Read Okubikkulirwa Chapter 6 Online
Read Okubikkulirwa Chapter 6 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Okubikkulirwa in the New Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Okubikkulirwa and the Holy Bible online.
Choose a Chapter
Okubikkulirwa 6
Essuula 6
1. Ne ndaba Omwana gw'endiga bwe yabembula ku bubonero omusanvu ko akamu, ne mpulira ekimu ku biramu ebina nga kyogera ng'eddoboozi ery'okubwatuka nti Jjangu.
2. Ne ndaba, era, laba, embalaasi enjeru, n'oyo atuddeko ng'alina omutego; n’aweebwa engule: n'agenda ng'awangula, era awangule.
3. Bwe yabembula akabonero ak'okubiri, ne mpulira ekiramu eky'okubiri nga kyogera nti Jjangu.
4. N'evaayo embalaasi endala eya lukunyu: era oyo eyali atuddeko n'aweebwa okuggyawo emirembe ku nsi, era battiŋŋane bokka na bokka: n'aweebwa ekitala ekinene.
5. Bwe yabembula akabonero ak'okusatu ne mpulira ekiramu eky'okusatu nga kyogera nti Jjangu. Ne ndaba, era, laba, embalaasi enzirugavu; n'eyali atuddeko ng'alina ekigera mu mukono gwe.
6. Ne mpulira ng'eddoboozi wakati w'ebiramu ebina nga lyogera nti Ekiyi ky'eŋŋaano kya ddinaali, n'ebiyi bisatu ebya sayiri bya ddinaali; amafuta n'omwenge so tobyonoona.
7. Bwe yabembula akabonero ak'okuna, ne mpulira eddoboozi ly'ekiramu eky'okuna nga kyogera nti Jjangu.
8. Ne ndaba, era, laba, embalaasi eya kyenvu; n'eyali atuddeko, erinnya lye Kufa; ne Magombe n'agenda naye. Ne baweebwa obuyinza ku kitundu eky'okuna eky'ensi, okutta n'ekitala n'enjala n'olumbe n’ensolo z'ensi.
9. Bwe yabembula akabonero ak'okutaano, ne ndaba wansi w'ekyoto emyoyo gyabwe abattibwa olw'ekigambo kya Katonda, n'olw'okutegeeza kwe baalina:
10. ne boogerera waggulu n'eddoboozi ddene, nga boogera nti Olituusa wa, Mukama, omutukuvu era ow'amazima, obutasala musango n'obutawalana ggwanga olw'omusaayi gwaffe ku bo abatuula ku nsi?
11. Ne baweebwa buli muntu ekyambalo ekyeru; ne bagambibwa okuwummula nate akaseera katono, okutuusa baddu bannaabwe ne baganda baabwe lwe baliwera, abagenda okuttibwa, nga nabo bwe battibwa.
12. Bwe yabembula akabonero ek'omukaaga, ne ndaba, ne waba ekikankano kinene; enjuba n'eddugala ng'olugoye olw'ebyoya, n'omwezi gwonna ne guba ng'omusaayi;
13. n'emmunyeenye ez'omu ggulu ne zigwa ku nsi, ng'omutiini bwe gukunkumula amagu gaagwo, nga gunyeenyezebwa empewo ennyingi.
14. N'eggulu ne liggibwawo, ng'omuzingo gw'ekitabo bwe guzingibwa; na buli lusozi n'ekizinga ne biggibwawo mu bifo byabyo.
15. ne bakabaka b'ensi, n'abalangira, n'abagabe, n'abagagga, n'ab'amaanyi, na buli muddu n'ow'eddembe ne beekweka mu mpuku ne mu mayinja ag'oku nsozi;
16. ne bagamba ensozi n'amayinja nti Mutugweko, mutukise mu maaso g'oyo atudde ku ntebe, ne mu busungu bw'Omwana gw'endiga:
17. kubanga olunaku olukulu olw'obusungu bwabwe lutuuse; era ani ayinza okuyimirirawo?
About Okubikkulirwa Chapter 6
Read Okubikkulirwa Chapter 6 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Okubikkulirwa in the New Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.
Book Information
Book: Okubikkulirwa
Chapter: 6
Testament: New Testament
How to Read this Chapter
Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Okubikkulirwa. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.
More Resources
Continue Reading the Bible
Continue reading Okubikkulirwa Chapter 6 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.
Frequently Asked Questions
What is Okubikkulirwa Chapter 6?
Okubikkulirwa Chapter 6 is part of the Book of Okubikkulirwa in the Holy Bible.
Can I read this chapter online?
Yes. You can read the complete Okubikkulirwa Chapter 6 online for free with easy chapter navigation.
More Chapters from Endagaano Empya
- Ebikolwa Chapter 3
- Ebikolwa Chapter 4
- Ebikolwa Chapter 13
- Ebikolwa Chapter 2
- Ebikolwa Chapter 1
- Ebikolwa Chapter 27
- Ebikolwa Chapter 28
Explore More from okubikkulirwa
- Okubikkulirwa Chapter 22
- Okubikkulirwa Chapter 8
- Okubikkulirwa Chapter 5
- Okubikkulirwa Chapter 14
- Okubikkulirwa Chapter 13
- Okubikkulirwa Chapter 9
- Okubikkulirwa Chapter 12