Read Yeremiya Chapter 1 Online
Read Yeremiya Chapter 1 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Yeremiya in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Yeremiya and the Holy Bible online.
Choose a Chapter
Yeremiya 1
Essuula 1
1. Ebigambo bya Yeremiya mutabani wa Kirukiya ow'oku bakabona abaali mu Anasosi mu nsi ya Benyamini:
2. eyajjirwa ekigambo kya Mukama mu mirembe gya Yosiya mutabani wa Amoni, kabaka wa Yuda, mu mwaka ogw'ekkumi n'esatu ogw'okufuga kwe.
3. Era kyajjira ne mu mirembe gya Yekoyakimu mutabani wa Yosiya kabaka wa Yuda, okutuusa ku nkomerero y'omwaka ogw'ekkumi na gumu ogwa Zeddekiya mutabani wa Yosiya kabaka wa Yuda: okutuusa ab'e Yerusaalemi lwe baatwalibwa nga basibe mu mwezi ogw'okutaano.
4. Awo ekigambo kya Mukama ne kinjijira nti
5. Bwe nnali nga sinnakubumba mu lubuto nakumanya, era nga tonnava mu lubuto nakutukuza; nkutaddewo okuba nnabbi eri amawanga.
6. Awo nze ne ndyoka njogera nti Woowe, Mukama Katonda! laba, siyinza kwogera: kubanga ndi mwana muto.
7. Naye Mukama n'aŋŋamba nti Toyogera nti Ndi mwana muto: kubanga eri bonna gye nnaakutumanga gy'onoogendanga, era kyonna kye nnaakulagiranga ky'onooyogeranga.
8. Tobatyanga: kubanga nze ndi wamu naawe okukuwonya, bw'ayogera Mukama.
9. Awo Mukama n'agolola omukono gwe n'akoma ku kamwa kange; Mukama n'aŋŋamba nti Laba, ntadde ebigambo byange mu kamwa ko:
10. laba, leero nkutaddewo okuba omukulu w'amawanga era ow'amatwale ga bakabaka, okusimbula n'okumenya n'okuzikiriza n'okusuula; okuzimba n'okusimba.
11. Era nate ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera nti Yeremiya, olaba ki? Ne njogera nti Ndaba omuggo ogw'omulozi.
12. Awo Mukama n'aŋŋamba nti Olabye bulungi: kubanga ndabirira ekigambo kyange okukituukiriza.
13. Awo ekigambo kya Mukama ne kinjijira omulundi ogw'okubiri nga kyogera nti Olaba ki? Ne njogera nti Ndaba entamu eyeesera; n'amaaso gaayo gayima obukiika obwa kkono.
14. Awo Mukama n'aŋŋamba nti Okuyima obukiika obwa kkono obubi bulifubutukira ku bonna abali mu nsi.
15. Kubanga, laba, ndiyita ebika byonna eby'amatwale ga bakabaka b'obukiika obwa kkono, bw'ayogera Mukama; era balijja ne basimba buli muntu entebe ye awayingirirwa mu miryango gya Yerusaalemi n'okwolekera bbugwe waayo yenna enjuyi zonna n'okwolekera ebibuga byonna ebya Yuda.
16. Era ndyatula emisango gyange eri bo olw'obubi bwabwe bwonna; kubanga bandese ne booteza obubaane eri bakatonda abalala, ne basinza emirimu egy'engalo zaabwe bo.
17. Kale nno weesibe ekimyu oyimuke obagambe byonna bye nkulagira: tokeŋŋentererwanga eri bo, nneme okukukeŋŋenterera mu maaso gaabwe.
18. Kubanga, laba, nkufudde leero ekibuga ekiriko enkomera, era empagi ey'ekyuma, era bbugwe ow'ekikomo eri ensi yonna, eri bakabaka ba Yuda, eri abakulu baayo, eri bakabona baayo, n'eri abantu ab'omu nsi.
19. Era balirwana naawe; naye tebalikuwangula: kubanga nze ndi wamu naawe, bw'ayogera Mukama, okukuwonya.
About Yeremiya Chapter 1
Read Yeremiya Chapter 1 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Yeremiya in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.
Book Information
Book: Yeremiya
Chapter: 1
Testament: Old Testament
How to Read this Chapter
Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Yeremiya. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.
More Resources
Continue Reading the Bible
Continue reading Yeremiya Chapter 1 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.
Frequently Asked Questions
What is Yeremiya Chapter 1?
Yeremiya Chapter 1 is part of the Book of Yeremiya in the Holy Bible.
Can I read this chapter online?
Yes. You can read the complete Yeremiya Chapter 1 online for free with easy chapter navigation.
More Chapters from Endagaano Enkadde
- Engero Chapter 25
- Engero Chapter 19
- Engero Chapter 23
- Engero Chapter 17
- Engero Chapter 12
- Engero Chapter 22
- Engero Chapter 16
Explore More from Yeremiya
- Yeremiya Chapter 19
- Yeremiya Chapter 30
- Yeremiya Chapter 17
- Yeremiya Chapter 8
- Yeremiya Chapter 47
- Yeremiya Chapter 12
- Yeremiya Chapter 49