Danyeri Chapter 12

For English

Read Danyeri Chapter 12 Online

Read Danyeri Chapter 12 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Danyeri in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Danyeri and the Holy Bible online.

Choose a Chapter

Danyeri 12

Essuula 12

1. Era mu biro ebyo Mikayiri aliyimirira, omulangira omukulu ayimiririra abaana b'abantu bo: era waliba ekiseera eky'okunakuwaliramu, ekitabangawo kasooka wabaawo eggwanga okutuusa ku biro ebyo: era mu biro ebyo abantu bo baliwonyezebwa, buli alirabika nga yawandiikibwa mu kitabo.

2. Era bangi ku abo abeebaka mu nfuufu ey'oku nsi balizuukuka, abamu eri obulamu obutaggwaawo, n'abamu eri ensonyi n'okunyoomebwa okutaggwaawo.

3. N'abo abalina amagezi balyakaayakana ng'okumasamasa okw'omu bbanga: n'abo abakyusa abangi eri obutuukirivu ng'emmunyeenye emirembe n'emirembe.

4. Naye ggwe, Danyeri, bikka ku bigambo, osse akabonero ku kitabo, okutuusa ekiseera eky'enkomerero: bangi abaliddiŋŋana embiro, n'okumanya kulyeyongera.

5. Nze Danyeri ne ndyoka ntunula, era, laba, abalala babiri nga bayimiridde, omu ku lubalama lw'omugga emitala w'eno, n'omulala ku lubalama lw'omugga emitala w'eri.

6. N'omu n'agamba omusajja ayambadde bafuta, eyali waggulu w'amazzi g'omugga, nti Eby'ekitalo ebyo birituusa wa okukoma?

7. Ne mpulira omusajja ayambadde bafuta, eyali waggulu w'amazzi g'omugga, ng'agolola omukono gwe ogwa ddyo n'omukono gwe ogwa kkono eri eggulu, n'alayira oyo abeera omulamu emirembe gyonna, nga birituusa ekiseera n'ebiseera n'ekitundu ky'ekiseera: era bwe balimalira ddala okumenyaamenya amaanyi ag'abantu abatukuvu, ebyo byonna ne biryoka biggwaawo:

8. Ne mpulira, naye ne sitegeera: ne ndyoka njogera nti Ai Mukama wange, ebiriva mu ebyo biriba bitya?

9. N'ayogera nti Kwata amakubo go Danyeri: kubanga ebigambo bibikkiddwako era bissibbwako akabonero okutuusa ekiseera eky'enkomerero.

10. Bangi abalyerongoosa, abalyetukuza, abaliwoomezebwa: naye ababi balikola ebibi: so ku babi tekuliba abalitegeera: naye abo abalina amagezi balitegeera.

11. Era kasooka ekiweebwayo ekyokebwa eky'ennaku zonna kiggibwawo, eky'omuzizo ekizikiriza ne kiyimirizibwa, walibaawo ennaku lukumi mu bibiri mu kyenda.

12. Alina omukisa alindirira n'atuuka ku nnaku olukumi mu ebisatu mu asatu mu ettaano.

13. Naye ggwe kwata ekkubo lyo okutuusa enkomerero lw'eribaawo: kubanga oliwummula, era oliyimirira mu mugabo gwo, ennaku bwe zirikoma.

About Danyeri Chapter 12

Read Danyeri Chapter 12 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Danyeri in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.

Book Information

Book: Danyeri
Chapter: 12
Testament: Old Testament

How to Read this Chapter

Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Danyeri. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.

https://www.youtube.com/watch?v=rzsT_Q3KLzE

More Resources

Continue Reading the Bible

Continue reading Danyeri Chapter 12 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.

Frequently Asked Questions

What is Danyeri Chapter 12?

Danyeri Chapter 12 is part of the Book of Danyeri in the Holy Bible.

Can I read this chapter online?

Yes. You can read the complete Danyeri Chapter 12 online for free with easy chapter navigation.

More Chapters from danyeri

  1. Danyeri Chapter 3
  2. Danyeri Chapter 4
  3. Danyeri Chapter 8
  4. Danyeri Chapter 11
  5. Danyeri Chapter 10
  6. Danyeri Chapter 9
  7. Danyeri Chapter 7

Explore More from Endagaano Enkadde

  1. Eseza Chapter 6
  2. Okubala Chapter 23
  3. 2 Ebyomumirembe Chapter 31
  4. Koseya Chapter 5
  5. Olubereberye Chapter 28
  6. Okuva Chapter 34
  7. Engero Chapter 20

Related Chapters & Readings

  1. Yeremiya Chapter 40
  2. Abaefeeso Chapter 2
  3. Eseza Chapter 10
  4. Ekyamateeka Chapter 16
  5. 2 Ebyomumirembe Chapter 11
  6. Okubikkulirwa Chapter 9
  7. Ebyabaleevi Chapter 16
Share Your Love

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *