Olubereberye Chapter 16

For English

Read Olubereberye Chapter 16 Online

Read Olubereberye Chapter 16 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Olubereberye in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Olubereberye and the Holy Bible online.

Choose a Chapter

Olubereberye 16

Essuula 16

1. Salaayi, mukazi wa Ibulaamu, n'atamuzaalira baana: era yalina omuzaana, Omumisiri, erinnya lye Agali.

2. Salaayi n'agamba Ibulaamu nti Laba nno, Mukama anziyizza okuzaalanga; nkwegayiridde, yingira eri omuzaana wange, mpozzi ndifuna abaana mu ye. Ibulaamu n'awulira eddoboozi lya Salaayi.

3. Salaayi, mukazi wa Ibulaamu, n'atwala Agali, Omumisiri, muzaana we, Ibulaamu bwe yali yaakamaze emyaka ekkumi okutuula mu nsi ya Kanani, n'amuwa Ibulaamu musajja we okuba mukazi we.

4. N'ayingira eri Agali, naye n'aba olubuto: awo bwe yalaba ng'ali lubuto, mugole we n'anyoomebwa mu maaso ge.

5. Salaayi n'agamba Ibulaamu nti Okwonoona kwange kube ku ggwe: nakuwa omuzaana wange mu kifuba kyo; kale bwe yalaba ng'ali lubuto, ne nnyoomebwa mu maaso ge: Mukama atusalire omusango nze naawe.

6. Naye Ibulaamu n'agamba Salaayi nti Laba, omuzaana wo ali mu mukono gwo; mukolere ekifaanana ekirungi mu maaso go. Salaayi, n'amujoganga, n'adduka mu maaso ge.

7. Ne malayika wa Mukama n'amulabira awali oluzzi olw'amazzi mu ddungu, oluzzi oluli mu kkubo ng'ogenda e Ssuuli.

8. N'ayogera nti Agali, muzaana wa Salaayi, ova wa? era ogenda wa? Naye n'ayogera nti Nziruka mu maaso ga mugole wange Salaayi.

9. Ne malayika wa Mukama n'amugamba nti Ddayo eri mugole wo, ogonde wansi w'emikono gye.

10. Era malayika wa Mukama n'amugamba nti Ndyongera nnyo ezzadde lyo, n'okubala ne litabalika olw'obungi.

11. Era malayika wa Mukama n'amugamba nti Laba, oli lubuto, era olizaala omwana wa bulenzi; era olimutuuma erinnya Isimaeri, kubanga Mukama awulidde okubonyabonyezebwa kwo.

12. Era aliba ng'entulege mu bantu; omukono gwe gunaalwananga na buli muntu, n'omukono gwa buli muntu gunaalwananga naye; era anaatuulanga awali baganda be bonna.

13. N'ayita erinnya lya Mukama eyayogera naye, nti Ggwe Katonda alaba: kubanga yayogera nti N'okutunula ntunuulidde oyo andaba?

14. Oluzzi kyerwava luyitibwa Beerirakairo: laba, luli wakati wa Kadesi ne Beredi.

15. Agali n'azaalira Ibulaamu omwana; Ibulaamu n'atuuma omwana we, Agali gwe yazaala, erinnya lye Isimaeri.

16. Ibulaamu yali yaakamaze emyaka kinaana mu mukaaga, Agali bwe yazaalira Ibulaamu Isimaeri.

About Olubereberye Chapter 16

Read Olubereberye Chapter 16 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Olubereberye in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.

Book Information

Book: Olubereberye
Chapter: 16
Testament: Old Testament

How to Read this Chapter

Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Olubereberye. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.

https://www.youtube.com/watch?v=rzsT_Q3KLzE

More Resources

Continue Reading the Bible

Continue reading Olubereberye Chapter 16 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.

Frequently Asked Questions

What is Olubereberye Chapter 16?

Olubereberye Chapter 16 is part of the Book of Olubereberye in the Holy Bible.

Can I read this chapter online?

Yes. You can read the complete Olubereberye Chapter 16 online for free with easy chapter navigation.

More Chapters from Endagaano Enkadde

  1. Engero Chapter 25
  2. Engero Chapter 19
  3. Engero Chapter 17
  4. Engero Chapter 12
  5. Engero Chapter 22
  6. Engero Chapter 16
  7. Engero Chapter 14

Explore More from Olubereberye

  1. Olubereberye Chapter 30
  2. Olubereberye Chapter 13
  3. Olubereberye Chapter 45
  4. Olubereberye Chapter 27
  5. Olubereberye Chapter 10
  6. Olubereberye Chapter 3
  7. Olubereberye Chapter 47

Related Chapters & Readings

  1. 1 Yokaana Chapter 3
  2. Yokaana Chapter 12
  3. Zabbuli Chapter 143
  4. Amosi Chapter 9
  5. 1 Ebyomumirembe Chapter 10
  6. Ebikolwa Chapter 27
  7. Zabbuli Chapter 136
Share Your Love

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *