Read Engero Chapter 5 Online
Read Engero Chapter 5 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Engero in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Engero and the Holy Bible online.
Choose a Chapter
Engero 5
Essuula 5
1. Mwana wange, ssangayo omwoyo eri amagezi gange; Teganga okutu eri okutegeera kwange:
2. Olyoke okuumenga okuteesa, N'emimwa gyo gikwatenga okumanya.
3. Kubanga emimwa gy'omukazi omugenyi gitonnya omubisi gw'enjuki, N'akamwa ke kasinga amafuta obugonvu:
4. Naye enkomerero ey'oluvannyuma ekaawa ng'omususa, Esala ng'ekitala eky'obwogi obubiri.
5. Ebigere bye bikka mu kufa; Ebisinde bye bikwata amagombe;
6. N'okulaba talaba kkubo ttereevu ery'obulamu: Amakubo ge gasagaasagana, so takimanyi.
7. Kale nno, baana bange, mumpulirenga, So temuvanga mu bigambo eby'omu kamwa kange.
8. Ekkubo lyo limwesambire ddala, So tosembereranga luggi lwa nnyumba ye:
9. Olemenga okuwa abalala ekitiibwa kyo, N'emyaka gyo eri omukambwe.
10. Abagenyi balemenga okukkuta amaanyi go; N'emirimu gyo giremenga okubeera mu nnyumba y'omunnaggwanga;
11. Naawe n'onakuwala enkomerero yo ng'etuuse Ennyama yo n'omubiri gwo bwe birimalibwawo,
12. N'oyogera nti Nga nakyawanga okuyigirizibwa, Omutima gwange ne gunyoomanga okunenyezebwa;
13. So saagonderanga ddoboozi lya bayigiriza bange, So saateganga kutu kwange eri abo abanjigirizanga!
14. Nabulako katono okuba mu bubi bwonna Wakati mu kkuŋŋaaniro n'ekibiina.
15. Onyweranga amazzi mu kidiba kyo ggwe, N'amazzi agakulukuta mu luzzi lwo ggwe.
16. Ensulo zo zandisaasaanidde ddala, Emigga egy'amazzi ne giba mu nguudo?
17. Gabeereranga ddala gago wekka, So si ga bagenyi wamu naawe.
18. Ensulo yo ebeerenga n'omukisa; Era sanyukiranga omukazi ow'omu buvubuka bwo.
19. Ng'ennangaazi ekwagala n'empeewo ekusanyusa, Amabeere ge gakumalenga mu biro byonna; Era osanyukirenga bulijjo okwagala kwe.
20. Kubanga lwaki ggwe okusanyukiranga omukazi omugenyi, mwana wange, N'ogwa mu kifuba ky'atali wuwo?
21. Kubanga amakubo g'abantu gali mu maaso ga Mukama, Era atereeza eŋŋendo ze zonna.
22. Obutali butuukirivu bwe ye bulikwata omubi, Era alisibibwa n'emigwa egy'okwonoona kwe,
23. Alifa olw'okubulwa okuyigirizibwa; Era olw'obusirusiru bwe obungi aliwaba.
About Engero Chapter 5
Read Engero Chapter 5 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Engero in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.
Book Information
Book: Engero
Chapter: 5
Testament: Old Testament
How to Read this Chapter
Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Engero. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.
More Resources
Continue Reading the Bible
Continue reading Engero Chapter 5 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.
Frequently Asked Questions
What is Engero Chapter 5?
Engero Chapter 5 is part of the Book of Engero in the Holy Bible.
Can I read this chapter online?
Yes. You can read the complete Engero Chapter 5 online for free with easy chapter navigation.
More Chapters from Endagaano Enkadde
- Engero Chapter 25
- Engero Chapter 19
- Engero Chapter 17
- Engero Chapter 12
- Engero Chapter 22
- Engero Chapter 16
- Engero Chapter 14
Explore More from engero
- Engero Chapter 29
- Engero Chapter 30
- Engero Chapter 9
- Engero Chapter 2
- Engero Chapter 8
- Engero Chapter 10
- Engero Chapter 31