Yona Chapter 1

For English

Read Yona Chapter 1 Online

Read Yona Chapter 1 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Yona in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Yona and the Holy Bible online.

Choose a Chapter

Yona 1

Essuula 1

1. Awo ekigambo kya Mukama kyajja eri Yona, omwana wa Amittayi, nga kyogera nti

2. Golokoka, ogende e Nineeve ekibuga ekyo ekinene okirangirire; kubanga obubi bwabwe bulinnye butuuse mu maaso gange.

3. Naye Yona n'agolokoka okuddukira e Talusiisi okuva mu maaso ga Mukama; n'aserengeta e Yopa n'alaba ekyombo nga kigenda e Talusiisi; awo n'abawa empooza yaakyo n'asaabala omwo agende nabo e Talusiisi ave mu maaso ga Mukama.

4. Naye Mukama n'asindika empewo ennyingi ku nnyanja, omuyaga omungi ne guba ku nnyanja ekyombo ne kyagala okumenyeka.

5. N'abo abaavuga ne batya ne bakaabirira buli muntu katonda we; ne basuula mu nnyanja ebintu ebyali mu kyombo bakiwewule. Naye Yona yali ng'asse mu kisenge eky'omu kyombo, ng'agalamidde, yeebase otulo.

6. Awo omugoba w'ekyombo n'ajja gy'ali n'amugamba nti Obadde otya, ggwe omwebasi? golokoka, osabe Katonda wo, era mpozzi Katonda anaatujjukira tuleme okuzikirira.

7. Ne boogera buli muntu ne muganda we nti Jjangu tukube akalulu tulyoke tutegeere gwe tulangibwa akabi kano okutubaako. Awo ne bakuba akalulu, akalulu ne kagwa ku Yona.

8. Awo ne bamugamba nti Kale tubuulire gwe tulangibwa akabi kano okutubaako; omulimu gwo mulimu ki? ova wa? ensi yammwe nsi ki? ekika kyammwe kika ki?

9. N'abagamba nti Ndi Mwebbulaniya; ntya Mukama, Katonda ow'omu ggulu eyakola ennyanja n'olukalu.

10. Awo abantu ne batya nnyo ne bamugamba nti Kino kiki ky'okoze ggwe? Kubanga abantu baamanya nti adduse mu maaso ga Mukama, kubanga yali ng'ababuulidde.

11. Awo ne bamugamba nti Tunaakukola tutya ennyanja etuteekere? kubanga ennyanja yali ng'egenda yeeyongera okufuukuuka ennyo.

12. N'abagamba nti Munsitule munsuule mu nnyanja; kale ennyanja eneebateekera; kubanga mmanyi nti omuyaga guno omungi gubakutte okubalanga nze.

13. Naye abantu ne bavuga nnyo okuddayo okugoba ettale; naye ne batayinza; kubanga ennyanja yagenda yeeyongera bweyongezi okufuukuuka okubaziyiza.

14. Kyebaava bakaabirira Mukama ne boogera nti Tukwegayiridde, ai Mukama, tukwegayiridde tuleme okuzikirira ku lw'obulamu obw'omuntu ono; so totussaako musaayi ogutaliiko musango; kubanga ggwe, ai Mukama, ggwe okoze ky'oyagala.

15. Awo ne basitula Yona ne bamusuula mu nnyanja; awo omuyaga ogwali ku nnyanja ne gufa.

16. Awo abantu ne batya nnyo Mukama; ne bawaayo ssaddaaka eri Mukama ne beeyama obweyamo.

17. Mukama n'ateekateeka ekyennyanja ekinene kimire Yona; Yona n'amala mu lubuto olw'ekyennyanja ennaku ssatu emisana n'ekiro.

About Yona Chapter 1

Read Yona Chapter 1 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Yona in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.

Book Information

Book: Yona
Chapter: 1
Testament: Old Testament

How to Read this Chapter

Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Yona. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.

https://www.youtube.com/watch?v=rzsT_Q3KLzE

More Resources

Continue Reading the Bible

Continue reading Yona Chapter 1 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.

Frequently Asked Questions

What is Yona Chapter 1?

Yona Chapter 1 is part of the Book of Yona in the Holy Bible.

Can I read this chapter online?

Yes. You can read the complete Yona Chapter 1 online for free with easy chapter navigation.

More Chapters from Endagaano Enkadde

  1. Engero Chapter 23
  2. Engero Chapter 17
  3. Engero Chapter 16
  4. Engero Chapter 12
  5. Engero Chapter 28
  6. Engero Chapter 25
  7. Engero Chapter 19

Explore More from yona

  1. Yona Chapter 3
  2. Yona Chapter 4
  3. Yona Chapter 2
  4. Yona Chapter 4
  5. Yona Chapter 3
  6. Yona Chapter 1
  7. Yona Chapter 2

Related Chapters & Readings

  1. Luusi Chapter 2
  2. 2 Samwiri Chapter 6
  3. Lukka Chapter 4
  4. Zabbuli Chapter 123
  5. Yeremiya Chapter 24
  6. Yeremiya Chapter 29
  7. Danyeri Chapter 4
Share Your Love

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *