso, ensonyi tezandimukwatidde ennaku musanvu? asibirwe ebweru w'olusiisira ennaku musanvu, kale oluvannyuma alyoke ayingizibwe nate.
15. Miryamu n'asibirwa ebweru w'olusiisira ennaku musanvu: abantu ne batatambula okutuusa Miryamu lwe yayingizibwa nate.
16. Awo oluvannyuma abantu ne basitula e Kazerosi ne batambula ne basiisira mu ddungu lya Palani.
About Okubala Chapter 12
Read Okubala Chapter 12 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Okubala in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.
Book Information
Book: Okubala
Chapter: 12
Testament: Old Testament
How to Read this Chapter
Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Okubala. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.
More Resources
Continue Reading the Bible
Continue reading Okubala Chapter 12 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.
Frequently Asked Questions
What is Okubala Chapter 12?
Okubala Chapter 12 is part of the Book of Okubala in the Holy Bible.
Can I read this chapter online?
Yes. You can read the complete Okubala Chapter 12 online for free with easy chapter navigation.
More Chapters from Endagaano Enkadde
- Engero Chapter 25
- Engero Chapter 19
- Engero Chapter 17
- Engero Chapter 12
- Engero Chapter 22
- Engero Chapter 16
- Engero Chapter 14
Explore More from Okubala
- Okubala Chapter 28
- Okubala Chapter 32
- Okubala Chapter 35
- Okubala Chapter 1
- Okubala Chapter 24
- Okubala Chapter 5
- Okubala Chapter 34