Isaaya Chapter 52

For English

Read Isaaya Chapter 52 Online

Read Isaaya Chapter 52 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Isaaya in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Isaaya and the Holy Bible online.

Choose a Chapter

Isaaya 52

Essuula 52

1. Zuukuka, zuukuka, yambala amaanyi go, ggwe Sayuuni; yambala ebyambalo byo eby'obuyonjo, ggwe Yerusaalemi, ekibuga ekitukuvu: kubanga okuva leero temukyayingiranga mu ggwe nate atali mukomole n'atali mulongoofu.

2. Weekunkumule enfuufu; golokoka otuule wansi, ggwe Yerusaalemi: weesumulule enjegere ez'omu bulago bwo, ggwe omuwala wa Sayuuni eyanyagibwa.

3. Kubanga bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Mwatundirwa bwereere; era mulinunulibwa awatali ffeeza.

4. Kubanga bw'atyo bw'ayogera Mukama Katonda nti Olubereberye abantu bange baaserengeta e Misiri okutuulayo: Omwasuli n'abajooga ng'abalanga bwereere.

5. Kale nno kaakano nkola ki wano, bw'ayogera Mukama, kubanga abantu bange baatwalirwa bwereere? abo ababafuga bawowoggana, bw'ayogera Mukama, n'erinnya lyange bazibya obudde bulijjo okulivuma.

6. Abantu bange kyebaliva bamanya erinnya lyange: kyebaliva bamanya ku lunaku luli nga nze nzuuyo ayogera; laba, nze nzuuno.

7. Nga birungi ku nsozi ebigere by'oyo aleeta ebigambo ebirungi, alanga emirembe, aleeta ebigambo ebirungi eby'obulungi, alanga obulokozi; agamba Sayuuni nti Katonda wo afuga!

8. Eddoboozi ly'abasajja bo abakuuma! bayimusa eddoboozi, bayimbira wamu; kubanga baliraba eriiso n'eriiso, Mukama bw'alikomawo e Sayuuni.

9. Mubaguke okusanyuka, muyimbire wamu, mmwe ebifo eby'e Yerusaalemi ebyazika: kubanga Mukama asanyusizza abantu be, anunudde Yerusaalemi.

10. Mukama afungizizza omukono gwe omutukuvu mu maaso g'amawanga gonna; n'enkomerero zonna ez'ensi ziriraba obulokozi bwa Katonda waffe.

11. Mugende, mugende, muve omwo, temukomanga ku kintu kyonna ekitali kirongoofu; muve wakati mu ye: mubeerenga balongoofu, mmwe abasitula ebintu bya Mukama.

12. Kubanga temulivaamu nga mwanguyiriza so temuligenda nga mudduka: kubanga Mukama alibakulembera; era Katonda wa Isiraeri ye alibasemba.

13. Laba, omuweereza wange alikola n'amagezi, aliyimusibwa alisitulibwa, era aligulumira nnyo,

14. Ng'abangi bwe baakwewuunya, (amaaso ge gaayonooneka bwe gatyo okusinga omuntu yenna, n'embala ye okusinga abaana b'abantu,)

15. bw'atyo bw'alimansira amawanga amangi; bakabaka balibuniza obumwa bwabwe gy'ali: kubanga kye batabuulirwanga balikiraba; ne kye batawuliranga balikitegeera.

About Isaaya Chapter 52

Read Isaaya Chapter 52 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Isaaya in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.

Book Information

Book: Isaaya
Chapter: 52
Testament: Old Testament

How to Read this Chapter

Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Isaaya. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.

https://www.youtube.com/watch?v=rzsT_Q3KLzE

More Resources

Continue Reading the Bible

Continue reading Isaaya Chapter 52 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.

Frequently Asked Questions

What is Isaaya Chapter 52?

Isaaya Chapter 52 is part of the Book of Isaaya in the Holy Bible.

Can I read this chapter online?

Yes. You can read the complete Isaaya Chapter 52 online for free with easy chapter navigation.

More Chapters from Endagaano Enkadde

  1. Engero Chapter 25
  2. Engero Chapter 19
  3. Engero Chapter 23
  4. Engero Chapter 17
  5. Engero Chapter 12
  6. Engero Chapter 22
  7. Engero Chapter 16

Explore More from Isaaya

  1. Isaaya Chapter 63
  2. Isaaya Chapter 39
  3. Isaaya Chapter 64
  4. Isaaya Chapter 58
  5. Isaaya Chapter 44
  6. Isaaya Chapter 16
  7. Isaaya Chapter 19

Related Chapters & Readings

  1. Zeffaniya Chapter 3
  2. Amosi Chapter 6
  3. Olubereberye Chapter 17
  4. Makko Chapter 1
  5. 2 Peetero Chapter 2
  6. Ekyamateeka Chapter 17
  7. Ebyabaleevi Chapter 2
Share Your Love

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *