Ezekyeri Chapter 25

For English

Read Ezekyeri Chapter 25 Online

Read Ezekyeri Chapter 25 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Ezekyeri in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Ezekyeri and the Holy Bible online.

Choose a Chapter

Ezekyeri 25

Essuula 25

1. Awo ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera nti

2. Omwana w'omuntu, simba amaaso go okwolekera abaana ba Amoni, obalagulireko:

3. ogambe abaana ba Amoni nti Muwulire ekigambo kya Mukama Katonda: bw'ati bw'ayogera Mukama nti Kubanga wayogera nti Nyeenya, eri awatukuvu wange, bwe wayonooneka; n'eri ensi ya Isiraeri bwe yazisibwa; n'eri ennyumba ya Yuda bwe baagenda mu busibe:

4. laba, kyendiva nkuwaayo eri abaana ab'ebuvanjuba okuba obutaka, kale balisiisira ensiisira zaabwe mu ggwe, ne batuula mu ggwe; balirya ebibala byo, era balinywa amata go.

5. Era ndifuula Labba okuba ng'ekisibo eky'eŋŋamira, n'abaana ba Amoni okuba ng'ekifo embuzi we zigalamira: kale mulimanya nga nze Mukama.

6. Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Kubanga okubye mu ngalo, n'osamba n'ebigere, n'osanyukira ku nsi ya Isiraeri n'ekyejo kyonna eky'omu mmeeme yo;

7. laba, kyenvudde nkugololerako omukono gwange, era ndikuwaayo okuba omunyago eri amawanga; era ndikuzikiriza mu mawanga, ne nkumalamu mu nsi ezo: ndikufaafaaganya; kale olimanya nga nze Mukama.

8. Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Kubanga Mowaabu ne Seyiri boogera nti Laba, ennyumba ya Yuda efaanana amawanga gonna;

9. laba, kyendiva mbaggulira abaana b'ebuvanjuba oluuyi lwa Mowaabu okuva mu bibuga, okuva mu bibuga bye ebiri ku nsalo ye, ekitiibwa eky'ensi, Besuyesimosi, Baalumyoni, ne Kiriyasayimu,

10. okutabaala abaana ba Amoni, era ndibawa okuba obutaka, abaana ba Amoni balemenga okujjukirwanga mu mawanga:

11. era ndituukiriza emisango ku Mowaabu; kale balimanya nga nze Mukama.

12. Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Kubanga Edomu akoze bubi ennyumba ya Yuda ng'awalana eggwanga, era ayonoonye nnyo era yeewalanidde eggwanga ku bo;

13. Mukama Katonda kyava ayogera bw'ati nti Ndigololera ku Edomu omukono gwange, ne mmumalamu abantu n'ensolo: era ndigizisa okuva e Temani: okutuuka e Dedani baligwa n'ekitala.

14. Era nditeeka eggwanga lyange ku Edomu n'omukono gw'abantu bange Isiraeri; era balikolera mu Edomu ng'obusungu bwange bwe buli era ng'ekiruyi kyange bwe kiri: kale balimanya okuwalana kwange, bw'ayogera Mukama Katonda.

15. Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Kubanga Abafirisuuti bakoze nga bawalana eggwanga, era bawalanye eggwanga emmeeme yaabwe ng'eriko ekyejo, okugizikiriza n'obulabe obutaggwaawo;

16. Mukama Katonda kyava ayogera bw'ati nti Laba, ndigololera ku Bafirisuuti omukono gwange, era ndimalawo Abakeresi, ne nzikiriza ekitundu ekifisseewo eky'oku ttale ly'ennyanja.

17. Era ndiwalana ku bo eggwanga ekkulu nga mbanenya n'ekiruyi: kale balimanya nga nze Mukama, bwe ndibateekako eggwanga lyange.

About Ezekyeri Chapter 25

Read Ezekyeri Chapter 25 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Ezekyeri in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.

Book Information

Book: Ezekyeri
Chapter: 25
Testament: Old Testament

How to Read this Chapter

Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Ezekyeri. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.

https://www.youtube.com/watch?v=rzsT_Q3KLzE

More Resources

Continue Reading the Bible

Continue reading Ezekyeri Chapter 25 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.

Frequently Asked Questions

What is Ezekyeri Chapter 25?

Ezekyeri Chapter 25 is part of the Book of Ezekyeri in the Holy Bible.

Can I read this chapter online?

Yes. You can read the complete Ezekyeri Chapter 25 online for free with easy chapter navigation.

More Chapters from Endagaano Enkadde

  1. Engero Chapter 23
  2. Engero Chapter 17
  3. Engero Chapter 16
  4. Engero Chapter 12
  5. Engero Chapter 28
  6. Engero Chapter 25
  7. Engero Chapter 14

Explore More from Ezekyeri

  1. Ezekyeri Chapter 39
  2. Ezekyeri Chapter 28
  3. Ezekyeri Chapter 35
  4. Ezekyeri Chapter 15
  5. Ezekyeri Chapter 45
  6. Ezekyeri Chapter 31
  7. Ezekyeri Chapter 13

Related Chapters & Readings

  1. Isaaya Chapter 53
  2. Nekkemiya Chapter 4
  3. Danyeri Chapter 7
  4. 2 Ebyomumirembe Chapter 2
  5. 2 Bassekabaka Chapter 5
  6. Okuva Chapter 31
  7. 2 Samwiri Chapter 12
Share Your Love

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *