Read Yobu Chapter 35 Online
Read Yobu Chapter 35 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Yobu in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Yobu and the Holy Bible online.
Choose a Chapter
Yobu 35
Essuula 35
1. Era nate Eriku n'addamu n'ayogera nti
2. Olowooza ekigambo ekyo ye nsonga yo, Oba oyogera nti Obutuukirivu bwange businga obwa Katonda?
3. N'okwogera n'oyogera nti Kirikugasa ki? Era nti Ndifuna magoba ki ge ndiba nago okukira ge nnandifunye singa nayonoona?
4. Nze nnaakuddamu, Ne banno wamu naawe.
5. Tunuulira eggulu olabe; Era ttunuulira eggulu erikusinga obugulumivu.
6. Oba nga oyonoonye omukola ki? Okusobya kwo bwe kweyongerayongera, omukola ki?
7. Bw'oba n'obutuukirivu, omuwa ki? Oba aweebwa ki mu mukono gwo?
8. Obubi bwo buyinza okulumya omuntu nga ggwe bw'oli; N'obutuukirivu bwo buyinza okugasa omwana w'omuntu.
9. Olw'okujoogebwa okungi ennyo bakaaba; Bakuba enduulu bayambibwe olw'omukono ogw'ab'amaanyi.
10. Naye tewali ayogera nti Katonda Omutonzi wange ali ludda wa, Awa ennyimba ekiro;
11. Atuyigiriza okusinga ensolo ez'oku nsi, Era atuwa amagezi okukira ennyonyi ez'omu bbanga?
12. Bakaabira eyo, naye tewali addamu, Olw'amalala ag'abantu ababi.
13. Mazima Katonda taawulire bigambo ebitaliimu, So n'Omuyinza w'ebintu byonna tasseeyo mwoyo.
14. Kale aliwulira atya bw'oyogera nti tomulaba, Ensonga eri mu maaso ge, naawe omulindirira?
15. Naye kaakano kubanga tabonerezza na busungu bwe, So tassaayo nnyo omwoyo eri esukuti;
16. Yobu kyava ayasama akamwa ke okwogera ebigambo ebitaliimu; Ayongerayongera ebigambo awatali kumanya.
About Yobu Chapter 35
Read Yobu Chapter 35 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Yobu in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.
Book Information
Book: Yobu
Chapter: 35
Testament: Old Testament
How to Read this Chapter
Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Yobu. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.
More Resources
Continue Reading the Bible
Continue reading Yobu Chapter 35 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.
Frequently Asked Questions
What is Yobu Chapter 35?
Yobu Chapter 35 is part of the Book of Yobu in the Holy Bible.
Can I read this chapter online?
Yes. You can read the complete Yobu Chapter 35 online for free with easy chapter navigation.
More Chapters from Endagaano Enkadde
- Engero Chapter 23
- Engero Chapter 17
- Engero Chapter 16
- Engero Chapter 12
- Engero Chapter 28
- Engero Chapter 14
- Engero Chapter 13
Explore More from Yobu
- Yobu Chapter 7
- Yobu Chapter 15
- Yobu Chapter 31
- Yobu Chapter 39
- Yobu Chapter 22
- Yobu Chapter 36
- Yobu Chapter 6