Read 2 Abakkolinso Chapter 3 Online
Read 2 Abakkolinso Chapter 3 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of 2 Abakkolinso in the New Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of 2 Abakkolinso and the Holy Bible online.
Choose a Chapter
2 Abakkolinso 3
Essuula 3
1. Tutanula nate okwetendereza fekka? oba twetaaga ebbaluwa, ng'abalala, ez'okutendereza eri mmwe, oba eziva gye muli?
2. Mmwe muli bbaluwa yaffe, ewandiikiddwa mu mitima gyaffe abantu bonna gye bategeera, gye basoma;
3. nga mulabisibwa okuba ebbaluwa ya Kristo, ffe gye twamuweererezaamu, etaawandiikibwa na bwino, wabula Omwoyo gwa Katonda omulamu; si ku bipande eby'amayinja, wabula ku bipande gye mitima egy'omubiri.
4. Era bwe tutyo bwe twesiga Katonda ku bwa Kristo:
5. si kubanga fekka tulina obuyinza, okulowooza ekigambo kyonna nga ekiva gye tuli; naye obuyinza bwaffe buva eri Katonda;
6. era eyatuyinzisa ng'abaweereza b'endagaano empya; si baweereza ba nnukuta, wabula ab’omwoyo: kubanga ennukuta etta; naye omwoyo guleeta obulamu.
7. Naye oba nga okuweereza okw’okufa okwali mu nnukuta, okwasalibwa ku mayinja, kwajjira mu kitiibwa, abaana ba Isiraeri n'okuyinza ne batayinza kwekaliriza maaso ga Musa olw'ekitiibwa ky’amaaso ge; ekyali kigenda akuggwaawo:
8. okuweereza okw'omwoyo tekulisinga kuba na kitiibwa?
9. Kuba oba ng’okuweereza okw'omusango kye kitiibwa, okuweereza okw'obutuukirivu kweyongera nnyo okusukkiriza ekitiibwa.
10. Kubanga ekyaweebwa ekitiibwa tekyakiwebwa mu kigambo kino, olw'ekitiibwa ekisinga ekyo.
11. Kuba oba ng'ekyaggwaawo kyalina ekitiibwa, eky'olubeerera kisinga ennyo okuba n’ekitiibwa.
12. Kale nga bwe tulina essuubi eryenkana awo, twogera n'obuvumu bungi
13. so si nga Musa eyeebikkanga ku maaso ge, abaana ba Isiraeri balemenga okwekaliriza enkomerero y'ekyo ekyali kiggwaawo:
14. naye amagezi gaabwe gaakakanyazibwa: kubanga n'okutuusa leero eky'okubikkako kiri kikyaliwo mu kusomebwa kw'endagaano ey'edda nga tekinnaggibwawo; ekyo kivaawo mu Kristo.
15. Naye n'okutuusa leero, ebya Musa bwe bisomebwa, eky'okubikkako kiri ku mutima gwabwe.
16. Naye bwe gukyukira Mukama waffe, eky'okubikkako kiggibwawo.
17. Naye Mukama waffe gwe Mwoyo: era awaba Omwoyo gwa Mukama waffe we waba eddembe.
18. Naye ffe fenna, bwe tumasamasa ng'endabirwamu ekitiibwa kya Mukama waffe amaaso gaffe nga gaggiddwako eky'okubikkako, tufaananyizibwa engeri eri okuva mu kitiibwa okutuuka mu kitiibwa, nga ku bwa Mukama waffe Omwoyo.
About 2 Abakkolinso Chapter 3
Read 2 Abakkolinso Chapter 3 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of 2 Abakkolinso in the New Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.
Book Information
Book: 2 Abakkolinso
Chapter: 3
Testament: New Testament
How to Read this Chapter
Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading 2 Abakkolinso. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.
More Resources
Continue Reading the Bible
Continue reading 2 Abakkolinso Chapter 3 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.
Frequently Asked Questions
What is 2 Abakkolinso Chapter 3?
2 Abakkolinso Chapter 3 is part of the Book of 2 Abakkolinso in the Holy Bible.
Can I read this chapter online?
Yes. You can read the complete 2 Abakkolinso Chapter 3 online for free with easy chapter navigation.
More Chapters from 2-abakkolinso
- 2 Abakkolinso Chapter 8
- 2 Abakkolinso Chapter 11
- 2 Abakkolinso Chapter 6
- 2 Abakkolinso Chapter 2
- 2 Abakkolinso Chapter 12
- 2 Abakkolinso Chapter 9
- 2 Abakkolinso Chapter 5
Explore More from Endagaano Empya
- Matayo Chapter 9
- Lukka Chapter 20
- Lukka Chapter 22
- Abaruumi Chapter 10
- Yakobo Chapter 4
- 2 Abakkolinso Chapter 8
- Matayo Chapter 23