Yobu Chapter 21

For English

Read Yobu Chapter 21 Online

Read Yobu Chapter 21 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Yobu in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Yobu and the Holy Bible online.

Choose a Chapter

Yobu 21

Essuula 21

1. Awo Yobu n'addamu n'ayogera nti

2. Muwulire nnyo okwogera kwange; Era bino bibeere bya kubasanyusa.

3. Munzikirize, nange naayogera; Kale nga mmaze okwogera, mweyongere okuduula.

4. Nze neemulugunya eri abantu? Era ekyandindobedde okwesunaasuna kiki?

5. Munziseeko omwoyo, mwewuunye, Era muteeke omukono gwammwe ku kamwa kammwe.

6. Bwe njijukira obujjukizi neeraliikirira, Okwesisiwala ne kukwata omubiri gwange.

7. Ababi babeerera ki abalamu, Ne bakaddiwa ne baba ba maanyi mu buyinza?

8. Ezzadde lyabwe linywera gye bali bo nga balaba, N'enda yaabwe mu maaso gaabwe.

9. Ennyumba zaabwe ziba mirembe awatali kutya, So n'omuggo gwa Katonda tegubabaako,

10. Ente yaabwe ennume ezaala n'eteddirira; Ente yaabwe enkazi ezaala n'etesowola mwana gwayo.

11. Basindika abaana baabwe abato ng'ekisibo, N'abaana baabwe bazina.

12. Bayimbira ku bitaasa n'ennanga, Ne basanyukira eddoboozi ly'omulere.

13. Bamala ennaku zaabwe nga balabye omukisa, Mu kaseera ne bakka mu magombe.

14. Era naye ne bagamba Katonda nti Tuveeko; Kubanga tetwegomba kumanya makubo go.

15. Omuyinza w'ebintu byonna kye ki, ffe tumuweereze? Era bwe tunaamusabanga kinaatugasanga kitya?

16. Laba, omukisa gwabwe teguli mu mukono gwabwe: Okuteesa kw'ababi kundi wala.

17. Ettabaaza y'ababi ezikizibwa emirundi emeka? N'obuyinike bwabwe bubatuukako emirundi emeka? Katonda agaba ennaku mu busungu bwe emirundi emeka?

18. Baba ng'ebisasiro ebitwalibwa n'empewo, Era ng'ebisusunku embuyaga bye zitwala emirundi emeka?

19. Mwogera nti Katonda aterekera abaana be obutali butuukirivu bwe. Abasasule ye yennyini abumanye.

20. Amaaso ge galabe okuzikirira kwe ye, Era anywe ku busungu bw'Omuyinza w'ebintu byonna.

21. Kubanga asanyukira atya ennyumba ye emuddirira, Omuwendo gw'emyezi gye nga gukutuse wakati?

22. Waliwo anaayigirizanga Katonda okumanya? Kubanga asalira abo omusango abagulumizibwa.

23. Wabaawo omu afa ng'alina amaanyi ge gonna, Ng'aweereddeweeredde ddala ng'ateredde:

24. Amabeere ge gajjudde amata, N'obusomyo obw'amagumba ge nga bubisi.

25. N'omulala afa omwoyo gwe nga gumubalagala, So taleganga ku birungi.

26. Bombi bagalamira mu nfuufu, Envunyu n'ebabikkako.

27. Laba, mmanyi ebirowoozo byammwe, N'enkwe ze munsalira obubi.

28. Kubanga mwogera nti Ennyumba y'omukungu eri ludda wa? Era nti Eweema ababi mwe babeera eri ludda wa?

29. Temwababuuza abatambulira mu kkubo? Era temumanyi bubonero bwabwe?

30. Ng'omuntu omubi aterekerwa olunaku olw'okulabirako ennaku? Nga batwalibwa eri olunaku olw'obusungu?

31. Ani anaabuuliranga ekkubo lye mu maaso ge? Era ani anaamusasulanga bye yakola?

32. Naye anaatwalibwanga mu ntaana, Era anaakuumanga amalaalo.

33. Amafunfugu ag'omu kiwonvu ganaamuwoomeranga, N'abantu bonna banaawalulwanga ennyuma we, Nga bwe baamukulembera abatabalika.

34. Kale nno munsanyusiza mutya obwereere, Kubanga mu kuddamu kwammwe musigaddemu obulimba busa?

About Yobu Chapter 21

Read Yobu Chapter 21 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Yobu in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.

Book Information

Book: Yobu
Chapter: 21
Testament: Old Testament

How to Read this Chapter

Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Yobu. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.

https://www.youtube.com/watch?v=rzsT_Q3KLzE

More Resources

Continue Reading the Bible

Continue reading Yobu Chapter 21 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.

Frequently Asked Questions

What is Yobu Chapter 21?

Yobu Chapter 21 is part of the Book of Yobu in the Holy Bible.

Can I read this chapter online?

Yes. You can read the complete Yobu Chapter 21 online for free with easy chapter navigation.

More Chapters from Endagaano Enkadde

  1. Engero Chapter 25
  2. Engero Chapter 19
  3. Engero Chapter 17
  4. Engero Chapter 12
  5. Engero Chapter 22
  6. Engero Chapter 16
  7. Engero Chapter 23

Explore More from Yobu

  1. Yobu Chapter 9
  2. Yobu Chapter 8
  3. Yobu Chapter 23
  4. Yobu Chapter 7
  5. Yobu Chapter 39
  6. Yobu Chapter 11
  7. Yobu Chapter 35

Related Chapters & Readings

  1. Luusi Chapter 4
  2. 1 Timoseewo Chapter 4
  3. Abaggalatiya Chapter 3
  4. Zabbuli Chapter 24
  5. Zabbuli Chapter 73
  6. Lukka Chapter 6
  7. Zabbuli Chapter 94
Share Your Love

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *