Read Olubereberye Chapter 3 Online
Read Olubereberye Chapter 3 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Olubereberye in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Olubereberye and the Holy Bible online.
Choose a Chapter
Olubereberye 3
Essuula 3
1. N'omusota gwali mukalabakalaba okusinga ensolo zonna ez'omu nsiko, ze yakola Mukama Katonda. Ne gugamba omukazi nti Bw'atyo bwe yayogera Katonda nti Temulyanga ku miti gyonna egy'omu lusuku?
2. Omukazi n'agamba omusota nti Ebibala by'emiti egy'omu lusuku tulya;
3. Wabula ebibala by'omuti oguli wakati mu lusuku, Katonda yayogera nti Temugulyangako newakubadde okugukwatangako muleme okufa.
4. Omusota ne gugamba omukazi nti Okufa temulifa.
5. Kubanga Katonda amanyi nti olunaku lwe muligulyako mmwe, amaaso gammwe lwe galizibuka, nammwe muliba nga Katonda okumanyanga obulungi n'obubi.
6. Omukazi bwe yalaba ng'omuti mulungi okulya, era nga gusanyusa amaaso n'omuti nga gwa kwegombebwa, okuleeta amagezi, n'anoga ku bibala byagwo n'alya, n'awa era ne ku musajja we naye n'alya.
7. Amaaso gaabwe bombi ne gazibuka ne beetegeera nga baali bwereere; ne batunga amalagala g'emiti ne beekolera eby'okwambala.
8. Ne bawulira eddoboozi lya Mukama Katonda ng'atambula mu lusuku mu kiseera eky'empewo: omusajja ne mukazi we ne beekweka mu maaso ga Mukama Katonda wakati mu miti egy'omu lusuku.
9. Mukama Katonda n'ayita omusajja n'amugamba: nti Oli luuyi wa?
10. N'ayogera nti, Mpulidde eddoboozi lyo mu lusuku, n'entya, kubanga mbadde bwereere; ne nneekweka.
11. N'ayogera nti Ani eyakubuulira nti obadde bwereere? Olidde ku muti gwe nnakulagira obutagulyangako?
12. Omusajja n'ayogera nti Omukazi, gwe wampa okubeeranga nange ye ampadde ku muti, ne ndya.
13. Mukama Katonda n'agamba omukazi nti Kiki kino ky'okoze? Omukazi n'ayogera nti Omusota gunsenzesenze, ne ndya.
14. Mukama Katonda n'agamba omusota nti, Kubanga okoze kino, okolimiddwa ggwe okusinga ensolo ez'omu nnyumba zonna, n'okusinga buli nsolo ey'omu nsiko; onootambuzanga olubuto, onoolyanga enfuufu ennaku zonna ez'obulamu bwo:
15. nange obulabe nnaabuteekanga wakati wo n'omukazi, era ne wakati w'ezzadde lyo n'ezzadde ly'omukazi: (ezzadde ly'omukazi) lirikubetenta omutwe, naawe oliribetenta ekisinziiro.
16. N'agamba omukazi nti Okwongera nnaakwongerangako obulumi bwo n'okubeeranga kwo olubuto; mu bulumi mw'onoozaaliranga abaana; n'okwegomba kwo kunaabanga eri musajja wo, naye anaakufuganga.
17. N'agamba Adamu nti Kubanga owulidde eddoboozi lya mukazi wo, n'olya ku muti gwe nnakulagira nga njogera nti Togulyangako: ensi ekolimiddwa ku lulwo; mu kutegana mw'onoggyanga ebyokulya ennaku zonna ez'obulamu bwo;
18. amaggwa n'amatovu g'eneekuzaaliranga; naawe onoolyanga omuddo ogw'omu nnimiro.
19. Mu ntuuyo ez'omu maaso go mw'onooliiranga emmere,-okutuusa lw'olidda mu ttaka; kubanga omwo mwe waggibwa; kubanga oli nfuufu ggwe, ne mu nfuufu mw'olidda.
20. Omusajja n'atuuma mukazi we erinnya lye Kaawa; kubanga ono ye nnyina w'abo bonna abalamu.
21. Mukama Katonda n'akolera Adamu ne mukazi we ebyambalo by'amaliba, n'abambaza.
22. Mukama Katonda n'ayogera nti Laba, omuntu afuuse ng'omu ku ffe, okumanyanga obulungi n'obubi; kaakano, aleme okugolola omukono gwe okunoga ku muti ogw'obulamu, okulya okuwangaalanga emirembe n'emirembe;
23. Mukama Katonda kyeyava amuggya mu lusuku Adeni, alimenga ettaka mwe yaggibwa.
24. Bw'atyo n'agoba omuntu; n'azzaamu ebuvanjuba mu lusuku Adeni bakerubi, era n'ekitala ekimyansa ekikyukakyuka okukuumanga ekkubo ery'omuti ogw'obulamu.
About Olubereberye Chapter 3
Read Olubereberye Chapter 3 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Olubereberye in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.
Book Information
Book: Olubereberye
Chapter: 3
Testament: Old Testament
How to Read this Chapter
Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Olubereberye. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.
More Resources
Continue Reading the Bible
Continue reading Olubereberye Chapter 3 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.
Frequently Asked Questions
What is Olubereberye Chapter 3?
Olubereberye Chapter 3 is part of the Book of Olubereberye in the Holy Bible.
Can I read this chapter online?
Yes. You can read the complete Olubereberye Chapter 3 online for free with easy chapter navigation.
More Chapters from Endagaano Enkadde
- Engero Chapter 23
- Engero Chapter 17
- Engero Chapter 16
- Engero Chapter 12
- Engero Chapter 28
- Engero Chapter 25
- Engero Chapter 19
Explore More from Olubereberye
- Olubereberye Chapter 5
- Olubereberye Chapter 42
- Olubereberye Chapter 49
- Olubereberye Chapter 4
- Olubereberye Chapter 47
- Olubereberye Chapter 20
- Olubereberye Chapter 24