Olubereberye Chapter 20

For English

Read Olubereberye Chapter 20 Online

Read Olubereberye Chapter 20 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Olubereberye in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Olubereberye and the Holy Bible online.

Choose a Chapter

Olubereberye 20

Essuula 20

1. Ibulayimu n'ava eyo n'atambula okugenda mu nsi ey'obukiika obwa ddyo, n'atuula wakati wa Kadesi ne Ssuuli; n'abeera mu Gerali.

2. Ibulayimu n'ayogera ku Saala mukazi we nti Ye mwanayinaze: ne Abimereki kabaka w'e Gerali n'atuma, n'atwala Saala.

3. Naye Katonda n'ajjira Abimereki mu kirooto eky'ekiro, n'amugamba nti Laba, ggwe oli mufu bufu, olw'omukazi gwe watwala; kubanga alina bba.

4. Era Abimereki yali nga tannamusemberera: n'ayogera nti Mukama, olitta eggwanga newakubadde nga ttuukirivu?

5. Teyaŋŋamba ye yennyini nti Ye mwannyinaze? naye omukazi, omukazi yennyini n'ayogera nti Ye mwannyinaze: nga nnina omutima omutuukirivu n'engalo ezitaliiko kabi bwe nnakola ekyo.

6. Katonda n'amugamba mu kirooto nti Weewaawo, mmanyi nga wakola ekyo ng'olina omutima omutuukirivu, era nange ne nkuziyiza okunnyonoona: kyennava nnema okukuganya okumukwatako.

7. Kale nno zzaayo mukazi w'omusajja; kubanga ye nnabbi, naye alikusabira, naawe oliba mulamu: era bw'otoomuzzeeyo, tegeera nga tolirema kufa, ggwe, n'ababo bonna.

8. Abimereki n'agolokoka enkya mu makya, n'ayita abaddu be bonna, n'abuulira ebyo byonna mu matu gaabwe: abasajja tre batya nayo.

9. Abimereki n’alyoka ayita Ibulayimu, n'amugamba nti Onkoze ki? nange nnakwonoona ntya, ggwe okundeetera nze n'obwakabaka bwange okwonoona okunene? Onkoze ebikolwa ebitagwana kukola.

10. Abimereki n'agamba Ibulayimu nti Walaba kiki, ekyakukoza ekyo?

11. Ibulayimu n'ayogera nti Kubanga nalowooza nti Mazima okutya Katonda tekuli mu kifo kino; nange balinzita olwa mukazi wange.

12. Era naye mazima ye mwanayinaze, mwana wa kitange, naye si mwana wa mmange; n'afuuka mukazi wange:

13. kale, Katonda bwe yantambuzatambuza okuva mu nnyumba ya kitange, ne ndyoka mmugamba nti Kino kye kisa kyo ky'ononjolesanga; mu buli kifo mwe tunaatuukanga, oyogeranga ku nze nti Ye mwannyinaze.

14. Ne Abimereki n'atwala endiga n'ente, n'abaddu n'abazaana, n'abiwa Ibulayimu, n'amuddiza Saala mukazi we.

15. Abimereki n'ayogera nti Ensi yange eri mu maaso go: tuula gy'onooyagala.

16. N'agamba Saala nti Laba, mpadde mwannyoko ebitundu lukumi ebya ffeeza: laba, ky'eky'okubikka ku maaso gy'oli eri abo bonna abali naawe; ne mu bigambo byonna ogattiddwa.

17. Ibulayimu n'asaba Katonda: Katonda n'awonya Abimereki, ne mukazi we, n'a bazaana be; ne bazaala abaana.

18. Kubanga Mukama yali asibidde ddala embuto zonna ez'omu nnyumba ya Abimereki, alwa Saala mukazi wa Ibulayimu.

About Olubereberye Chapter 20

Read Olubereberye Chapter 20 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Olubereberye in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.

Book Information

Book: Olubereberye
Chapter: 20
Testament: Old Testament

How to Read this Chapter

Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Olubereberye. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.

https://www.youtube.com/watch?v=rzsT_Q3KLzE

More Resources

Continue Reading the Bible

Continue reading Olubereberye Chapter 20 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.

Frequently Asked Questions

What is Olubereberye Chapter 20?

Olubereberye Chapter 20 is part of the Book of Olubereberye in the Holy Bible.

Can I read this chapter online?

Yes. You can read the complete Olubereberye Chapter 20 online for free with easy chapter navigation.

More Chapters from Endagaano Enkadde

  1. Engero Chapter 23
  2. Engero Chapter 17
  3. Engero Chapter 16
  4. Engero Chapter 12
  5. Engero Chapter 28
  6. Engero Chapter 25
  7. Engero Chapter 19

Explore More from Olubereberye

  1. Olubereberye Chapter 15
  2. Olubereberye Chapter 43
  3. Olubereberye Chapter 16
  4. Olubereberye Chapter 36
  5. Olubereberye Chapter 45
  6. Olubereberye Chapter 25
  7. Olubereberye Chapter 46

Related Chapters & Readings

  1. Ebikolwa Chapter 14
  2. Ebyabaleevi Chapter 27
  3. Isaaya Chapter 18
  4. 2 Ebyomumirembe Chapter 15
  5. Zekkaliya Chapter 6
  6. Abaggalatiya Chapter 2
  7. Isaaya Chapter 27
Share Your Love

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *