Read Isaaya Chapter 62 Online
Read Isaaya Chapter 62 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Isaaya in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Isaaya and the Holy Bible online.
Choose a Chapter
Isaaya 62
Essuula 62
1. Ku lwa Sayuuni kyendiva nnema okusirika ne ku lwa Yerusaalemi kyendiva nnema okuwummula, okutuusa obutuukirivu bwe lwe bulifuluma ng'okumasamasa, n'obulokozi bwe ng'ettabaaza eyaka.
2. Kale amawanga galiraba obutuukirivu bwo, ne bakabaka bonna ekitiibwa kyo: awo olituumibwa erinnya eriggya akamwa ka Mukama lye kalituuma.
3. Era oliba ngule ya bulungi mu mukono gwa Mukama, n'enkuufiira ey'obwakabaka mu mukono gwa Katonda wo.
4. Toliyitibwa nate lwa kubiri nti Alekeddwa; so n'ensi yo teriyitibwa nate nti Eyazika: naye oliyitibwa nti Gwe nsanyukira, n'ensi yo eriyitibwa nti Eyafumbirwa: kubanga Mukama akusanyukira, n'ensi yo erifumbirwa.
5. Kuba omulenzi nga bw'awasa omuwala, bwe batyo batabani bo bwe balikuwasa: era ng'awasa omugole bw'asanyukira omugole, bw'atyo Katonda wo bw'alikusanyukira.
6. Ntadde abakuumi ku bbugwe wo, ggwe Yerusaalemi; tebalisirika n'akatono emisana n'ekiro: mmwe abajjukiza ba Mukama, temuwummulanga,
7. so temumuganyanga kuwummula, okutuusa lw'alinyweza n’afuula Yerusaalemi okuba ettendo mu nsi.
8. Mukama alayidde omukono gwe ogwa ddyo n'omukono ogw'amaanyi ge nti Mazima siriwaayo nate eŋŋaano yo okuba emmere y'abalabe bo; so ne bannaggwanga tebalinywa mwenge gwo gwe wakolera emirimu:
9. naye abaagikungula be baligirya ne batendereza Mukama; n'abo abaagunoga be baligunywera mu mpya ez'omu watukuvu wange.
10. Muyite, muyite mu nzigi; mulongoose ekkubo ery'abantu; mugulumize mugulumize enguudo; mulondemu amayinja; muyimusize amawanga ebendera.
11. Laba, Mukama alangiridde enkomerero y'ensi nti Mugambe omuwala wa Sayuuni nti Laba, obulokozi bwo bujja; laba empeera ye eri naye n'okusasula kwe kuli mu maaso ge.
12. Era balibayita nti Bantu batukuvu, Banunule ba Mukama: naawe oliyitibwa nti Eyanoonyezebwa, Kibuga ekitalekebwa.
About Isaaya Chapter 62
Read Isaaya Chapter 62 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Isaaya in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.
Book Information
Book: Isaaya
Chapter: 62
Testament: Old Testament
How to Read this Chapter
Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Isaaya. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.
More Resources
Continue Reading the Bible
Continue reading Isaaya Chapter 62 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.
Frequently Asked Questions
What is Isaaya Chapter 62?
Isaaya Chapter 62 is part of the Book of Isaaya in the Holy Bible.
Can I read this chapter online?
Yes. You can read the complete Isaaya Chapter 62 online for free with easy chapter navigation.
More Chapters from Endagaano Enkadde
- Engero Chapter 23
- Engero Chapter 25
- Engero Chapter 19
- Engero Chapter 12
- Engero Chapter 22
- Engero Chapter 17
- Engero Chapter 16
Explore More from Isaaya
- Isaaya Chapter 16
- Isaaya Chapter 9
- Isaaya Chapter 28
- Isaaya Chapter 66
- Isaaya Chapter 14
- Isaaya Chapter 53
- Isaaya Chapter 38