Read 1 Ebyomumirembe Chapter 15 Online
Read 1 Ebyomumirembe Chapter 15 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of 1 Ebyomumirembe in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of 1 Ebyomumirembe and the Holy Bible online.
Choose a Chapter
1 Ebyomumirembe 15
Essuula 15
1. Awo Dawudi ne yeezimbira ennyumba mu kibuga kya Dawudi: n'ategekera essanduuko ya Katonda ekifo, n'agikubira eweema.
2. Awo Dawudi n'ayogera nti Si kirungi omuntu yenna okusitula essanduuko ya Katonda wabula Abaleevi: kubanga abo Mukama be yalonda okusitulanga essanduuko ya Katonda, n'okumuweerezanga ennaku zonna.
3. Awo Dawudi n'akuŋŋaanya Isiraeri yenna e Yerusaalemi, okulinnyisa essanduuko ya Mukama mu kifo kyayo kye yali agitegekedde.
4. Dawudi n'akuŋŋaanya batabani ba Alooni n'Abaleevi:
5. ku batabani ba Kokasi; Uliyeri omukulu, ne baganda be kikumi mu abiri:
6. ku batabani ba Merali; Asaya omukulu, ne baganda be ebikumi bibiri mu abiri;
7. ku batabani ba Gerusomu: Yoweeri omukulu, ne baganda be kikumi mu asatu:
8. ku batabani ba Erizafani; Semaaya omukulu, ne baganda be ebikumi bibiri:
9. ku batabani ba Kebbulooni; Eryeri omukulu, ne baganda be kinaana:
10. ku batabani ba Wuziyeeri; Amminadaabu omukulu, ne baganda be kikumi mu kkumi na babiri.
11. Dawudi n'ayita Zadoki ne Abiyasaali bakabona, n'Abaleevi, Uliyeri ne Asaya ne Yoweeri, Semaaya ne Eryeri ne Amminadaabu,
12. n'abagamba nti Mmwe muli mitwe gy'ennyumba za bajjajjaabwe ez'Abaleevi: mwetukuze, mmwe era ne baganda bammwe, mulyoke mulinnyise essanduuko ya Mukama Katonda wa Isiraeri mu kifo kye ngitegekedde.
13. Kubanga temwasooka kugisitula, Mukama Katonda waffe kyeyava atuwamatukira, kubanga tetwamunoonya ng'ekiragiro bwe kyali.
14. Awo bakabona n'Abaleevi ne beetukuza okulinnyisa essanduuko ya Mukama Katonda wa Isiraeri.
15. Abaana b'Abaleevi ne basitulira essanduuko ya Katonda ku bibegabega byabwe n'emisituliro gyako nga Musa bwe yalagira ng'ekigambo kya Mukama bwe kyali.
16. Dawudi n'agamba Abaleevi abakulu okulonda baganda baabwe abayimbi, nga balina ebivuga, entongooli n'ennanga n'ebitaasa, nga babikuba era nga bayimusa eddoboozi n'essanyu,
17. Awo Abaleevi ne balonda Kemani mutabani wa Yoweeri; ne ku baganda be, Asafu mutabani wa Berekiya; ne ku batabani ba Merali baganda baabwe, Esani mutabani wa Kusaya;
18. era wamu nabo baganda baabwe ab'omutindo ogw'okubiri, Zekkaliya, Beni, ne Yaaziyeri, ne Semiramosi, ne Yekyeri, ne Unni, Eriyaabu, ne Benaya, ne Maaseya, ne Mattisiya, ne Erifereku, ne Mikuneya, ne Obededomu, ne Yeyeeri, abaggazi.
19. Awo abayimbi, Kemani, Asafu, ne Esani, ne balondebwa, nga balina ebitaasa eby'ebikomo okuvuga;
20. Zekkaliya, ne Aziyeri, ne Semiramosi, ne Yekyeri, ne Unni, ne Eriyaabu, ne Maaseya, ne Benaya, nga balina entongooli ez'ekyalamosi;
21. ne Mattisiya, ne Erifereku, ne Mikuneya, ne Obededomu, ne Yeyeeri, ne Azaziya, nga balina ennanga ez'ekiseminisi, ez'okuleeterezanga.
22. Ne Kenaniya omukulu w'Abaleevi ye yalabiriranga okuyimba: ye yayigirizanga eby'okuyimba kubanga mutegeevu.
23. Ne Berekiya ne Erukaana be baali abaggazi ab'oku ssanduuko.
24. Ne Sebaniya ne Yosafaati ne Nesaneri ne Amasayi ne Zekkaliya ne Benaya ne Eryeza bakabona be baafuuwanga amakondeere mu maaso g'essanduuko ya Katonda: ne Obededomu ne Yekiya be baali abaggazi ab'oku ssanduuko.
25. Awo Dawudi n'abakadde ba Isiraeri n'abaami b'enkumi ne bagenda okulinnyisa essanduuko ey'endagaano ya Mukama okugiggya mu nnyumba ya Obededomu n'essanyu:
26. awo olwatuuka Katonda bwe yayamba Abaleevi abaasitula essanduuko ey'endagaano ya Mukama, ne bawaayo ente musanvu n'embuzi ennume musanvu.
27. Dawudi n'ayambala omunagiro ogwa bafuta ennungi, n'Abaleevi bonna abaasitula essanduuko n'abayimbi ne Kenaniya omukulu w'okuyimba wamu n'abayimbi: era Dawudi yali ayambadde ekkanzu eya bafuta,
28. Bwe batyo Isiraeri yenna ne balinnyisa essanduuko ey'endagaano ya Mukama n'okwogerera waggulu n'eddoboozi ery'eŋŋombe n'amakondeere n'ebisaala nga bakuba nnyo entongooli n'ennanga.
29. Awo olwatuuka essanduuko ey'endagaano ya Mukama bwe yali ng'ejja mu kibuga kya Dawudi, Mikali muwala wa Sawulo n'alingiza mu ddirisa, n'alaba kabaka Dawudi ng'azina era ng'azannya; n'amunyooma mu mutima gwe.
About 1 Ebyomumirembe Chapter 15
Read 1 Ebyomumirembe Chapter 15 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of 1 Ebyomumirembe in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.
Book Information
Book: 1 Ebyomumirembe
Chapter: 15
Testament: Old Testament
How to Read this Chapter
Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading 1 Ebyomumirembe. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.
More Resources
Continue Reading the Bible
Continue reading 1 Ebyomumirembe Chapter 15 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.
Frequently Asked Questions
What is 1 Ebyomumirembe Chapter 15?
1 Ebyomumirembe Chapter 15 is part of the Book of 1 Ebyomumirembe in the Holy Bible.
Can I read this chapter online?
Yes. You can read the complete 1 Ebyomumirembe Chapter 15 online for free with easy chapter navigation.
More Chapters from 1 Ebyomumirembe
- 1 Ebyomumirembe Chapter 7
- 1 Ebyomumirembe Chapter 18
- 1 Ebyomumirembe Chapter 26
- 1 Ebyomumirembe Chapter 24
- 1 Ebyomumirembe Chapter 3
- 1 Ebyomumirembe Chapter 2
- 1 Ebyomumirembe Chapter 25
Explore More from Endagaano Enkadde
- Isaaya Chapter 51
- 1 Ebyomumirembe Chapter 4
- Okuva Chapter 25
- Yeremiya Chapter 36
- Isaaya Chapter 31
- Kaabakuuku Chapter 2
- Ezekyeri Chapter 44