Read Okuva Chapter 31 Online
Read Okuva Chapter 31 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Okuva in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Okuva and the Holy Bible online.
Choose a Chapter
Okuva 31
Essuula 31
1. Mukama n'agamba Musa nti
2. Laba, mpise erinnya Bezaaleeri omwana wa Uli, omwana wa Kuuli, ow'omu kika kya Yuda:
3. era mmujjuzizza omwoyo gwa Katonda, mu magezi, ne mu kutegeera, ne mu kumanya, ne mu buli ngeri ya kukola,
4. okulowooza emirimu egy'amagezi, okukola ne zaabu, ne ffeeza, n'ekikomo,
5. ne mu kusala amayinja ag'okussaamu, ne mu kwola emiti, okukola mu buli ngeri ya kukola.
6. Nange, laba, nteeseewo wamu naye Okoliyaabu, omwana wa Akisamaki, ow'omu kika kya Ddaani; ne mu mitima gyabwe bonna abalina emitima egy'amagezi ngitaddemu amagezi bakole byonna bye nkulagidde:
7. eweema ey'okusisinkanirangamu, ne ssanduuko ey'obujulirwa, n'entebe ey'okusaasira egiriko, n'ebintu byonna eby'omu weema;
8. n'emmeeza n'ebintu byayo, n'ekikondo ekirungi n'ebintu byakyo byonna, n'ekyoto eky'okwoterezangako;
9. n'ekyoto eky'okwokerangako n'ebintu byakyo byonna, n'ekinaabirwamu n'entobo yaakyo;
10. n'ebyambalo ebikolebwa obulungi, n'ebyambalo ebitukuvu ebya Alooni kabona, n'ebyambalo eby'abaana be, okuweerereza mu bwakabona;
11. n'amafuta ag'okufukibwangako, n'eky'okwoteza eky'eby'akaloosa ebiwoomerevu ekya watukuvu: nga byonna bye nkulagidde, bwe balikola bwe batyo.
12. Mukama n'agamba Musa nti
13. Era buulira abaana ba Isiraeri nti Mazima mukwatanga ssabbiiti zange: kubanga ke kabonero wakati wange nammwe mu mirembe gyammwe gyonna; mulyoke mumanye nga nze Mukama abatukuza.
14. Kyemunaavanga mukwata ssabbiiti; kubanga lwe lutukuvu gye muli: buli anaalusobyanga talemanga kuttibwa: kubanga buli anaalukolerangako emirimu gyonna, omwoyo ogwo gunaazikirizibwanga mu bantu be.
15. Ennaku mukaaga emirimu gikolebwenga; naye ku lunaku olw'omusanvu wabangawo ssabbiiti olw'okuwummula okutukuvu, eri Mukama: buli anaakoleranga emirimu gyonna ku ssabbiiti, talemanga kuttibwa.
16. Abaana ba Isiraeri kyebanaavanga bakwata ssabbiiti, okwekuumanga ssabbiiti mu mirembe gyabwe gyonna, okuba endagaano etaliggwaawo.
17. Ke kabonero wakati wange n'abaana ba Isiraeri ennaku zonna: kubanga mu nnaku mukaaga Mukama yakola eggulu n'ensi, ne ku lunaku olw'omusanvu n'awummula, n'aweera.
18. Bwe yamala okwogera naye ku lusozi, Sinaayi, n'awa Musa ebipande bibiri eby'obujulirwa, ebipande eby'amayinja, ebyawandiikibwako n'engalo ya Katonda.
About Okuva Chapter 31
Read Okuva Chapter 31 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Okuva in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.
Book Information
Book: Okuva
Chapter: 31
Testament: Old Testament
How to Read this Chapter
Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Okuva. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.
More Resources
Continue Reading the Bible
Continue reading Okuva Chapter 31 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.
Frequently Asked Questions
What is Okuva Chapter 31?
Okuva Chapter 31 is part of the Book of Okuva in the Holy Bible.
Can I read this chapter online?
Yes. You can read the complete Okuva Chapter 31 online for free with easy chapter navigation.
More Chapters from Endagaano Enkadde
- Engero Chapter 23
- Engero Chapter 17
- Engero Chapter 16
- Engero Chapter 12
- Engero Chapter 28
- Engero Chapter 14
- Engero Chapter 13
Explore More from okuva
- Okuva Chapter 17
- Okuva Chapter 19
- Okuva Chapter 20
- Okuva Chapter 33
- Okuva Chapter 13
- Okuva Chapter 5
- Okuva Chapter 9